LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 47 lup. 114-lup. 115 kat. 3
  • Yakuwa Yazzaamu Eriya Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Yazzaamu Eriya Amaanyi
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Katonda we yamugumya
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Waliwo lw’Olowooza nti Oli Wekka era n’Owulira ng’Otidde?
    Yigiriza Abaana Bo
  • Yatunula era Yalindirira
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Yalwanirira Okusinza okw’Amazima
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 47 lup. 114-lup. 115 kat. 3
Eriya ng’ayimiridde ku mulyango gw’empuku ku Lusozi Kolebu ng’awuliriza malayika wa Katonda ky’amugamba

ESSOMO 47

Yakuwa Yazzaamu Eriya Amaanyi

Yezebeeri bwe yamanya ebyo ebyali bituuse ku bannabbi ba Bbaali, yanyiiga nnyo n’asindikira Eriya obubaka n’amugamba nti: ‘Enkya nange ŋŋenda kukutta ofuuke nga bannabbi ba Bbaali be wasse.’ Eriya yatya nnyo n’addukira mu ddungu. Yasaba n’agamba nti: ‘Ai Yakuwa, kino sisobola kukigumiikiriza. Ndeka nfe.’ Olw’okuba yali akooye, Eriya yagalamira wansi w’akati ne yeebaka.

Malayika yamuzuukusa n’amugamba nti: ‘Golokoka olye.’ Eriya yalaba ensumbi y’amazzi n’omugaati omwetooloovu nga guli ku mayinja agookya. Eriya yalya n’anywa n’addamu ne yeebaka. Oluvannyuma malayika yaddamu n’amuzuukusa n’amugamba nti: ‘Lya. Weetaaga okufuna amanyi kubanga ogenda kutambula olugendo luwanvu nnyo.’ Bwe kityo, Eriya yaddamu n’alya. Oluvannyuma Eriya yatambula okumala ennaku 40 emisana n’ekiro, okutuusa lwe yatuuka ku Lusozi Kolebu. Ng’ali eyo, Eriya yayingira mu mpuku okwebaka. Naye Yakuwa yamubuuza nti: ‘Okola ki wano Eriya?’ Eriya yamuddamu nti: ‘Abayisirayiri bavudde ku ndagaano yo. Baamenya ebyoto byo era ne batta bannabbi bo. Kati nange baagala kunzita.’

Yakuwa yagamba Eriya nti: ‘Genda oyimirire ku lusozi.’ Okusookera ddala, embuyaga ey’amaanyi ennyo yakuntira okumpi n’empuku. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi yayita era oluvannyuma ne wabaawo omuliro. Oluvannyuma, Eriya yawulira eddoboozi erikkakkamu. Eriya yeebikka ekyambalo kye mu maaso n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku. Awo Yakuwa yamubuuza ensonga lwaki yali adduse. Eriya yamugamba nti: ‘Nze muweereza wo nzekka asigaddewo.’ Naye Yakuwa yamugamba nti: ‘Si ggwe wekka asigaddewo. Waliwo abantu abalala 7,000 abakyansinza. Genda olonde Erisa okuba nnabbi anaakuddira mu bigere.’ Amangu ddala, Eriya yagenda n’akola ekyo Yakuwa kye yamulagira okukola. Naawe okkiriza nti bw’onookola Yakuwa by’ayagala, ajja kukuyamba? Mu butuufu, Yakuwa ajja kukuyamba. Kati ka tulabe ekintu ekyaliwo mu kiseera ky’ekyeya.

“Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.”​—Abafiripi 4:6

Ebibuuzo: Lwaki Eriya yadduka? Kiki Yakuwa kye yagamba Eriya?

1 Bassekabaka 19:1-18; Abaruumi 11:2-4

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share