LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 18 lup. 46-lup. 47 kat. 6
  • Emirimu gya Yesu Gyeyongera ate Egya Yokaana Gikendeera

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emirimu gya Yesu Gyeyongera ate Egya Yokaana Gikendeera
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yokaana Ayagala Yesu Amukakase Obanga Ye Masiya
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yokaana Omubatiza—Tumuyigirako Okusigala nga Tuli Basanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yesu Afuuka Masiya
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yesu Abatizibwa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 18 lup. 46-lup. 47 kat. 6
Yokaana Omubatiza ng’ayogera n’abayigirizwa be

ESSUULA 18

Emirimu gya Yesu Gyeyongera ate Egya Yokaana Gikendeera

MATAYO 4:12 MAKKO 6:17-20 LUKKA 3:19, 20 YOKAANA 3:22–4:3

  • ABAYIGIRIZWA BA YESU BABATIZA

  • YOKAANA OMUBATIZA ASIBIBWA MU KKOMERA

Oluvannyuma lw’okukwata embaga ey’Okuyitako mu mwaka gwa 30 E.E., Yesu n’abayigirizwa be bava mu Yerusaalemi. Naye tebagenda butereevu mu kibuga Ggaliraaya gye babeera. Bagenda mu byalo by’omu Buyudaaya ne babatiza abantu bangi. Yokaana Omubatiza abadde akola omulimu guno okumala omwaka nga gumu, era abamu ku bayigirizwa be bakyali naye, kirabika bali mu kiwonvu ky’Omugga Yoludaani.

Yesu kennyini si y’abatiza, wabula abayigirizwa be be babatiza nga bakolera ku bulagirizi bwe. Mu kiseera kino eky’obuweereza bwa Yesu, Yesu ne Yokaana bayigiriza Abayudaaya abeenenyezza ebibi byabwe olw’obutakolera ku ndagaano y’Amateeka gye baakola ne Katonda.​—Ebikolwa 19:4.

Naye abayigirizwa ba Yokaana bakwatirwa Yesu obuggya era beemulugunya nga bagamba nti: “Omusajja [Yesu] eyali naawe . . . abatiza, era abantu bonna bagenda gy’ali.” (Yokaana 3:26) Naye, Yokaana ye takwatirwa Yesu buggya. Asanyukira ebyo Yesu by’akola era ayagala n’abayigirizwa be basanyuke. Abajjukiza nti: “Mmwe mmwennyini munjulira nga nnayogera nti, ‘Si nze Kristo, wabula nti nnatumibwa kumukulemberamu.’” Akozesa ekyokulabirako okubayamba okutegeera obulungi ensonga eno: “Oyo alina omugole omukazi ye mugole omusajja. Naye mukwano gw’omugole omusajja bw’ayimirira n’awulira eddoboozi ly’omugole omusajja, asanyuka nnyo. N’olwekyo, essanyu lyange lituukiridde.”​—Yokaana 3:28, 29.

Okufaananako mukwano gw’omugole omusajja, emabegako Yokaana bwe yali n’abayigirizwa be yasanyuka nnyo okubanjulira Yesu. Abamu ku bo baafuuka bagoberezi ba Yesu era oluvannyuma lw’ekiseera bandifukiddwako omwoyo omutukuvu. Yokaana ayagala abayirigizwa abakyali naye nabo bagoberere Yesu. Mu butuufu ekigendererwa kya Yokaana kwe kuteekerateekera Kristo obuweereza bwe. Yokaana agamba nti: “Oyo alina okugenda nga yeeyongera ate nze ŋŋende nga nkendeera.”​—Yokaana 3:30.

Yokaana omulala, eyafuuka omugoberezi wa Yesu, oluvannyuma yawandiika ebikwata ku kifo Yesu ky’alina mu kulokola abantu ne wa gye yava. Yawandiika nti: “Oyo ava waggulu y’asinga abalala bonna. . . . Kitaawe w’omwana ayagala Omwana era amukwasizza ebintu byonna. Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo; oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.” (Yokaana 3:31, 35, 36) Ago nga mazima ga muwendo nnyo buli omu g’asaanidde okumanya!

Yokaana Omubatiza asibibwa mu kkomera

Nga waakayita akaseera katono oluvannyuma lwa Yokaana Omubatiza okugamba nti emirimu gye giteekwa okugenda nga gikendeera, Kabaka Kerode alagira ne bamukwata. Kerode awasizza Kerodiya, muka Firipo muganda we. Yokaana bw’ayanika ekikolwa kya Kerode eky’obwenzi, Kerode amusiba mu kkomera. Yesu bw’awulira nti Yokaana akwatiddwa, ye n’abayigirizwa be bava mu Buyudaaya ne ‘baddayo e Ggaliraaya.’​—Matayo 4:12; Makko 1:14.

  • Okubatiza kwa Yokaana kulina makulu ki, era n’okw’abayigirizwa ba Yesu nga Yesu tannazuukira?

  • Yokaana ayamba atya abayigirizwa be obutakwatirwa Yesu buggya olw’ebyo by’akola?

  • Lwaki Yokaana asibibwa mu kkomera?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share