Oluyimba 144
Tutaase Obulamu Bwabwe
Printed Edition
Wanula:
Katonda ’naatera
’kuzikiriza ’babi.
Tutegeeze abantu
bonna bakimanye.
(CHORUS)
Tunyiikire ’kubuulira
Abantu bonna mu nsi.
Bwe tufuba ’kubayamba,
Tuwonya ’bulamu bwabwe
N’obwaffe.
Tukoowoola ’bantu
badde eri Katonda.
Twagala ’kubayamba
babe mikwano gye.
(CHORUS)
Tunyiikire ’kubuulira
Abantu bonna mu nsi.
Bwe tufuba ’kubayamba,
Tuwonya ’bulamu bwabwe
N’obwaffe.
(BRIDGE)
Kikulu bawulire;
Ekiseera kiweddeyo.
Abantu beetaaga nnyo
Obubaka ’bw’obulamu.
(CHORUS)
Tunyiikire ’kubuulira
Abantu bonna mu nsi.
Bwe tufuba ’kubayamba,
Tuwonya ’bulamu bwabwe
N’obwaffe.
(Era laba 2 Byom. 36:15; Is. 61:2; Ezk. 33:6; 2 Bas. 1:8.)