ESSUULA 131
Kabaka Atalina Musango Akomererwa ku Muti
MATAYO 27:33-44 MAKKO 15:22-32 LUKKA 23:32-43 YOKAANA 19:17-24
YESU AKOMERERWA KU MUTI OGW’OKUBONAABONA
AKAPANDE AKATEEKEBWA KU MUTI KW’ALI KALEETERA ABANTU OKUMUKUDAALIRA
YESU AWA ESSUUBI ERY’OBULAMU MU LUSUKU LWA KATONDA KU NSI
Yesu atwalibwa mu kifo ekiri okumpi n’ekibuga ye n’abamenyi b’amateeka gye bagenda okubattira. Ekifo ekyo kiyitibwa Ggologoosa, oba Ekifo ky’Ekiwanga, era abantu basobola okukirengera “nga bali walako.”—Makko 15:40.
Abasajja bano abasatu baggibwamu ebyambalo byabwe era baweebwa envinnyo etabuddwamu miira n’ekintu ekikaawa. Kirabika, abakazi b’omu Yerusaalemi be batabudde envinnyo eyo era Abaruumi tebagaana bantu kuwa abo abagenda okuttibwa eky’okunywa ekyo ekikendeeza obulumi. Yesu bw’akombako ku ky’okunywa ekyo agaana okukinywa. Lwaki? Ayagala asigale ng’ategeera bulungi ne mu kiseera kino eky’okugesebwa; ayagala afe nga mwesigwa.
Yesu akomererwa ku muti. (Makko 15:25) Abasirikale bakomerera emisumaali mu mikono gye ne mu bigere bye ne giyita mu binywa era awulira obulumi bungi. Omuti kwe bamukomeredde bwe guyimirizibwa, awulira obulumi obutagambika kubanga omubiri gwe gwonna guwaniriddwa misumaali gye bamukubyemu. Kyokka ne mu mbeera eno Yesu takambuwalira basirikale, wabula abasabira nti: “Kitange, basonyiwe, kubanga tebamanyi kye bakola.”—Lukka 23:34.
Mpisa y’Abaruumi okuteekawo akapande akalaga omusango gw’oyo akomereddwa. Ku luno, Piraato ateekawo akapande akaliko ebigambo bino: “Yesu Omunazaaleesi Kabaka w’Abayudaaya.” Ebigambo ebyo biwandiikiddwa mu Lwebbulaniya, mu Lulattini, ne mu Luyonaani, era abantu bangi basobola okubisoma. Ekyo Piraato ky’akoze kiraga nti tasanyukidde Bayudaaya abakalambidde nti Yesu alina okuttibwa. Nga si basanyufu, bakabona abakulu bagamba Piraato nti: “Towandiika nti ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ wabula wandiika nti yagamba, ‘Nze Kabaka w’Abayudaaya.’” Naye olw’okuba Piraato tayagala baddemu kumukozesa ky’atayagala, abaddamu nti: “Kye mpandiise sikiddamu.”—Yokaana 19:19-22.
Bakabona bano abanyiivu ennyo bazzeemu okwogera ku bujulizi obw’obulimba obwaweebwa ku Yesu mu Lukiiko Olukulu. Abo abayita mu kifo Yesu w’akomereddwa banyeenya emitwe nga bagamba nti: “Ggwe eyagamba okumenya yeekaalu ogizimbire mu nnaku ssatu, weerokole ove ku muti ogw’okubonaabona okke wansi.” Mu ngeri y’emu, bakabona abakulu n’abawandiisi bagamba nti: “Kristo Kabaka wa Isirayiri akke okuva ku muti ogw’okubonaabona, tukirabe tulyoke tukkirize.” (Makko 15:29-32) N’abamenyi b’amateeka abakomereddwa ne Yesu nabo bamuvuma wadde nga ye talina musango gwe yazza.
Abasirikale Abaruumi bana nabo bakudaalira Yesu. Bayinza okuba nga babadde banywa envinnyo enkaatuufu, kyokka mu ngeri ey’okukudaala bawaako Yesu nga gy’obeera nti asobola kuva ku muti kw’akomereddwa. Abasirikale bano kirabika batunuulira akapande akali waggulu w’omutwe gwa Yesu ne bamugamba nti: “Bw’oba nga gwe Kabaka w’Abayudaaya weerokole.” (Lukka 23:36, 37) Kirowoozeeko; omusajja akiraze nti ye kkubo, n’amazima, n’obulamu y’ali mu kusekererwa n’okukudaalirwa mu ngeri eno! Wadde kiri kityo, ebyo byonna abigumira era tanenya Bayudaaya n’abasirikale Abaruumi abamukudaalira, wamu n’abamenyi b’amateeka abawanikiddwa okumpi naye.
Abasirikale abana baddidde ebyambalo bya Yesu eby’okungulu ne babigabanyaamu emirundi ena. Bakuba akalulu balabe buli omu ky’anaatwala. Naye ekyambalo kya Yesu eky’omunda kyo kya bbeeyi kubanga “kyali tekyatungibwa wabula nga kyalukibwa bulukibwa okuva wansi okutuuka waggulu.” Abasirikale bagamba nti: “Tetukiyuzaamu, naye tukube akalulu tulabe anaakitwala.” Mu kukola ekyo, batuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Baagabana ebyambalo byange, era engoye zange baazikubira akalulu.”—Yokaana 19:23, 24; Zabbuli 22:18.
Oluvannyuma lw’akaseera omu ku bamenyi b’amateeka akitegeera nti Yesu ateekwa okuba kabaka. Anenya munne ng’amugamba nti: “Totya Katonda n’akatono ng’oli ku kibonerezo kye kimu? Ffe ekibonerezo ekituweereddwa kitugwanira kubanga tufunye ekyo ekigwana bye twakola; naye omusajja ono talina kye yakola.” Yeegayirira Yesu ng’agamba nti: “Onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.”—Lukka 23:40-42.
Yesu amuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) Weetegereze nti Yesu amusuubiza okuba naye mu Lusuku lwa Katonda so si mu Bwakabaka. Ekisuubizo kino kyawukana ku ekyo kye yagamba abatume be, nti banditudde ku ntebe ez’obufuzi wamu naye mu Bwakabaka. (Matayo 19:28; Lukka 22:29, 30) Kirabika omumenyi w’amateeka oyo Omuyudaaya amanyi Olusuku olwali ku nsi Katonda lwe yali awadde Adamu ne Kaawa n’abaana baabwe. Kati omumenyi w’amateeka oyo agenda kufa ng’alina essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda.