LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 126 lup. 288-lup. 289 kat. 9
  • Bamwegaanira Mu Luggya Lw’Ennyumba ya Kayaafa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bamwegaanira Mu Luggya Lw’Ennyumba ya Kayaafa
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Peetero Yeegaana Yesu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Ebituyamba Okuggwaamu Okutya
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
See More
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 126 lup. 288-lup. 289 kat. 9
Ng’ali waggulu, Yesu atunula wansi n’alaba Peetero eyaakamala okumwegaana; emabega waliyo enkoko

ESSUULA 126

Bamwegaanira Mu Luggya Lw’Ennyumba ya Kayaafa

MATAYO 26:69-75 MAKKO 14:66-72 LUKKA 22:54-62 YOKAANA 18:15-18, 25-27

  • PEETERO YEEGAANA YESU

Yesu bw’akwatibwa mu nnimiro y’e Gesusemane, abatume batya nnyo ne bamwabulira. Naye ababiri ku bo tebagenda wala. Ababiri abo ye Peetero “n’omuyigirizwa omulala,” kirabika omutume Yokaana. (Yokaana 18:15; 19:35; 21:24) Baagala kulaba ebinaddirira nga Yesu atwaliddwa mu maka ga Anaasi. Anaasi bw’aweereza Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, Peetero ne Yokaana bamugoberera naye nga beesuddeko akabanga. Bali mu kutya kwa maanyi olw’ekyo ekiyinza okubatuukako, n’olwekyo ekiyinza okutuuka ku Mukama waabwe.

Olw’okuba Yokaana amanyiddwa kabona asinga obukulu, akkirizibwa okuyingira mu luggya lw’ennyumba ya Kayaafa. Naye Peetero asigala bweru ku mulyango okutuusa Yokaana lw’ajja n’ayogera n’omuwala omuweereza akola ng’omuggazi w’oluggi. Oluvannyuma Peetero akkirizibwa okuyingira.

Obudde bunnyogovu, era abo abali bakuma omuliro basobole okwota. Peetero atuula wamu nabo asobole okubuguma ng’eno bw’alindirira ‘okulaba bwe binaaba’ nga Yesu amaze okuwozesebwa. (Matayo 26:58) Olw’okuba kati waliwo ekitangaala ky’omuliro, omuggazi w’oluggi akkirizza Peetero okuyingira amwetegereza bulungi. Amubuuza nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omusajja oyo?” (Yokaana 18:17) Wabaawo n’abalala abalaba Peetero ne bamulumiriza nti mugoberezi wa Yesu.​—Matayo 26:69, 71-73; Makko 14:70.

Ekyo kyeraliikiriza nnyo Peetero, era oluvannyuma avaawo n’agenda okumpi n’omulyango oguyingira mu luggya. Peetero yeegaana Yesu era atuuka n’okugamba nti: “Simumanyi era ne bye mwogera sibitegeera.” (Makko 14:67, 68) Ate era atandika “okukolima n’okulayira,” okulaga nti by’ayogera bituufu era nti bwe bitaba bituufu mwetegefu okubonerezebwa.​—Matayo 26:74.

Mu kiseera kye kimu Yesu awozesebwa, era nga kirabika bamuwozeseza mu kimu ku bisenge ebya waggulu mu nnyumba ya Kayaafa. Peetero n’abantu abalala bali wansi mu luggya era kirabika balaba abajulizi abaleetebwa okulumiriza Yesu nga bayingira era nga bafuluma.

Enjogera ya Peetero ey’Ekigaliraaya eraga nti by’ayogera si bituufu. Ng’oggyeeko ekyo, omu ku abo abamulumiriza alina oluganda ku Maluko, Peetero gwe yatemyeko okutu. Abuuza Peetero nti: “Saakulabye ng’oli naye mu nnimiro?” Peetero bwe yeegaana omulundi ogw’okusatu, enkoko ekookolima, nga Yesu bwe yamugambye.​—Yokaana 13:38; 18:26, 27.

Mu kiseera kino, kirabika Yesu ali ku mwaliiro ogwa waggulu ogutunudde mu luggya. Yesu akyuka n’atunuulira Peetero, era kirabika Peetero awulira ng’afumitiddwa ku mutima. Ajjukira Yesu kye yamugambye essaawa ntono emabega nga bakyali mu kisenge ekya waggulu. Lowooza ku ngeri Peetero gy’awuliramu oluvannyuma lw’okumanya nti ky’akoze kibi nnyo! Peetero afuluma wabweru n’akaaba nnyo.​—Lukka 22:61, 62.

Peetero abadde omukakafu nti munywevu mu by’omwoyo era nti mwesigwa, ayinza atya okwegaana Mukama we? Yesu ayogerwako eby’obulimba, era kati atwalibwa nga mumenyi w’amateeka. Mu kifo kya Peetero okumuwolereza nti talina musango, asalawo okwegaana Oyo alina “ebigambo eby’obulamu.”​—Yokaana 6:68.

Ekyatuuka ku Peetero kiraga nti n’omuntu alina okukkiriza okw’amaanyi era eyeemalidde ku Katonda bw’aba teyeeteeseteese bulungi, asobola okwekkiriranya ng’agezeseddwa oba ng’akemeddwa. Ffenna abaweereza ba Katonda tusaanidde okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Peetero!

  • Peetero ne Yokaana baayingira batya mu luggya lw’ennyumba ya Kayaafa?

  • Nga Peetero ne Yokaana bali mu luggya, kiki ekigenda mu maaso mu nnyumba?

  • Lwaki Peetero akolima era n’alayira?

  • Kintu ki ekikulu kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Peetero?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share