LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od lup. 185-192
  • Ekitundu 1: Abakristaayo Bye Bakkiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekitundu 1: Abakristaayo Bye Bakkiriza
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Similar Material
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obubaka Bwe Tulina Okubuulira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • “Mukama Waffe, Tuyigirize Okusaba”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od lup. 185-192

EBIBUUZO EBIBUUZIBWA ABO ABAAGALA OKUBATIZIBWA

Ekitundu 1: Abakristaayo Bye Bakkiriza

Okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa kikuyambye okumanya amazima. Ebyo by’oyize bikuyambye okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era bikuyambye okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Okukkiriza kw’olina mu Kigambo kya Katonda kweyongedde, era ofunye emikisa mingi olw’okukolagana n’abo abali mu kibiina Ekikristaayo. Ate era, otegedde engeri Yakuwa gy’akolaganamu n’abantu be leero.​—Zek. 8:23.

Nga weetekerateekera okubatizibwa, abakadde bajja kukubuuza ebibuuzo bino wammanga ebikwata ku bintu ebisookerwako Abakristaayo bye bakkiriza, era ojja kuganyulwa nnyo. (Beb. 6:1-3) Yakuwa ka yeeyongere okukuyamba okumumanya, era k’akuwe empeera gye yasuubiza.​—Yok. 17:3

1. Lwaki oyagala okubatizibwa?

2. Yakuwa y’ani?

• “Yakuwa ye Katonda ow’amazima waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi. Teri mulala.”​—Ma. 4:39.

• “Erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”​—Zab. 83:18.

3. Lwaki osaanidde okukozesa erinnya lya Katonda?

• “Musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.’”​—Mat. 6:9.

• “Buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.”​—Bar. 10:13.

4. Ebimu ku bigambo ebikozesebwa mu Bayibuli okunnyonnyola Yakuwa ky’ali bye biruwa?

• “Yakuwa Omutonzi w’ensi yonna ye Katonda ow’emirembe n’emirembe.”​—Is. 40:28.

• “Kitaffe ali mu ggulu.”​—Mat. 6:9.

• “Katonda kwagala.”​—1 Yok. 4:8.

5. Kiki ky’Osobola okuwa Yakuwa Katonda?

• “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.”​—Mak. 12:30.

• “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.”​—Luk. 4:8.

6. Lwaki oyagala okuba omwesigwa eri Yakuwa?

• “Mwana wange beeranga wa magezi osanyusenga omutima gwange, ndyoke mbeere n’eky’okuddamu eri oyo ansoomooza.”​—Nge. 27:11.

7. Ani gw’osaba era osaba mu linnya ly’ani?

• “Mazima ddala [nze Yesu] mbagamba nti bwe musaba Kitange ekintu kyonna, ajja kukibawa mu linnya lyange.”​—Yok. 16:23.

8. Ebimu ku bintu by’osobola okusaba Katonda bye biruwa?

• “Kale musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Tuwe emmere yaffe eya leero; tusonyiwe amabanja gaffe nga naffe bwe tusonyiwa be tubanja. Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole okuva eri omubi.’”​—Mat. 6:9-13.

• “Buno bwe bwesige bwe tulina mu ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”​—1 Yok. 5:14.

9. Kiki ekiyinza okuviirako Yakuwa obutawuliriza ssaala za muntu?

• “Mulikoowoola Yakuwa abayambe, naye talibaddamu . . . olw’ebintu ebibi bye mukola.”​—Mi. 3:4.

• “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe, naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”​—1 Peet. 3:12.

10. Yesu Kristo y’Ani?

• “Simooni Peetero n’addamu nti: ‘Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.’”​—Mat. 16:16.

11. Lwaki Yesu yajja ku nsi?

• “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”​—Mat. 20:28.

• “[Nze Yesu] nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.”​—Luk. 4:43.

12. Oyinza otya okulaga nti osiima ssaddaaka Yesu gye yawaayo?

• “Yafiirira bonna, abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiirira era n’azuukira.”​—2 Kol. 5:15.

13. Yesu alina buyinza ki?

• “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.”​—Mat. 28:18.

• “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna.”​—Baf. 2:9.

14. Okkiriza nti Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa ye ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ Yesu gwe yalonda?

• “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawanga emmere yaabwe mu kiseera ekituufu?”​—Mat. 24:45.

15. Omwoyo omutukuvu kye ki?

• “Malayika n’amugamba nti: ‘Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Asingayo Okuba Waggulu galikujjako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.’”​—Luk. 1:35.

• “Kale obanga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!”​—Luk. 11:13.

16. Yakuwa akozesezza atya omwoyo gwe omutukuvu?

• “Olw’ekigambo kya Yakuwa eggulu lyakolebwa, n’olw’omukka gw’omu kamwa ke byonna ebiririmu byakolebwa.”​—Zab. 33:6.

• “Mujja kufuna amaanyi, omwoyo omutukuvu bwe gunaabakkako, era mujja kuba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”​—Bik. 1:8.

• “Tewali bunnabbi bwonna mu Byawandiikibwa busibuka mu kulowooza kw’abantu. Kubanga tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.”​—2 Peet. 1:20, 21.

17. Obwakabaka bwa Katonda kye ki?

• “Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna. Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.”​—Dan. 2:44.

18. Obwakabaka bwa Katonda bunaakuganyula butya?

• “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”​—Kub. 21:4.

19. Kiki ekikukakasa nti emikisa gy’Obwakabaka ginaatera okujja?

• “Abayigirizwa be ne bajja w’ali nga bali bokka ne bamugamba nti: ‘Tubuulire, ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo, n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?’ Yesu n’abagamba nti: ‘. . . Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebitali bimu. N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.’”​—Mat. 24:3, 4, 7, 14.

• “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi, nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga baagala eby’amasanyu mu kifo ky’okwagala Katonda, era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko.”​—2 Tim. 3:1-5.

20. Okiraga otya nti Obwakabaka obutwala nga bukulu?

• “Musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe.”​—Mat. 6:33.

• “Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: ‘Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona angobererenga.’”​—Mat. 16:24.

21. Sitaani ne badayimooni be baani?

• “Omulyolyomi ye kitammwe . . . Oyo okuva ku lubereberye mussi.”​—Yok. 8:44.

• “Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani, alimbalimba ensi yonna, ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”​—Kub. 12:9.

22. Biki Sitaani bye yawaayiriza Yakuwa n’abaweereza ba Yakuwa?

• “Omukazi n’agamba omusota nti: ‘Tusobola okulya ku bibala eby’emiti egy’omu lusuku. Naye ku bibala eby’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yagamba nti, “Temugulyangako wadde okugukwatako. Bwe munaakikola mujja kufa.”’ Omusota ne gugamba omukazi nti: ‘Okufa temujja kufa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.’”​—Lub. 3:2-5.

• “Sitaani n’addamu Yakuwa nti: ‘Olususu ku lw’olususu. Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.’”​—Yob. 2:4.

23. Oyinza otya okukiraga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba?

• ‘Weereza Katonda n’omutima gwo gwonna.’​—1 Byom. 28:9.

• “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!”​—Yob. 27:5.

24. Lwaki abantu bafa?

• “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”​—Bar. 5:12.

25. Abafu bali mu mbeera ki?

• “Abalamu bamanyi nti balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Mub. 9:5.

26. Kiki ekinaatuuka ku baafa?

• “Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”​—Bik. 24:15.

27. Bantu bameka abagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu?

• “Laba! Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku Lusozi Sayuuni, ng’ali wamu ne 144,000, abawandiikiddwako erinnya lye n’erya Kitaawe ku byenyi byabwe.”​—Kub. 14:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share