LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 46 lup. 112-lup. 113 kat. 1
  • Ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yalwanirira Okusinza okw’Amazima
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yalwanirira Okusinza Okulongoofu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yatunula era Yalindirira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yatunula era Yalindirira
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 46 lup. 112-lup. 113 kat. 1
Omuliro okuva mu ggulu nga gwokya ekiweebwayo kya Eriya

ESSOMO 46

Ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri

Obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi bwafugibwa bakabaka bangi ababi, era Kabaka Akabu y’omu ku abo abaali basingayo obubi. Yawasa omukazi omubi eyali asinza Bbaali. Omukazi oyo yali ayitibwa Yezebeeri. Akabu ne Yezebeeri bajjuza Isirayiri yonna okusinza kwa Bbaali era batta bannabbi ba Yakuwa. Kiki Yakuwa kye yakolawo? Yatuma nnabbi Eriya okubaako obubaka bw’agamba Akabu.

Eriya yagamba Kabaka Akabu nti olw’okuba yali akola ebintu ebibi, enkuba yali tegenda kutonnya mu Isirayiri. Okumala emyaka egisukka mu esatu, ebimera byali tebisobola kukula era enjala yaluma nnyo abantu. Yakuwa yaddamu n’atuma Eriya eri Akabu. Akabu yagamba Eriya nti: ‘Ggwe oleetedde Isirayiri emitawaana!’ Eriya yamuddamu nti: ‘Si nze yaviirako Isirayiri okubaamu ekyeya. Ggwe waviirako ekyeya kino olw’okuba osinza Bbaali. Naye kati ka tugezese tulabe ani Katonda ow’amazima. Kuŋŋaanyiza abantu b’omu Isirayiri bonna awamu ne bannabbi ba Bbaali ku Lusozi Kalumeeri.’

Abantu baakuŋŋaanira ku lusozi, era Eriya yabagamba nti: ‘Musaleewo kati. Yakuwa bw’aba nga ye Katonda ow’amazima, mumugoberere. Naye Bbaali bw’aba nga ye Katonda ow’amazima, mumugoberere. Ka tukole bwe tuti. Bannabbi ba Bbaali 450 bateeketeeke ekiweebwayo bakoowoole katonda waabwe era nange ŋŋenda kuteekateeka ekiweebwayo nkoowoole Yakuwa. Katonda anaayanukula n’asindika omuliro, nga ye Katonda ow’amazima.’ Ekyo abantu bonna baakikkiriza.

Bannabbi ba Bbaali baateekateeka ekiweebwayo kyabwe. Olunaku lwonna baakoowoola katonda waabwe nga bagamba nti: ‘Ai Bbaali, twanukule!’ Bbaali bw’ataabaanukula, Eriya yatandika okubakudaalira. Yabagamba nti: ‘Mukoowoole nnyo. Bbaali ayinza okuba yeebase era nga kyetaagisa omuntu okumuzuukusa.’ Obudde bwawungeera nga bannabbi ba Bbaali bakyakoowoola katonda waabwe oyo. Naye tewali yabaanukula.

Eriya yateeka ekiweebwayo kye ku kyoto era n’akiyiwako amazzi mangi. Oluvannyuma yasaba ng’agamba nti: ‘Ai Yakuwa, abantu bano ka bamanye nti ggwe Katonda ow’amazima.’ Amangu ddala Yakuwa yasindika omuliro okuva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo kya Eriya. N’ekyavaamu, abantu baagamba nti: ‘Yakuwa ye Katonda ow’amazima!’ Eriya yabagamba nti: ‘Temukkiriza bannabbi ba Bbaali kutoloka!’ Ku lunaku olwo bannabbi ba Bbaali 450 battibwa.

Akale akatono bwe kaalabika ku nnyanja, Eriya yagamba Akabu nti: ‘Enkuba egenda kutonnya. Teekateeka eggaali lyo, ogende ewuwo.’ Eggulu lyakwata ebire, embuyaga n’ekunta, era enkuba ennyingi ennyo n’etonnya. Kyaddaaki ekyeya kyakoma. Akabu yavuga eggaali lye ku sipiidi eya waggulu. Naye Yakuwa yasobozesa Eriya okudduka ku sipiidi esinga ey’eggaali eryo! Kati olwo ebizibu bya Eriya byonna byali biweddewo? Ka tulabe.

“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”​—Zabbuli 83:18

Ebibuuzo: Biki ebyaliwo ku Lusozi Kalumeeri? Yakuwa yaddamu atya essaala ya Eriya?

1 Bassekabaka 16:29-33; 17:1; 18:1, 2, 17-46; Yakobo 5:16-18

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share