LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 105 lup. 244-lup. 245 kat. 9
  • Akozesa Omuti gw’Omutiini Okuyigiriza Ebikwata ku Kukkiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akozesa Omuti gw’Omutiini Okuyigiriza Ebikwata ku Kukkiriza
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Addamu Okulongoosa Yeekaalu
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • A7-G Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi Yesu Amaliriza Obuweereza Bwe mu Yerusaalemi (Ekitundu 1)
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 105 lup. 244-lup. 245 kat. 9
Yesu n’abayigirizwa be nga balaba omuti gw’omutiini ogutabala nga gukaze

ESSUULA 105

Akozesa Omuti gw’Omutiini Okuyigiriza Ebikwata ku Kukkiriza

MATAYO 21:19-27 MAKKO 11:19-33 LUKKA 20:1-8

  • AKOZESA OMUTIINI OGUKAZE OKUYIGIRIZA EBIKWATA KU KUKKIRIZA

  • OBUYINZA BWA YESU BUSOOMOOZEBWA

Bw’ava e Yerusaalemi ku Bbalaza olweggulo, Yesu addayo e Bessaniya ebuvanjuba w’Olusozi olw’Emizeyituuni. Kirabika asula wa mikwano gye Lazaalo, Maliyamu, ne Maliza.

Kati olunaku lwa Nisaani 11, era obudde bwa ku makya. Yesu n’abayigirizwa be batambula nga bagenda e Yerusaalemi, nga guno gwe mulundi gwe ogusembayo okugenda ku yeekaalu. Era luno lwe lunaku lw’asembayo okubuulira mu lujjudde nga tannaba kukwata mbaga ey’Okuyitako, nga tannatandikawo mukolo ogw’okujjukira okufa kwe, era nga tannawozesebwa na kuttibwa.

Bwe baba batambula nga bava e Bessaniya nga bayita ku Lusozi olw’Emizeyituuni nga bagenda e Yerusaalemi, Peetero alaba omuti Yesu gwe yakolimidde jjo ku makya. Agamba nti: “Labbi, laba! omutiini gwe wakolimidde gukaze.”​—Makko 11:21.

Naye lwaki Yesu yaleetedde omuti ogwo okukala? Ebyo by’ayogera biraga ensonga lwaki. Agamba nti: “Mazima mbagamba nti bwe muba n’okukkiriza era nga temubuusabuusa, temujja kukoma ku kukola ekyo kye nkoze omutiini, naye era ne bwe mugamba olusozi luno nti, ‘Siguukulukuka ogwe mu nnyanja,’ bwe kityo bwe kijja okuba. Era ebintu byonna bye musaba nga mulina okukkiriza mujja kubifuna.” (Matayo 21:21, 22) Nga bwe yakola emabega, Yesu azzeemu okwogera ku ky’okuba nti okukkiriza kusobola okusiguukulula olusozi.​—Matayo 17:20.

Mu kuleetera omuti ogwo okukala, Yesu akiraga nti kikulu nnyo okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda. Agamba nti: “Ebintu byonna bye musaba, mube n’okukkiriza nti mubifunye, era mulibifuna.” (Makko 11:24) Ng’ekyo kya kuyiga kikulu nnyo eri abagoberezi ba Yesu bonna! Ekyo kikulu nnyo, nnaddala eri abatume ba Yesu okuva bwe kiri nti banaatera okwolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo. Kyokka waliwo eky’okuyiga ekirala ekiri mu ky’okuba nti Yesu yaleetedde omutiini okukala.

Okufaananako omutiini ogwo, eggwanga lya Isirayiri liwa ekifaananyi ekitali kituufu. Abantu b’eggwanga eryo Katonda yakola nabo endagaano, era kungulu balabika ng’abakwata Amateeka ga Katonda. Kyokka okutwalira awamu, abantu b’eggwanga eryo bakiraze nti tebalina kukkiriza era nti tebabala bibala. Batuuse n’okugaana okukkiriza Omwana wa Katonda kennyini! N’olwekyo, mu kuleetera omutiini ogutabala bibala okukala, Yesu alaga ekyo ekijja okutuuka ku ggwanga eryo eritabala bibala era eritalina kukkiriza.

Wayita ekiseera kitono, Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka e Yerusaalemi. Ng’enkola ye bw’eri, Yesu agenda mu yeekaalu n’atandika okuyigiriza. Bakabona abakulu n’abakadde, oboolyawo nga bajjukira ekyo Yesu kye yakoze abo abaabadde bawanyisa ssente mu yeekaalu olunaku lwa jjo, basoomooza Yesu nga bagamba nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani eyakuwa obuyinza okubikola?”​—Makko 11:28.

Yesu abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Munziremu, nange nja kubabuulira gye nzigya obuyinza okukola ebintu bino. Yokaana yaggya wa obuyinza okubatiza, mu ggulu oba mu bantu? Munziremu.” Kati abo abamuziyiza be basoomoozeddwa. Bakabona n’abakadde batandika okwebuuza bokka na bokka engeri gye bayinza okumuddamu. Bagamba nti: “Singa tugamba nti ‘Yabuggya mu ggulu,’ ajja kugamba, ‘Lwaki temwamukkiriza?’ Oba tugambe nti ‘Yabuggya mu bantu’?” Naye ekyo nakyo batya okukyogera olw’okuba batya ekibiina ky’abantu, kubanga ‘abantu abo bonna bakitwala nti Yokaana yali nnabbi.’​—Makko 11:29-32.

Abo abaziyiza Yesu tebasobola kuddamu kibuuzo kye mu ngeri ematiza. Bwe kityo bamugamba nti: “Tetumanyi.” Yesu naye abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira gye nzigya buyinza kukola bintu bino.”​—Makko 11:33.

  • Lwaki olunaku lwa Nisaani 11 lwa njawulo?

  • Bya kuyiga ki ebiri mu ky’okuba nti Yesu yakolimira omutiini ne gukala?

  • Yesu ayanukula atya abo abamubuuza gy’aggya obuyinza okukola ebintu by’akola?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share