LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 64 lup. 152-lup. 153 kat. 2
  • Kikulu Okusonyiwa Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kikulu Okusonyiwa Abalala
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Ensonga Lwaki Tusaanidde Okusonyiwa
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • “Ddala Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Bagoberera Omwana gw’Endiga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Omuddu” Omwesigwa era nga wa Magezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 64 lup. 152-lup. 153 kat. 2
Omuddu ng’akwatte muddu munne ng’atandise okumutuga

ESSUULA 64

Kikulu Okusonyiwa Abalala

MATAYO 18:21-35

  • OKUSONYIWA EMIRUNDI MUSANVU?

  • OLUGERO LW’OMUDDU ATASONYIWA

Peetero awulidde Yesu ng’awa amagezi agakwata ku b’oluganda okusooka okufuba okugonjoola obutakkaanya nga bali babiri bokka. Naye kati Peetero ayagala kumanya mirundi emeka omuntu gy’alina okusonyiwa omulala.

Peetero abuuza nti: “Mukama wange, emirundi emeka muganda wange gy’anankolanga ekibi, ne mba nga nnina okumusonyiwa? Emirundi musanvu?” Abakulembeze b’eddiini abamu bayigiriza nti omuntu alina okusonyiwa omulala okutuuka ku mirundi esatu. N’olwekyo, Peetero alowooza nti okusonyiwa ow’oluganda “emirundi musanvu” aba amusonyiye nnyo.​—Matayo 18:21.

Kyokka, Yesu tayagala bayigirizwa be kubeera nga babala emirundi emeka abalala gye baba babasobezza. Bwe kityo, awabula Peetero ng’amugamba nti: “Si mirundi musanvu, wabula emirundi 77.” (Matayo 18:22) Mu ngeri endala, Yesu alaga nti okusonyiwa abalala tekusaanidde kubaako kkomo. Peetero tasaanidde kuteeka kkomo ku mirundi emeka gy’alina okusonyiwa muganda we.

Kabaka ng’asonyiwa omuddu ebbanja

Oluvannyuma Yesu agerera Peetero n’abalala olugero olulaga nti kikulu nnyo okusonyiwa abalala. Olugero olwo lukwata ku muddu agaana okwoleka ekisa nga mukama we. Kabaka ayagala abaddu basasule ssente ze. Omu ku baddu alina ebbanja eddene ennyo erya ttalanta 10,000 [ddinaali 60,000,000] aleetebwa eri kabaka. Omuddu oyo talina ngeri yonna gy’asobola kusasulamu bbanja eryo. Bwe kityo, kabaka alagira nti omuddu oyo, mukyala we, n’abaana be batundibwe asobole okusasula ebbanja lye. Awo omuddu oyo agwa wansi ku bigere bya mukama we n’amwegayirira ng’agamba nti: “Ŋŋumiikiriza, nja kukusasula byonna.”​—Matayo 18:26.

Omuddu ng’alagila batwale muddu munne mu kkomera

Kabaka akwatirwa omuddu oyo ekisa era n’amusonyiwa ebbanja lye. Kyokka oluvannyuma lw’okusonyiyibwa, omuddu oyo asisinkana muddu munne gw’abanja ddinaali 100. Amukwata n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti: “Sasula byonna bye nkubanja.” Naye muddu munne gw’abanja agwa wansi ku bigere bye n’amwegayirira ng’agamba nti: “Ŋŋumiikiriza, nja kukusasula.” (Matayo 18:28, 29) Kyokka, omuddu kabaka gw’asonyiye ebbanja agaana okwoleka ekisa nga mukama we. Omuddu oyo asalawo okusibisa mu kkomera muddu munne, gw’abanja obusente obutono, okutuusa lw’alisasula ebbanja lye lyonna.

Kabaka ng’alagira batwale omuddu atasonyiwa mu kkomera

Oluvannyuma Yesu agamba nti abaddu abalala bwe balaba engeri embi omuddu oyo gy’ayisizzaamu muddu munne, bagenda ne bategeezaako mukama waabwe, era mukama waabwe ayita omuddu oyo n’amugamba nti: “Muddu ggwe omubi, nnakusonyiwa ebbanja lyo lyonna bwe wanneegayirira. Naawe togwanidde kusaasira muddu munno nga nange bwe nnakusaasira?” Kabaka asunguwala nnyo era n’awaayo omuddu oyo eri abakuumi b’ekkomera okumusiba okutuusa lw’alimala okusasula ebbanja lyonna. Yesu afundikira ng’agamba nti: “Ne Kitange ow’omu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa buli omu ku mmwe tasonyiyira ddala muganda we kuva ku mutima.”​—Matayo 18:32-35.

Olugero olwo lutuyigiriza ki? Katonda atusonyiye ebibi byaffe bingi. Ebibi bakkiriza bannaffe bye batukola bitono nnyo bw’obigeraageranya ku ebyo Yakuwa by’atusonyiwa. Ate era Yakuwa tatusonyiwa mulundi gumu gwokka, wabula atusonyiwa emirundi mingi nnyo. Ekyo tekyanditukubirizza okusonyiwa baganda baffe enfunda n’enfunda nga balina kye batukoze? Nga Yesu bwe yakiraga mu kuyigiriza kwe okw’oku Lusozi, Katonda ajja ‘kutusonyiwa amabanja gaffe singa naffe tusonyiwa be tubanja.’ ​—Matayo 6:12.

  • Kiki ekireetera Peetero okubuuza ekibuuzo ekikwata ku kusonyiwa muganda we, era lwaki alowooza nti okusonyiwa emirundi omusanvu aba asonyiye nnyo?

  • Engeri kabaka gy’ayisaamu omuddu ng’amwegayiridde eyawukana etya ku ngeri omuddu oyo gy’ayisaamu muddu munne?

  • Olugero lwa Yesu lutuyigiriza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share