ESSUULA 10
Okugaziya Obuweereza Bwaffe
YESU bwe yali atuma abayigirizwa be okugenda okubuulira, yabagamba nti: “Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono.” Ate era yayongerako nti: “Musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.” (Mat. 9:37, 38) Yesu yalaga abayigirizwa be engeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira, era n’abagamba nti: “Temulimalako bibuga bya Isirayiri byonna ng’Omwana w’omuntu tannatuuka.”—Mat. 10:23.
2 Ne leero, waliwo eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira. Amawulire amalungi ag’Obwakabaka galina okubuulirwa ng’enkomerero tennatuuka, ate ng’ekiseera ekisigaddeyo kitono! (Mak. 13:10) Olw’okuba tulina okubuulira mu nsi yonna, tukyalina omulimu munene nnyo. Tuli batono nnyo bw’otugeraageranya n’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali mu nsi. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba. Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gajja kubuulirwa mu nsi yonna, era ekiseera kya Yakuwa ekigereke bwe kinaatuuka, enkomerero ejja kujja. Tunaakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe tusobole okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu? Biruubirirwa ki bye tuyinza okweteerawo okusobola okukola ekyo?
3 Yesu yalaga ekyo Yakuwa ky’asuubira mu baweereza be. Yagamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Mak. 12:30) Yakuwa ayagala tumuweereze n’omutima gwaffe gwonna. Kino kitegeeza nti okusobola okukiraga nti twagala nnyo Yakuwa era nti ddala twewaayo gy’ali, tulina okuba abanyiikivu mu buweereza. (2 Tim. 2:15) Buli omu ku ffe alina by’asobola okukola mu buweereza okusinziira busobozi bwe. Lowooza ku biruubirirwa ggwe by’osobola okweteerawo okusobola okutuukiriza obuweereza bwo mu bujjuvu.
OKUFUUKA OMUBUULIZI
4 Abantu bonna abakkiriza amazima bafuna enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi. Ogwo gwe mulimu omukulu Yesu gwe yawa abayigirizwa be. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Omuyigirizwa wa Yesu Kristo atandika okubuulira abalala amawulire amalungi amangu ddala nga yaakagawulira. Ekyo kyennyini Andereya, Firipo, Koluneeriyo, n’abalala kye baakola. (Yok. 1:40, 41, 43-45; Bik. 10:1, 2, 24; 16:14, 15, 25-34) Ekyo kitegeeza nti omuntu asobola okubuulira abalala amawulire amalungi ne bw’aba nga tannabatizibwa. Omuntu bw’amala okutuukiriza ebisaanyizo eby’okufuuka omubuulizi atali mubatize, aba asobola okutandika okubuulira nnyumba ku nnyumba. Ate era asobola n’okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira.
5 Omubuulizi bw’amala okubatizibwa, aba ayagala okukola kyonna ky’asobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu abalala. Ffenna, abasajja n’abakazi, tulina enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi. Twesiimye okuba nti naffe tuweereddwa omukisa okuwagira emirimu gy’Obwakabaka bwa Katonda. Omubuulizi bwe yeenyigira mu ngeri ezitali zimu ez’obuweereza, afuna essanyu lingi.
OKUWEEREZA AWALI OBWETAAVU OBUSINGAKO
6 Kiyinzika okuba nti ekitundu ekibiina kyammwe mwe kibuulira kibuuliddwamu nnyo, ne kiba nti abantu abasinga obungi bafunye amawulire amalungi. Bwe kiba bwe kityo, oyinza okuwulira nti osobola okugenda okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako. (Bik. 16:9) Bw’oba ng’oli mukadde oba muweereza mu kibiina, wayinza okubaawo ekibiina ekyetaaga obuyambi bwo. Omulabirizi w’ekitundu ayinza okukuwa amagezi ku ngeri gy’oyinza okuyambamu ekibiina ekirala ekiri mu kitundu kyammwe. Bw’oba ng’oyagala okuweereza mu kitundu ekirala mu nsi yo, ofiisi y’ettabi esobola okukubuulira bye weetaaga okumanya.
7 Wandyagadde okuweereza mu nsi endala? Bwe kiba bwe kityo, osaanidde okulowooza ku bintu ebiwerako ebizingirwamu. Kiba kirungi ensonga eyo n’ogyogerako n’abakadde b’omu kibiina kyo. Awatali kubuusabuusa, okugenda mu nsi endala kijja kubaako eky’amaanyi kye kikola ku bulamu bwo n’obw’abo b’onoogenda nabo. (Luk. 14:28) N’olwekyo, bw’oba tosuubira kubeerayo kiseera kiwanvu, kyandibadde kirungi okugenda mu kitundu ekirala mu nsi yo.
8 Mu nsi ezimu, ab’oluganda abaweereza ng’abakadde baba tebaludde nnyo mu mazima bw’obageraageranya ne bannaabwe ababa bavudde mu nsi endala. Abakadde abeetoowaze baba beetegefu okuleka bannaabwe ababasingako obumanyirivu ababa bavudde mu nsi endala okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. N’olwekyo, bw’oba oli mukadde era ng’olowooza ku ky’okugenda mu nsi endala, kijjukire nti ekiruubirirwa kyo si kuggya buvunaanyizibwa ku b’oluganda b’onoosangayo, wabula kuweerereza wamu nabo. Bakubirize okuluubirira enkizo n’okukkiriza okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina. (1 Tim. 3:1) Bw’olaba ng’ebintu ebimu tebikolebwa nga bwe bikolebwa mu nsi yo, ba mugumiikiriza. Kozesa obumanyirivu bw’ofunye ng’oweereza ng’omukadde okuyamba ab’oluganda. Ekiseera bwe kituuka n’oba ng’olina okuddayo mu nsi yo, abakadde b’onooba oleseewo baba bajja kusobola okulabirira obulungi ekibiina.
9 Akakiiko k’Obuweereza ak’ekibiina mw’oli kaba kalina okuwandiika ebbaluwa ekusemba, ne kagiweereza ku ofiisi y’ettabi ey’ensi gy’oyagala okugendamu, ofiisi y’ettabi ey’ensi eyo n’eryoka ekuwa amannya g’ebibiina by’osobola okugendamu. Ebbaluwa eyo eba yeetaagisa k’obeere ng’oli mukadde, muweereza, payoniya, oba mubuulizi mu kibiina. Ebbaluwa ekusemba egenderako n’ebbaluwa yo erimu by’oyagala okumanya.
OKUBUULIRA ABANTU ABOOGERA OLULIMI OLULALA
10 Bw’oba oyagala okuweereza mu ngeri esingako, oyinza okulowooza ku ky’okuyiga olulimi olulala, nga mw’otwalidde n’olulimi lwa bakiggala. Bw’oba oyagala okuyiga olulimi olulala osobole okubuulira mu lulimi olwo, yogerako n’abakadde oba n’omulabirizi w’ekitundu. Bayinza okukuwa amagezi aganaakuyamba. Mu bitundu ebimu, ofiisi z’amatabi zitaddewo enteekateeka ey’okuyigiriza ababuulizi abamu ne bapayoniya ennimi endala basobole okubuulira abantu aboogera ennimi ezo.
OKUWEEREZA NGA PAYONIYA
11 Ababuulizi bonna basaanidde okuba nga bamanyi ebisaanyizo by’okuweereza nga payoniya omuwagizi, payoniya owa bulijjo, payoniya ow’enjawulo, awamu n’obuweereza obw’ekiseera kyonna obw’engeri endala. Payoniya alina okuba Omukristaayo omubatize era ateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi, ate nga n’embeera emusobozesa okutuukiriza essaawa ezeetaagibwa. Ababuulizi ababa basabye okuweereza nga bapayoniya abawagizi oba bapayoniya aba bulijjo, okusaba kwabwe kukolebwako Akakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza, ate bo bapayoniya ab’enjawulo ofiisi y’ettabi y’ebalonda.
12 Omubuulizi asobola okuweereza nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu, oba emyezi egiwerako egiddiriŋŋana, oba okumala ekiseera ekiwanvu ddala. Waliwo ebiseera ababuulizi bangi bye batera okuweererezaamu nga bapayoniya abawagizi, gamba ng’ekiseera ky’Ekijjukizo, oba mu mwezi omulabirizi w’ekitundu gw’aba akyalidde ekibiina. Ababuulizi abakozi batera okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu biseera we babeerera nga tebakola. Abaana ababatize abasoma, bayinza okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu luwummula. Ate era ababuulizi bayinza okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu myezi essaawa za bapayoniya abawagizi lwe ziba zikendeezeddwako, gamba nga mu Maaki oba Apuli, oba mu mwezi omulabirizi w’ekitundu gw’aba akyalidde ekibiina. Bw’oba nga weeyisa bulungi, era ng’embeera ekusobozesa okuweereza nga payoniya omuwagizi okumala omwezi gumu oba egisingawo, abakadde baba basobola okukukkiriza okuweereza nga payoniya omuwagizi.
13 Okufuuka payoniya owa bulijjo, oteekwa okuba ng’osobola okutuukiriza essaawa bapayoniya aba bulijjo ze balina okubuulira buli mwaka. Bw’oba oweereza nga payoniya owa bulijjo, kiba kirungi okubuulira awamu n’ab’oluganda abali mu kibiina kyo n’okuwagira enteekateeka z’ekibiina. Bapayoniya abanyiikivu baganyula nnyo ekibiina, kubanga batumbula omwoyo gw’okubuulira era bakubiriza abalala okufuuka bapayoniya. Kyokka, omuntu nga tannasaba kuweereza nga payoniya owa bulijjo, alina okuba ng’ateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi era ng’okuva lwe yabatizibwa wayiseewo emyezi mukaaga oba okusingawo.
14 Bapayoniya ab’enjawulo batera kulondebwa mu bapayoniya aba bulijjo abakola obulungi mu buweereza. Balina okuba nga beetegefu okugenda yonna ofiisi y’ettabi gy’eba esazeewo okubaweereza. Batera kuweerezebwa mu bitundu ebyesudde ebirimu abantu abaagala okuyiga amazima, era gye basobola okutandika ebibiina ebipya. Oluusi baweerezebwa mu bibiina ebyetaaga obuyambi okusobola okumalako ekitundu kye birina okubuuliramu. Bapayoniya ab’enjawulo abamu abaweereza ng’abakadde baweerezebwa mu bibiina ebiba byetaaga abakadde, wadde nga biyinza okuba nga tebyetaaga nnyo buyambi mu mulimu gw’okubuulira. Bapayoniya ab’enjawulo baweebwa ssente entonotono okukola ku byetaago byabwe. Bapayoniya ab’enjawulo abamu balondebwa okuweereza okumala ekiseera kitono.
ABAMINSANI
15 Akakiiko k’Obuweereza ak’Akakiiko Akafuzi kasindika abaminsani mu nsi ez’enjawulo, era ofiisi y’ettabi erabirira omulimu mu nsi gye baba basindikiddwa n’ebaweereza mu bitundu ebirimu abantu abangi. Abaminsani banyweza ekibiina era batumbula omulimu gw’okubuulira. Abaminsani abasinga batendekebwa mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Baweebwa aw’okusula era baweebwa ne ssente entonotono ez’okukola ku byetaago byabwe.
OMULABIRIZI W’EKITUNDU
16 Ab’oluganda Akakiiko Akafuzi be kalonda okuweereza ng’abalabirizi b’ebitundu basooka kutendekebwa era ne bafuna obumanyirivu nga baweereza ng’abayambi b’abalabirizi b’ebitundu. Ab’oluganda abo baagala nnyo omulimu gw’okubuulira era baagala nnyo baganda baabwe. Baba babuulizi banyiikivu, era bafuba okwesomesa Bayibuli. Ate era baba boogezi balungi era nga bayigiriza bulungi. Booleka ekibala eky’omwoyo, balina endowooza ennuŋŋamu, si bakakanyavu, era bategeevu. Bwe baba bafumbo, bakyala baabwe baba bateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi mu mpisa ne mu ngeri gye bakolaganamu n’abantu abalala. Abakyala abo nabo babuulira n’obunyiikivu era bagondera abaami baabwe. Tebeetwala nti be balina okwogerera abaami baabwe era bwe baba banyumya n’abalala, tebeefuga mboozi. Abalabirizi b’ebitundu ne bakyala baabwe baba n’eby’okukola bingi. N’olwekyo, abo abaluubirira enkizo eyo balina okuba nga balamu bulungi. Bapayoniya tebasaba kuweereza nga balabirizi ba bitundu, wabula bwe baba nga baagala enkizo eyo, bategeeza omulabirizi w’ekitundu kyabwe, n’abawa ku magezi.
AMASOMERO G’EKIBIINA KYA YAKUWA
17 Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka: Ababuulizi bangi beetaagibwa okubuulira mu bifo ebitatera kubuulirwamu, n’okuyamba ebibiina okunywera mu by’omwoyo. N’olwekyo, ab’oluganda ne bannyinaffe abali obwannamunigina awamu n’abafumbo, bayinza okusaba okugenda okutendekebwa mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Bwe bamala okutendekebwa, basindikibwa okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu bifo awali obwetaavu obusingako mu nsi yaabwe. Kyokka, abamu bayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala mu nsi yaabwe oba mu nsi endala. Abamu bayinza okusindikibwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo nga ba kiseera oba nga ba nkalakkalira. Bapayoniya ababa baagala okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka, ebisaanyizo babimanyira mu lukuŋŋaana olukwata ku ssomero lino olubaawo ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu.
18 Essomero lya Gireyaadi: Ab’oluganda ne bannyinaffe abali obwannamunigina awamu n’abafumbo, abalondebwa okugenda mu ssomero lino, baba bamanyi Olungereza era baba mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Abo ababa batendekeddwa mu ssomero eryo baba basobola okuyamba mu mulimu gw’okubuulira ne mu mirimu egikolebwa ku ofiisi z’amatabi. Ab’oluganda abo baba bakiraze nti baagala nnyo okuweereza abalala, era nti basobola okuyamba baganda baabwe okutegeera n’okugoberera obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. Akakiiko k’Ettabi ke kasalawo baani abawaayo okusaba kwabwe. Abatendekebwa mu ssomero eryo basindikibwa mu nsi yaabwe oba mu nsi endala okubuulira oba okuweereza ku ofiisi y’ettabi.
OKUWEEREZA KU BESERI
19 Okuweereza ku Beseri nkizo ya maanyi nnyo. Ekigambo Beseri kitegeeza “ennyumba ya Katonda,” era ekifo ekyo kigwanira erinnya eryo olw’emirimu egikolebwayo. Abo abaweereza ku Beseri bakola omulimu gwa maanyi nnyo mu kuvvuunula ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli, n’okubituusa mu bitundu ebitali bimu. Bye bakola biyamba nnyo Akakiiko Akafuzi, akalina obuvunaanyizibwa obw’okuwa ebibiina byonna obulagirizi. Ababeseri bangi abavvuunula ebitabo byaffe baweerereza mu bitundu olulimi lwabwe gye lwogerwa. Kino kibasobozesa okuwulira engeri abantu gye bakozesaamu olulimi olwo buli lunaku. Ate era kibasobozesa okumanya obanga abantu bategeera bulungi bye bavvuunula.
20 Emirimu egisinga obungi egikolebwa ku Beseri gyetaaga amaanyi mangi. N’olw’ensonga eyo, abo abayitibwa ku Beseri okusinga baba ba luganda ababatize abakyali abavubuka, nga balamu bulungi, era nga ba maanyi. Bw’oba oyagala okuweereza ku Beseri, osobola okubuuza abakadde abali mu kibiina kyo ne bakubuulira ebyetaagisa.
OMULIMU GW’OKUZIMBA
21 Okuzimba ebizimbe ebikozesebwa mu mirimu gy’Obwakabaka nabwo buweereza butukuvu, ng’okuzimba yeekaalu bwe kwali. (1 Bassek. 8:13-18) Ab’oluganda bangi ne bannyinaffe bakozesa ebiseera byabwe n’ebintu byabwe okuwagira omulimu ogwo.
22 Naawe osobola okuyambako mu kukola omulimu ogwo? Bw’oba ng’oli mubuulizi mubatize era nga wandyagadde okwenyigira mu mulimu ogwo, ab’oluganda abalabirira omulimu gw’okuzimba mu kitundu kyo bajja kusanyuka ng’ogenze okubayambako, era beetegefu okukutendeka wadde nga tolina bumanyirivu mu by’okuzimba. Lwaki totegeezaako abakadde b’omu kibiina kyo nti oyagala okuyambako mu mulimu ogwo? Ababuulizi abamu ababatize abalina ebisaanyizo basobodde n’okugenda mu nsi endala ne bakola nga bannakyewa mu mulimu guno ogw’okuzimba.
23 Waliwo engeri ez’enjawulo abo abaagala okuyambako mu kuzimba ze bayinza okukikolamu. Ab’oluganda ababatize abassaawo ekyokulabirako ekirungi era abalina obumanyirivu mu by’okuzimba, nga basobola okuyambako mu kuzimba ebizimbe okumpi ne we babeera, basobola okuweereza nga Bannakyewa Abazimba Ebizimbe mu Nsi Yaabwe. Abalala basobola okwenyigira mu kuzimba mu bitundu eby’ewalako okumala ekiseera ekitonotono era ofiisi y’ettabi ebalonda okuweereza nga bannakyewa abazimbi okumala ekiseera ekiri wakati wa wiiki bbiri n’emyezi esatu. Abo abalondebwa okuweereza okumala ekiseera ekiwanvu bayitibwa abazimbi ab’ekiseera kyonna. Abazimbi ab’ekiseera kyonna abalondebwa okuweereza mu nsi endala bayitibwa abazimbi ab’ekiseera kyonna abasindikibwa mu nsi endala. Ekibinja ky’Abazimbi kibaamu abazimbi ab’ekiseera kyonna ne bannakyewa abazimbi. Bayambibwako Bannakyewa Abazimba Ebizimbe mu Nsi Yaabwe n’ab’oluganda okuva mu kibiina kye baba bazimbira. Ebibinja by’Abazimbi bye bivunaanyizibwa ku kuzimba ebizimbe mu kitundu ekirabirirwa ofiisi y’ettabi.
OLINA BIRUUBIRIRWA KI EBY’OMWOYO?
24 Bw’oba nga wamala dda okwewaayo eri Yakuwa, ekyo kiraga nti oyagala okumuweereza emirembe gyonna. Naye weeteereddewo biruubirirwa ki eby’eby’omwoyo? Okuba n’ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo kijja kukuyamba okukozesa obulungi amaanyi go n’ebintu ebirala by’olina. (1 Kol. 9:26) Ate era kijja kukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo n’okwemalira ku bintu ebisinga obukulu, nga bw’oluubirira enkizo endala ez’obuweereza.—Baf. 1:10; 1 Tim. 4:15, 16.
25 Omutume Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa mu buweereza bwaffe. (1 Kol. 11:1) Pawulo yali munyiikivu nnyo mu kuweereza Yakuwa. Yakiraba nti Yakuwa yali amuwadde enkizo okumuweereza mu ngeri ez’enjawulo. Yagamba ab’oluganda mu Kkolinso nti: “Oluggi olunene olw’emirimu lunziguliddwawo.” Naffe tuyinza okuweereza Yakuwa mu ngeri ezitali zimu, naddala mu mulimu gw’okubuulira. Naye nga bwe kyali eri Pawulo, okusobola okuyita mu ‘luggi olunene’ kitwetaagisa okulwanyisa “abalabe bangi.” (1 Kol. 16:9) Pawulo yali mumalirivu okufuga omubiri gwe. Yagamba nti: “Nkuba omubiri gwange era ngufuga ng’omuddu.” (1 Kol. 9:24-27) Naffe tulina endowooza ng’eya Pawulo?
Okuba n’ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo kijja kukuyamba okukozesa obulungi amaanyi go n’ebintu ebirala by’olina
26 Buli omu ku ffe akubirizibwa okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. Bangi bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna olw’okuba beeteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo nga bakyali bavubuka. Ne bwe baali nga bakyali baana bato, bazadde baabwe n’abalala baabakubirizanga okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. N’ekivuddemu, bafunye emikisa mingi mu kuweereza Yakuwa, era tebalina kye bejjusa. (Nge. 10:22) Ebiruubirirwa ebirala bye tuyinza okweteerawo kwe kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira buli wiiki, okufuna omuyizi wa Bayibuli, oba okwetegekera obulungi enkuŋŋaana. Ekikulu kwe kusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo ne tutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era tujja kutuuka ku kiruubirirwa kyaffe ekisinga obukulu eky’okumuweereza emirembe gyonna.—Luk. 13:24; 1 Tim. 4:7b, 8.