LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 1 lup. 6-11
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKITUNDU EKY’OMU GGULU EKY’EKIBIINA KYA YAKUWA
  • EKIBIINA KYA YAKUWA KIGENDA MU MAASO
  • ‘Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • ‘Nnalaba Okwolesebwa kwa Katonda’
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Yakuwa Awa Ekibiina Kye Obulagirizi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
See More
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 1 lup. 6-11

ESSUULA 1

Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala

WALIWO ebibiina bingi nnyo mu nsi. Ebimu bya ddiini, ebirala bya bufuzi, ebirala bya busuubuzi, n’ebirala bikola ku mbeera z’abantu. Ebibiina ebyo byonna birina ebigendererwa bya njawulo, n’enkola za njawulo. Naye waliwo ekibiina kimu eky’enjawulo ennyo ku birala byonna. Ekigambo kya Katonda kiraga nti ekibiina ekyo kye kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

2 Kirungi okuba nti weegasse ku kibiina kya Yakuwa. Mu kiseera kino omaze okutegeera ebyo Katonda by’ayagala, era otandise okubikola. (Zab. 143:10; Bar. 12:2) Kati oli muweereza wa Katonda aweerereza awamu n’ab’oluganda abalala mu nsi yonna. (2 Kol. 6:4; 1 Peet. 2:17; 5:9) Nga Katonda bwe yasuubiza mu Kigambo kye, ofunye emikisa mingi n’essanyu lingi nnyo. (Nge. 10:22; Mak. 10:30) Bw’oneeyongera okukola Yakuwa by’ayagala, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo.​—1 Tim. 6:18, 19; 1 Yok. 2:17.

3 Omutonzi waffe ow’ekitalo, Yakuwa, alina ekibiina eky’enjawulo ennyo ku bibiina ebirala byonna. Ye kennyini y’akiwa obulagirizi era tumwesiga nnyo. Ye Mulamuzi waffe, ye Muteesi waffe ow’amateeka, era ye Kabaka waffe. (Is. 33:22) Olw’okuba Yakuwa Katonda akola ebintu mu ngeri entegeke obulungi, ataddewo enteekateeka ezitusobozesa ‘okukolera awamu naye’ okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.​—2 Kol. 6:1, 2.

4 Ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno egenda esembera, tweyongera okukulaakulana nga tukulemberwa Kabaka waffe, Kristo Yesu. (Is. 55:4; Kub. 6:2; 11:15) Yesu yagamba nti abagoberezi be bandikoze ebisinga ku ebyo bye yakola ng’ali ku nsi. (Yok. 14:12) Kyandibadde bwe kityo kubanga abagoberezi be bandibuulidde okumala ekiseera kiwanvu ate nga beeyongera obungi, bwe batyo ne baba nga basobola okubuulira ekitundu kinene okusinga ye kye yabuulira. Bandibuulidde amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna.​—Mat. 24:14; 28:19, 20; Bik. 1:8.

5 Kino kimaze okutuukirira. Kyokka nga Yesu bwe yagamba, omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gujja kukomekkerezebwa mu kiseera kya Yakuwa ekigereke. Obunnabbi obuli mu Bayibuli bulaga nti olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa lunaatera okutuuka.​—Yow. 2:31; Zef. 1:14-18; 2:2, 3; 1 Peet. 4:7.

Tulina okufuba okukola Katonda by’ayagala. Kino kitwetaagisa okumanya engeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina kya Katonda

6 Olw’okuba tumaze okutegeera ebyo Yakuwa by’ayagala tukole mu kiseera kino, tulina okufuba okubikola. Kino kitwetaagisa okumanya engeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina kya Katonda era n’okutambulira awamu nakyo. Ebyo ebikolebwa mu kibiina byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa ekirimu amateeka, emisingi, ebiragiro, n’enjigiriza endala.​—Zab. 19:7-9.

7 Abantu ba Yakuwa bwe bagoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli, bakolera wamu era baba mu mirembe. (Zab. 133:1; Is. 60:17; Bar. 14:19) Okwagala kwe kusobozesa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna okuba obumu. (Yok. 13:34, 35; Bak. 3:14) Obumu buno butusobozesa okutambulira awamu n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa.

EKITUNDU EKY’OMU GGULU EKY’EKIBIINA KYA YAKUWA

8 Nnabbi Isaaya, Ezeekyeri, ne Danyeri baayolesebwa ne balaba ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. (Is., sul. 6; Ezk., sul. 1; Dan. 7:9, 10) Omutume Yokaana naye yayolesebwa n’alaba ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, era mu kitabo ky’Okubikkulirwa, atubuulira ebimu ku ebyo bye yalaba. Yalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye ey’ekitiibwa ey’obwakabaka era nga yeetooloddwa ebiramu bina ebyali bigamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyaliwo, aliwo, era agenda okujja.” (Kub. 4:8) Yokaana era yalaba Omwana gw’Endiga owa Katonda, Yesu Kristo, “ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka.”​—Kub. 5:6, 13, 14; Yok. 1:29.

9 Olw’okuba mu kwolesebwa kuno Yakuwa atudde ku ntebe ey’obwakabaka, kiraga nti y’akulembera ekibiina. Ebyomumirembe Ekisooka 29:11, 12 woogera ku Yakuwa ne ku kifo ekya waggulu ky’alimu. Wagamba nti: “Ai Yakuwa, oli mukulu, oli wa maanyi, oli mulungi, osukkulumye, era oli wa kitiibwa; kubanga ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ai Yakuwa. Ggwe agulumiziddwa era akulira bonna. Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga byonna; mu mukono gwo mwe muli obuyinza n’amaanyi, era omukono gwo gusobola okuwa abantu obukulu era n’okuwa bonna amaanyi.”

10 Yesu Kristo, akolera awamu ne Yakuwa. Alina ekifo kya waggulu nnyo mu ggulu, era yaweebwa obuyinza bungi nnyo. Mu butuufu, Katonda “yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’amufuula omutwe gw’ebintu byonna ebikwataganyizibwa n’ekibiina.” (Bef. 1:22) Omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Yesu: “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna, buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu, era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.” (Baf. 2:9-11) N’olwekyo, tusaanidde okwesiga ddala Yesu Kristo kubanga mukulembeze mulungi nnyo.

11 Mu kwolesebwa, nnabbi Danyeri yalaba Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka mu ggulu era nga bamalayika ‘lukumi emirundi lukumi bamuweereza, era bamalayika mutwalo emirundi mutwalo bayimiridde mu maaso ge.’ (Dan. 7:10) Eggye lino erya bamalayika Bayibuli eriyita ‘emyoyo egiweereza mu buweereza obutukuvu, egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.’ (Beb. 1:14) Bamalayika abo bonna bategekeddwa bulungi kubanga Bayibuli egamba nti balina ‘entebe z’obwakabaka, obwami, obufuzi, n’obuyinza.’​—Bak. 1:16.

12 Bwe tufumiitiriza ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, tusobola okutegeera ensonga lwaki Isaaya bwe yalaba “Yakuwa ng’atudde ku ntebe empanvu era engulumivu,” ne ‘basseraafi nga bayimiridde waggulu we,’ yagamba nti: “Zinsanze! Nfudde nze, kubanga ndi muntu alina emimwa egitali mirongoofu, era mbeera mu bantu abalina emimwa egitali mirongoofu; amaaso gange galabye Kabaka, Yakuwa ow’eggye yennyini!” Isaaya yakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yalaba ne kiba nti Yakuwa bwe yabuuza ani gw’aba atuma okugenda okulangirira emisango gye, Isaaya yagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”​—Is. 6:1-5, 8.

13 Ne leero, abantu bwe bateegera ekibiina kya Yakuwa era ne bamanya ebyo bye kikola, nabo bakwatibwako nnyo. Ekibiina kya Yakuwa kigenda mu maaso, era tufuba okutambulira awamu nakyo n’okulaga nti tukyesiga.

EKIBIINA KYA YAKUWA KIGENDA MU MAASO

14 Mu Ezeekyeri essuula 1, Yakuwa alagibwa ng’avuga eggaali ery’omu ggulu eddene ennyo. Eggaali eryo eryakaayakana likiikirira ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Yakuwa avuga eggaali eryo mu ngeri nti y’awa ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye obulagirizi era akikozesa okutuukiriza ekigendererwa kye.​—Zab. 103:20.

15 Buli emu ku nnamuziga z’eggaali eryo yali ekiikiddwamu nnamuziga endala, era nga zombi zenkanankana. Eno ye nsonga lwaki nnamuziga ezo zaali zisobola “okugenda ku buli luuyi ku njuyi zonna ennya.” (Ezk. 1:17) Nnamuziga ezo zisobola okukyuka ne zidda ku luuyi olulala mu bwangu ddala. Kyokka ekyo tekitegeeza nti eggaali eryo tewali alivuga oba aliragira gye lirina kugenda. Yakuwa taleka kibiina kye kugenda yonna gye kiba kyagadde. Ezeekyeri 1:20 wagamba nti: “Byagendanga omwoyo gye gwabirazanga.” N’olwekyo, Yakuwa akozesa omwoyo gwe okutwala ekibiina kye yonna gy’ayagala. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Ntambulira wamu n’ekibiina kya Yakuwa?’

16 Okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa tekitegeeza kugenda bugenzi mu nkuŋŋaana na kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ekintu ekisinga okulaga nti omuntu atambulira wamu n’ekibiina kya Yakuwa, kwe kuba nti akulaakulana mu by’omwoyo. Twetaaga “okumanya ebintu ebisinga obukulu” n’okulya emmere yonna ey’eby’omwoyo etuweebwa. (Baf. 1:10; 4:8, 9; Yok. 17:3) Ate era tulina okukijjukira nti bwe wabaawo entegeka ennungi, kiyamba abantu okukolera awamu n’okuba obumu. N’olwekyo tulina okukozesa obulungi ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, ebitone byaffe, n’ebintu ebirala Yakuwa by’atuwadde okusobola okukola obulungi omulimu gwe. Bwe tutambulira awamu n’eggaali lya Yakuwa ery’omu ggulu, engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe eba atuukana bulungi n’obubaka bwe tubuulira.

17 Ekibiina kya Yakuwa kituyamba okweyongera okukola by’ayagala. Kijjukire nti Yakuwa y’avuga eggaali lino ery’omu ggulu. N’olwekyo, bwe tutambulira awamu n’eggaali lye kiba kiraga nti Yakuwa, Olwazi lwaffe, tumwesiga era nti tumuwa ekitiibwa. (Zab. 18:31) Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ajja kuwa abantu be amaanyi. Yakuwa ajja kuwa abantu be emirembe.” (Zab. 29:11) Olw’okuba kati tuli mu kibiina kya Yakuwa, naffe Yakuwa atuwa amaanyi n’emirembe by’awa abantu be abategekeddwa obulungi. Awatali kubuusabuusa, bwe tuneeyongera okukola Yakuwa by’ayagala tujja kufuna emikisa kati era n’emirembe gyonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share