LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 28 lup. 70-lup. 71 kat. 1
  • Endogoyi ya Balamu Eyogera

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Endogoyi ya Balamu Eyogera
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Endogoyi Eyogera
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ebirimu
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 28 lup. 70-lup. 71 kat. 1
Endogoyi ya Balamu etuula wansi mu kkubo ng’eryabye malayika wa Katonda

ESSOMO 28

Endogoyi ya Balamu Eyogera

Abayisirayiri baali bamaze emyaka nga 40 mu ddungu. Baali bawambye ebibuga bingi eby’amaanyi. Kati baali basiisidde mu ddungu eriri ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani, era baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Balaki, kabaka wa Mowaabu, yatya nnyo ng’alowooza nti Abayisirayiri baali bagenda kuwamba ensi ye. Bw’atyo, yayita omusajja ayitibwa Balamu okujja e Mowaabu akolimire Abayisirayiri.

Naye Yakuwa yagamba Balamu nti: ‘Tokolimira Bayisirayiri.’ Bwe kityo, Balamu yagaana okugenda. Kabaka Balaki yayita Balamu omulundi ogw’okubiri era n’amusuubiza okumuwa kyonna kye yandyagadde. Ne ku mulundi ogwo, Balamu yagaana okugenda. Awo Katonda n’agamba Balamu nti: ‘Oyinza okugenda, naye ojja kwogera ebyo byokka bye nnaakugamba okwogera.’

Balamu yatuula ku ndogoyi ye n’asimbula okugenda e Mowaabu. Balamu yali mwetegefu okukolimira Abayisirayiri wadde nga Yakuwa yali amugaanye okubakolimira. Malayika wa Yakuwa yayimirira mu kkubo emirundi esatu egy’enjawulo okumuziyiza. Balamu yali tasobola kulaba malayika oyo kyokka endogoyi ye yo yali emulaba. Ku mulundi ogwasooka, endogoyi ya Balamu yava mu kkubo n’egenda ku ttale. Ku mulundi ogw’okubiri, endogoyi eyo yeenyigiriza ku kisenge, era n’enyigiriza n’ekigere kya Balamu ku kisenge. Ku mulundi ogw’okusatu, endogoyi eyo yasalawo okutuula wansi mu kkubo. Ku buli mulundi, Balamu yakubanga endogoyi n’omuggo ggwe.

Oluvannyuma Yakuwa yasobozesa endogoyi eyo okwogera. Endogoyi yabuuza Balamu nti: “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino esatu?” Balamu yagiddamu nti: ‘Onfudde ng’omuntu omusiru. Era mba kuba na kitala nnandikusse.’ Endogoyi yamugamba nti: ‘Oneebagalidde emyaka mingi. Naye nnali nkuyisizzaako bwe nti?’

Mu kiseera ekyo Yakuwa yasobozesa Balamu okulaba malayika oyo. Malayika yagamba Balamu nti: ‘Yakuwa yakulagira obutakolimira Bayisirayiri.’ Balamu yagamba malayika nti: ‘Nnyonoonye. Era ka nzireyo.’ Naye malayika yamugamba nti: ‘Osobola okugenda e Mowaabu, naye ebyo byokka Yakuwa by’anaakugamba by’ojja okwogera.’

Ekyo kirina kye kyayigiriza Balamu? Nedda. Oluvannyuma, Balamu yagezaako okukolimira Abayisirayiri emirundi esatu, naye ku buli mulundi Yakuwa yamuleetera okubawa omukisa. Nga wayise ekiseera, Abayisirayiri baalumba Mowaabu, era Balamu yattibwa. Singa Balamu yagondera Yakuwa, teyandifudde!

“Mutunule era mwekuume okwegomba okwa buli ngeri, kubanga omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.”​—Lukka 12:15

Ebibuuzo: Lwaki Balamu yagenda e Mowaabu? Kiki ekyaliwo mu kkubo ng’agenda e Mowaabu?

Okubala 22:1–24:25; 31:8; Nekkemiya 13:2; 2 Peetero 2:15, 16; Yuda 11

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share