LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 47 lup. 118-lup. 119 kat. 6
  • Omuwala Addamu Okuba Omulamu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omuwala Addamu Okuba Omulamu!
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yesu Azuukiza Abafu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Tusobola Okuzuukira!
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Yesu Akola Ebyamagero Bingi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Akwata ku Kyambalo kya Yesu n’Awona
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 47 lup. 118-lup. 119 kat. 6
Yesu azuukiza muwala wa Yayiro

ESSUULA 47

Omuwala Addamu Okuba Omulamu!

MATAYO 9:18, 23-26 MAKKO 5:22-24, 35-43 LUKKA 8:40-42, 49-56

  • YESU AZUUKIZA MUWALA WA YAYIRO

Yayiro akiraba nti Yesu awonyezza omukazi abadde omulwadde w’ekikulukuto ky’omusaayi. Tewali kubuusabuusa nti Yesu asobola okuyamba ne muwala we wadde ng’alowooza nti ‘kati ateekwa okuba ng’afudde.’ (Matayo 9:18) Waliwo ekintu kyonna ekiyinza okukolebwa okuyamba muwala we?

Yesu bw’aba akyayogera n’omukazi gw’ava akuwonya, wabaawo abasajja abajja nga bavudde ewa Yayiro ne bagamba Yayiro nti: “Muwala wo afudde! Lwaki otawaanya Omuyigiriza?”​—Makko 5:35.

Ng’amawulire ago mabi nnyo! Omusajja oyo assibwamu ennyo ekitiibwa mu kitundu, mu kiseera kino talina ky’ayinza kukola kuyamba muwala we. Muwala we omu yekka gw’alina afudde. Kyokka ekyo Yesu bw’akitegeerako, agamba Yayiro nti: “Totya, naye laga okukkiriza.”​—Makko 5:36.

Abakungubazi nga bali kumpi ne muwala wa Yayiri afudde

Yesu agenda ne Yayiro ewuwe. Bwe batuukayo basanga abantu bangi nga bakuŋŋaanye. Abantu bakaaba, nga baaziirana, era nga bakuba ebiwoobe. Yesu ayingira mu nnyumba n’agamba nti: “Omwana tafudde naye yeebase.” (Makko 5:39) Ekyo abantu bwe bakiwulira batandika okusekerera Yesu. Bakimanyi bulungi nti omuwala oyo afudde. Wadde kiri kityo, Yesu agenda kukozesa amaanyi Katonda ge yamuwa okulaga abantu nti kisoboka omuntu abadde afudde okuddamu okuba omulamu nga bwe kisoboka okuzuukusa omuntu aba yeebase.

Yesu alagira abantu bonna okufuluma ebweru, okuggyako Peetero, Yakobo, Yokaana, ne bazadde b’omuwala afudde. Yesu n’abo abataano bagenda awali omulambo gw’omuwala. Yesu akwata omuwala oyo ku mukono n’agamba nti: “‘Talisa kumi,’ ekivvuunulwa nti: ‘Muwala, nkugamba nti “Yimuka!”’” (Makko 5:41) Amangu ago omuwala ayimuka n’atandika okutambula. Lowooza ku ssanyu Yayiro ne mukyala we lye bafuna nga muwala waabwe azuukidde! Okusobola okwongera okukakasa abantu nti kati omuwala oyo mulamu, Yesu abalagira okumuwa eky’okulya.

Emabegako, Yesu aliko abantu be yawonya naye n’abagamba obutabaako gwe babuulirako, era ne ku mulundi guno agamba bazadde b’omuwala oyo obutabuulirako muntu yenna. Wadde kiri kityo, bazadde b’omuwala oyo n’abantu abalala babunyisa amawulire ago “mu kitundu ekyo kyonna.” (Matayo 9:26) Singa naawe waliwo omuntu wo eyali afudde n’azuukira, ekyo tewandibadde musanyufu okukibuulirako abalala? Guno gwe mulundi ogw’okubiri nga Bayibuli eyogera ku Yesu okuzuukiza omuntu.

  • Mawulire ki amabi Yayiro g’afuna, era Yesu amugumya atya?

  • Yesu ne Yayiro bwe batuuka awaka, mbeera ki gye basanga?

  • Lwaki Yesu agamba nti omuwala afudde, yeebase bwebasi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share