Oluyimba 153
Owulira Otya?
Wanula:
Owulira otya
ng’okoze ky’osobola
Okubuulira ’bantu
aba buli ngeri?
Ky’obeera okoze
kiba kirungi ddala.
Awo Katonda naye
n’akola ogugwe.
(CHORUS)
Kituwa essanyu lingi
okuwereeza Katonda.
Tujja kumutendereza
emirembe gyonna.
Owulira otya
by’oyogedde bwe biba
Bituuse ku mutima
gw’oyo gw’obuulira?
Abamu bagaana
okutuwuliriza.
Naye ffe tweyongera
okubabuulira.
(CHORUS)
Kituwa essanyu lingi
okuwereeza Katonda.
Tujja kumutendereza
emirembe gyonna.
Owulira otya
buli lw’ojjukira nti
Bwe tuba tubuulira
Katonda ’tuyamba?
Bwe tuba tunoonya
abo abagwanira,
Twoleka obuvumu;
tubeera ba kisa.
(CHORUS)
Kituwa essanyu lingi
okuwereeza Katonda.
Tujja kumutendereza
emirembe gyonna.
(Era laba Bik. 13:48; 1 Bas. 2:4; 1 Tim. 1:11.)