LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 3 lup. 14-lup. 15 kat. 3
  • Adamu ne Kaawa Baajeemera Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Adamu ne Kaawa Baajeemera Katonda
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Ensonga Lwaki Baafiirwa Amaka Gaabwe
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abalala Batusinga
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Obulamu Bwali Butya mu Lusuku lwa Katonda?
    Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Obulamu Obuzibu Butandika
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 3 lup. 14-lup. 15 kat. 3
Adamu ne Kaawa nga bagobeddwa mu lusuku Edeni

ESSOMO 3

Adamu ne Kaawa Baajeemera Katonda

Adamu ng’akutte ekibala Kaawa ky’amuwadde

Lumu Kaawa bwe yali yekka, omusota gwayogera naye. Gwamugamba nti: ‘Kituufu nti Katonda yabagaana okulya ku miti gyonna egy’omu lusuku?’ Kaawa yaguddamu nti: ‘Tusobola okulya ku miti gyonna egy’omu lusuku, okuggyako omuti gumu gwokka. Singa tulya ku bibala by’omuti ogwo tujja kufa.’ Omusota gwamugamba nti: ‘Bwe munaagulyako temujja kufa, wabula mujja kuba nga Katonda.’ Ekyo kyali kituufu? Nedda, obwo bwali bulimba. Naye Kaawa yakkiriza ebyo omusota bye gwamugamba. Kaawa bwe yeeyongera okutunuulira ebibala by’omuti ogwo, yawulira ng’ayagala kubiryako. Yalya ku kibala ky’omuti ogwo n’awaako ne ku Adamu. Adamu yali akimanyi nti bwe bandijeemedde Katonda, bandifudde. Wadde kyali kityo, Adamu yalya ku kibala ekyo.

Adamu ne Kaawa nga bava mu lusuku Edeni era ng’ekitala eky’omuliro ne bamalayika nga bakuuma ekkubo eriyingira mu lusuku Edeni

Ku lunaku olwo lwennyini akawungeezi, Yakuwa yayogera ne Adamu ne Kaawa. Yababuuza ensonga lwaki baali bamujeemedde. Kaawa yeekwasa musota ate ye Adamu ne yeekwasa Kaawa. Olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa, Yakuwa yabagoba mu lusuku. Okusobola okukakasa nti tebaddayo mu lusuku, Yakuwa yateeka bamalayika n’ekitala ekyaka omuliro mu kkubo erigenda mu lusuku.

Ate era Yakuwa yagamba nti n’oyo eyalimba Kaawa yali wa kubonerezebwa. Omusota si gwe gwayogera ne Kaawa. Yakuwa teyatonda misota nga gyogera. Malayika omu omubi ye yayogera ng’ayitira mu musota ogwo. Ekyo yakikola okubuzaabuza Kaawa. Malayika oyo ayitibwa Sitaani Omulyolyomi. Mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa ajja kuzikiriza Sitaani aleme kuddamu kulimbalimba bantu kukola bintu bibi.

“Omulyolyomi . . . okuva ku lubereberye mussi, era teyanywerera mu mazima kubanga amazima tegaamuliimu.”​—Yokaana 8:44

Ebibuuzo: Lwaki Kaawa yalya ekibala? Kiki ekyatuuka ku Adamu ne Kaawa oluvannyuma lw’okujeemera Yakuwa? Sitaani Omulyolyomi y’ani?

Olubereberye 3:1-24; Yokaana 8:44; 1 Yokaana 3:8; Okubikkulirwa 12:9

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share