ESSOMO 4
Okukozesa Obulungi Ssente
“Bwe wabaawo okuteesa enteekateeka zigenda bulungi.”—Engero 20:18, NW
Ffenna twetaaga ssente okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe. (Engero 30:8) Bayibuli egamba nti ssente kya bukuumi. (Omubuulizi 7:12) Kiyinza okubazibuwalira okwogera ku ngeri gye mukozesaamu ssente zammwe, naye temukkiriza ssente kubatabula. (Abeefeso 4:32) Omwami ne mukyala we basaanidde okwesigaŋŋana n’okusalawo engeri gye banaakozesaamu ssente zaabwe.
1 MUKOLE EMBALIRIRA ENNUNGI
BAYIBULI KY’EGAMBA: “Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza?” (Lukka 14:28) Kibeetaagisa okutuula mubalirire engeri gye munaakozesaamu ssente zammwe. (Amosi 3:3) Musaleewo bye mwetaaga, era mumanye ssente ezeetaagisa okusobola okubigula. (Engero 31:16) Ne bwe muba mulina ssente, temugula bintu bye muteetaaga. Mukozese bulungi ssente ze mulina, musobole okwewala amabanja.—Engero 21:5; 22:7.
BYE MUYINZA OKUKOLA:
Bwe muba mufissizzaawo ssente oluvannyuma lw’okugula bye mwetaaga, musaleewo engeri gye munaazikozesaamu
Bwe muba mulina ebbanja, musaleewo engeri gye muyinza okukendeeza ku nsaasaanya yammwe. Ng’ekyokulabirako, muyinza okwefumbira mu kifo ky’okulya mu wooteeri
2 BEERA MWESIMBU ERA WA MAZIMA
BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Fuba okukola buli kimu n’obwesigwa, si mu maaso ga Yakuwa mwokka, naye era ne mu maaso g’abantu.’ (2 Abakkolinso 8:21) Buulira munno ssente zennyini z’ofuna n’engeri gy’ozikozesaamu.
Bw’oba olina ky’oyagala okukola naye nga kya kutwala ssente nnyingi, sooka weebuuze ku munno. (Engero 13:10) Bwe munakkaanya ku nkozesa ya ssente kijja kubayamba okuba mu mirembe mu bufumbo bwammwe. Ssente z’ofuna tozitwala ng’ezizo wekka, wabula zitwale nga za maka go.—1 Timoseewo 5:8.
BYE MUYINZA OKUKOLA:
Mukkiriziganye ku muwendo gwa ssente buli omu ku mmwe z’asobola okukozesa nga tasoose kwebuuza ku munne
Temulinda kufuna bizibu biva ku nkozesa ya ssente ne mulyoka mwogera ku ngeri gye musaanidde okuzikozesaamu