LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 36 lup. 88-lup. 89 kat. 1
  • Yefusa Asuubiza Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yefusa Asuubiza Yakuwa
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Obweyamo bwa Yefusa
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yasanyusa Taata We ne Yakuwa
    Yigiriza Abaana Bo
  • Bwe Twoleka Okukkiriza, Tusiimibwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Yefusa Yali Muntu wa bya Mwoyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 36 lup. 88-lup. 89 kat. 1
Yefusa ng’ayuza ebyambalo bye nga muwala we azze okumukulisaayo

ESSOMO 36

Yefusa Asuubiza Yakuwa

Abayisirayiri baddamu okuva ku Yakuwa ne basinza bakatonda ab’obulimba. Abaamoni bwe baalumba Abayisirayiri, bakatonda abo ab’obulimba tebaayamba Bayisirayiri. Abayisirayiri baabonaabona okumala emyaka mingi. N’ekyavaamu, baagamba Yakuwa nti: ‘Twonoonye mu maaso go. Tukwegayiridde, tununule mu mukono gw’abalabe baffe.’ Abayisirayiri baasaanyaawo ebifaananyi bye baali basinza ne baddamu okusinza Yakuwa. Yakuwa yawulira nga takyayagala kulaba Bayisirayiri nga babonaabona.

Omusajja omulwanyi ayitibwa Yefusa ye yalondebwa okukulembera Abayisirayiri okulwanyisa Abaamoni. Yefusa yagamba Yakuwa nti: ‘Bw’onootuyamba okuwangula olutalo luno, bwe nnaddayo eka, nja kukuwa omuntu anaasooka okufuluma mu nnyumba yange okunkulisaayo.’ Yakuwa yaddamu okusaba kwa Yefusa era yamuyamba okuwangula olutalo olwo.

Yefusa bwe yakomawo awaka, omuntu eyasooka okufuluma mu nnyumba okumukulisaayo yali muwala we, omwana omu yekka gwe yalina. Yafuluma ng’azina era ng’akuba akagoma. Kiki Yefusa kye yakola? Yajjukira ekyo kye yasuubiza Yakuwa era n’agamba nti: ‘Zinsanze muwala wange! Onnakuwazza nnyo. Nnina ekintu kye nnasuubiza Yakuwa. Okusobola okukituukiriza, nnina okukusindika ogende oweereze ku weema entukuvu mu Siiro.’ Naye muwala we yamugamba nti: ‘Taata, bw’oba nga wasuubiza Yakuwa, tuukiriza kye wasuubiza. Kyokka nkusaba ekintu kimu; ka nsooke ŋŋende mu nsozi okumala emyezi ebiri mbeereko wamu n’abawala mikwano gyange, oluvannyuma ŋŋende e Siiro.’ Muwala wa Yefusa yaweereza Yakuwa n’obwesigwa ku weema entukuvu obulamu bwe bwonna. Buli mwaka, mikwano gye gyagendanga e Siiro okumukyalira.

Mikwano gya muwala wa Yefusa nga bazze okumukyalirako ku weema entukuvu

“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga nze, tansaanira.”​—Matayo 10:37

Ebibuuzo: Kiki Yefusa kye yasuubiza Yakuwa? Muwala wa Yefusa yeeyisa atya ng’awulidde ekyo taata we kye yasuubiza Yakuwa?

Ekyabalamuzi 10:6–11:11; 11:29-40; 1 Samwiri 12:10, 11

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share