LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 78 lup. 184-lup. 185 kat. 1
  • Yesu Abuulira Ebikwata ku Bwakabaka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Abuulira Ebikwata ku Bwakabaka
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yesu Atuma Abayigirizwa 70 Okugenda Okubuulira
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 78 lup. 184-lup. 185 kat. 1
Yesu n’abayigirizwa be nga babuulira

ESSOMO 78

Yesu Abuulira Ebikwata ku Bwakabaka

Nga wayise ekiseera kitono nga Yesu amaze okubatizibwa, yatandika okubuulira ng’agamba nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ Abayigirizwa baamugoberera ng’agenda abuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya n’ebya Buyudaaya. Yesu bwe yaddayo e Nazaaleesi gye yakulira, yagenda mu kkuŋŋaaniro n’ayanjuluza omuzingo gwa nnabbi Isaaya, n’asoma mu ddoboozi ery’omwanguka nti: ‘Yakuwa ampadde omwoyo omutukuvu nsobole okubuulira amawulire amalungi.’ Ekyo kyalaga ki? Kyalaga nti wadde ng’abantu baali baagala okulaba Yesu ng’akola ebyamagero, ensonga enkulu lwaki Katonda yamuwa omwoyo omutukuvu kwali kumusobozesa kubuulira mawulire malungi. Oluvannyuma lw’okusoma ebigambo ebyo, Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti: ‘Olwa leero obunnabbi buno butuukiridde.’

Oluvannyuma Yesu yagenda ku Nnyanja y’e Ggaliraaya, era eyo gye yasanga Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana, abaali abayigirizwa be ate nga bavubi. Yabagamba nti: “Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.” Amangu ago baaleka omulimu gwabwe ogw’okuvuba ne bagoberera Yesu. Baatambula ne Yesu mu Buyudaaya mwonna nga babuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Yakuwa. Babuulira mu makuŋŋaaniro, mu butale, ne ku nguudo. Ekibiina ky’abantu kyabagobereranga buli gye baagendanga. Amawulire agakwata ku Yesu gaabuna buli wamu, n’okutuukira ddala mu Busuuli.

Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yesu yawa abamu ku bagoberezi be amaanyi okuwonya abantu n’okugoba dayimooni. Abalala baagendanga naye ng’abuulira mu bibuga ne mu byalo. Waaliwo n’abakazi abeesigwa, omwali Maliyamu Magudaleena, Yowaana, Susaana, n’abalala abaaweerezanga Yesu n’abagoberezi be abo.

Oluvannyuma lw’okutendeka abayigirizwa be, Yesu yabatuma okugenda okubuulira. Bwe baagenda babuulira mu bitundu bya Ggaliraaya, abantu abalala bangi baafuuka abayigirizwa era ne babatizibwa. Olw’okuba abantu bangi baali baagala okufuuka abayigirizwa ba Yesu, Yesu yabageraageranya ku nnimiro etuuse okukungula. Yesu yagamba nti: ‘Musabe Yakuwa aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.’ Oluvannyuma yalonda abayigirizwa 70 n’abatuma babiri babiri okubuulira mu bitundu bya Buyudaaya. Abayigirizwa abo baayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka. Oluvannyuma lw’okubuulira, baakomawo nga basanyufu era ne babuulira Yesu engeri okubuulira gye kwali kugenze. Tewali kintu kyonna Sitaani kye yali asobola kukola kuziyiza mulimu gwa kubuulira kugenda mu maaso.

Yesu yatendeka abayigirizwa be basobole okweyongera okukola omulimu gw’okubuulira ng’azzeeyo mu ggulu. Yabagamba nti: ‘Mubuulire amawulire amalungi mu nsi yonna. Muyigirize abantu Ekigambo kya Katonda era mubabatize.’

“Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.”​—Lukka 4:43

Ebibuuzo: Mulimu ki Yesu gwe yawa abayigirizwa be okukola? Abayigirizwa baatwala batya omulimu ogwo?

Matayo 4:17-25; 9:35-38; 28:19, 20; Makko 1:14-20; Lukka 4:14-21; 8:1-3; 10:1-22

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share