LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 80 lup. 188-lup. 189 kat. 1
  • Yesu Alonda Abatume Ekkumi n’Ababiri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Alonda Abatume Ekkumi n’Ababiri
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yesu Alonda Abatume Kkumi na Babiri
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Ayigiriza ku Lusozi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 80 lup. 188-lup. 189 kat. 1
Yesu n’abatume be 12

ESSOMO 80

Yesu Alonda Abatume Ekkumi n’Ababiri

Oluvannyuma lw’okumala omwaka nga gumu n’ekitundu ng’abuulira, Yesu yalina okusalawo ku nsonga enkulu ennyo. Baani be yandironze okukolera awamu naye? Baani be yanditendese okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo? Okusobola okusalawo ku nsonga ezo, Yesu yali yeetaaga obulagirizi bwa Yakuwa. Bwe kityo, yagenda ku ku lusozi yekka n’asaba ekiro kyonna. Enkeera ku makya, Yesu yayita abamu ku bayigirizwa be n’alondamu abatume 12. Omanyi amannya g’abatume ba Yesu 12? Amannya gaabwe ge gano: Peetero, Andereya, Yakobo, Yokaana, Firipo, Battolomaayo, Tomasi, Matayo, Yakobo mutabani wa Alufaayo, Saddayo, Simooni, ne Yuda Isukalyoti.

Andereya, Peetero, Firipo, Yakobo

Andereya, Peetero, Firipo, Yakobo

Abatume abo 12 baali ba kutambulanga ne Yesu. Oluvannyuma lw’okubatendeka, Yesu yabatuma okugenda bokka okubuulira. Yakuwa yawa abatume abo amaanyi okugoba dayimooni n’okuwonya abantu endwadde.

Yokaana, Matayo, Battolomaayo, Tomasi

Yokaana, Matayo, Battolomaayo, Tomasi

Yesu yagamba nti abatume abo ekkumi n’ababiri baali mikwano gye era yali abeesiga. Abafalisaayo baali batwala abatume abo okuba abantu abataasoma era aba wansi. Naye Yesu yabatendeka okukola omulimu ogw’okubuulira. Abatume abo baali wamu ne Yesu ng’ebula ekiseera kitono attibwe era n’oluvannyuma lw’okuzuukira kwe. Okufaananako Yesu, abasinga obungi ku batume 12 baali b’e Ggaliraaya. Abamu ku bo baali bafumbo.

Yakobo mutabani wa Alufaayo, Yuda Isukalyoti, Saddayo, Simooni

Yakobo mutabani wa Alufaayo, Yuda Isukalyoti, Saddayo, Simooni

Abatume abo baali tebatuukiridde era baakolanga ensobi. Oluusi baayogeranga nga tebasoose kulowooza era oluusi baasalangawo mu ngeri etali ya magezi. Ebiseera ebimu tebaabanga bagumiikiriza. Ate era baakaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Naye baali bantu balungi era baali baagala nnyo Yakuwa. Abatume abo be baali bagenda okuba omusingi gw’ekibiina Ekikristaayo oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu.

“Mbayise mikwano gyange kubanga mbategeezezza ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange.”​—Yokaana 15:15

Ebibuuzo: Baani Yesu be yalonda okuba abatume be 12? Kiki Yesu kye yatuma abatume be okukola?

Matayo 10:1-10; Makko 3:13-19; 10:35-40; Lukka 6:12-16; Yokaana 15:15; 20:24, 25; Ebikolwa 2:7; 4:13; 1 Abakkolinso 9:5; Abeefeso 2:20-22

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share