LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • fg essomo 6 kib. 1-5
  • Tuliddamu Okulaba Abaafa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tuliddamu Okulaba Abaafa?
  • Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Similar Material
  • Tuliddamu Okulaba Abaatufaako?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Kiki Ekituuka ku Baagalwa Baffe Abafa?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
fg essomo 6 kib. 1-5

ESSOMO 6

Tuliddamu Okulaba Abaafa?

1. Mawulire ki amalungi agakwata ku abo abaafa?

Lazaalo azuukidde era nga bannyinna Maliza ne Maliyamu bamwaniriza

Yesu bwe yatuuka e Bessaniya okumpi ne Yerusaalemi, yasanga mukwano gwe Laazaalo yaakamala ennaku nnya ng’afudde. Yesu yagenda awaali entaana ng’ali wamu ne Maliza ne Maliyamu, bannyina Laazaalo. Mu kaseera katono, abantu baakuŋŋaana. Olowooza Maliza ne Maliyamu baawulira batya nga Yesu azuukizza Laazaalo?​—Soma Yokaana 11:21-24, 38-44.

Maliza yali amanyi amawulire amalungi agakwata ku abo abaafa. Yali amanyi nti Yakuwa ajja kuzuukiza abafu baddemu okubeera ku nsi.​—Soma Yobu 14:14, 15.

2. Abafu bali mu mbeera ki?

Adamu ng’atondebwa, era oluvannyuma n’afa

Katonda yagamba Adamu nti: “Oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.”​—OLUBEREBERYE 3:19.

Abantu baatondebwa okuva mu nfuufu. (Olubereberye 2:7; 3:19) Tetuli myoyo egyambadde emibiri gy’ennyama, era bwe tufa tewali kisigalawo nga kiramu. Bwe tufa, n’obwongo bwaffe bufa, era tuba tetukyasobola kulowooza. Eyo ye nsonga lwaki Laazaalo talina kye yayogera ku mbeera gye yalimu ng’afudde, kubanga abafu tebaliiko kye bamanyi.​—Soma Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5, 6, 10.

Katonda ayokya abantu mu muliro nga bafudde? Okuva Bayibuli bw’egamba nti abafu tebaliiko kye bamanyi, enjigiriza ey’omuliro ogutazikira ya bulimba era ereetera abantu okunenya Katonda olw’ekintu ky’atakola. Katonda akyayira ddala ekikolwa eky’okwokya abantu mu muliro.​—Soma Yeremiya 7:31.

Laba vidiyo Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?

3. Abafu basobola okwogera naffe?

Abafu tebasobola kwogera wadde okuwulira. (Zabbuli 115:17) Naye waliwo bamalayika ababi, era bamalayika abo basobola okwogera n’abantu nga beefuula okuba abantu abaafa. (2 Peetero 2:4) Yakuwa tayagala twebuuze ku bafu.​—Soma Ekyamateeka 18:10, 11.

4. Baani abanaazuukizibwa?

Omusajja eyazuukizibwa mu Lusuku lwa Katonda ng’ayiga ebikwata ku Katonda. Oluvannyuma omusajja oyo ayambako mu kuyigiriza abalala abazuukizibwa.

Obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa bajja kuzuukira baddemu okubeera ku nsi. N’abamu ku abo abaali batamanyi Katonda era abaakolanga ebintu ebibi bajja kuzuukizibwa.​—Soma Lukka 23:43; Ebikolwa 24:15.

Abo abanaazuukizibwa bajja kuyiga ebikwata ku Katonda, kibasobozese okukkiririza mu Yesu n’okumugondera. (Okubikkulirwa 20:11-13) Abo abanaazuukizibwa ne bakola ebintu ebirungi bajja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi.​—Soma Yokaana 5:28, 29.

5. Okuzuukira kutuyigiriza ki ku Yakuwa?

Abantu balina essuubi ery’okuzuukira kubanga Katonda yatuma Omwana we n’atufiirira. N’olwekyo, okuzuukira kwoleka okwagala kwa Yakuwa n’ekisa kye eky’ensusso. Ani gwe wandyagadde okulaba ng’abafu bazuukiziddwa?​—Soma Yokaana 3:16; Abaruumi 6:23.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 6, 7, ne 10 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share