LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 86 lup. 200-lup. 201 kat. 1
  • Yesu Azuukiza Laazaalo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Azuukiza Laazaalo
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • “Nzikiriza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • ‘Okuzuukira n’Obulamu’
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Abantu Abaafa—Bajja Kuzuukira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 86 lup. 200-lup. 201 kat. 1
Laazaalo eyali azuukiziddwa ng’ali ne bannyina, Maliyamu ne Maliza

ESSOMO 86

Yesu Azuukiza Laazaalo

Laazaalo ne bannyina ababiri, Maliyamu ne Maliza, baali babeera Bessaniya era baali mikwano gya Yesu. Lumu, Yesu bwe yali emitala wa Yoludaani, Maliyamu ne Maliza baamuweereza obubaka ne bamugamba nti: ‘Laazaalo mulwadde nnyo. Yanguwako ojje!’ Naye Yesu teyajjirawo. Waayita ennaku bbiri, Yesu n’agamba abayigirizwa be nti: ‘Tugende e Bessaniya. Laazaalo yeebase era ŋŋenda kumuzuukusa.’ Abatume baamugamba nti: ‘Laazaalo bw’aba nga yeebase, ajja kuba bulungi.’ Oluvannyuma Yesu yabagamba kaati nti: ‘Laazaalo afudde.’

Yesu we yatuukira e Bessaniya, Laazaalo yali amaze mu ntaana ennaku nnya. Abantu bangi baali bazze okubudaabuda Maliza ne Maliyamu. Maliza bwe yakiwulira nti Yesu yali azze, yayanguwa n’agenda okumusisinkana. Yamugamba nti: “Mukama wange, singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde.” Yesu yamugamba nti: ‘Maliza, muganda wo ajja kuzuukira. Ekyo okikkiriza?’ Maliza yamuddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” Yesu yamugamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.”

Oluvannyuma Maliza yagenda eri Maliyamu n’amugamba nti: ‘Yesu azze.’ Maliyamu yayimuka mangu n’agenda eri Yesu, era abantu bangi ne bamugoberera. Maliyamu yavunnama mu maaso ga Yesu n’akaaba nnyo. Maliyamu yagamba Yesu nti: “Mukama wange, singa waliwo mwannyinaze teyandifudde!” Yesu bwe yalaba ennaku Maliyamu gye yalimu, naye yatandika okukaaba. Abantu bwe baalaba Yesu ng’akaaba, baagamba nti: ‘Ng’abadde amwagala!’ Kyokka abalala beebuuza nti: ‘Lwaki teyaziyiza mukwano gwe kufa?’ Kiki Yesu kye yakola?

Yesu yagenda ku ntaana mwe baali batadde Laazaalo era entaana yali eteekeddwako ejjinja eddene. Yesu yagamba nti: ‘Muggyeewo ejjinja.’ Maliza yamugamba nti: ‘Kati ateekwa okuba ng’awunya, kubanga waakayita ennaku nnya ng’ali mu ntaana!’ Wadde kyali kityo, baggyawo ejjinja era Yesu n’asaba Katonda ng’agamba nti: ‘Kitange nkwebaza olw’okuba ompulidde. Nkimanyi nti bulijjo ompulira, naye njogedde mu ddoboozi eriwulikika abantu bano bategeere nti ggwe wantuma.’ Oluvannyuma yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Laazaalo, fuluma!” Ekintu ekyewuunyisa kyabaawo: Laazaalo yava mu ntaana ng’akyazingiriddwako engoye. Yesu yagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.”

Bangi ku abo abaalaba ekyamagero ekyo Yesu kye yakola baamukkiririzaamu. Naye abamu ku bo baagenda ne babuulira Abafalisaayo ekyali kibaddewo. Bwe kityo, Abafalisaayo baayagala okutta Laazaalo ne Yesu. Omu ku batume 12 ayitibwa Yuda Isukalyoti, yagenda eri Abafalisaayo mu kyama n’abagamba nti: ‘Munnampa ssente mmeka bwe nnaabayamba okuzuula Yesu?’ Baamusuubiza okumuwa ebitundu bya ffeeza 30, era Yuda yatandika okunoonya engeri y’okuwaayo Yesu eri Abafalisaayo.

“Katonda ow’amazima ye Katonda atulokola;era Yakuwa Mukama Afuga Byonna atuwonya okufa.”​—Zabbuli 68:20

Ebibuuzo: Laazaalo yazuukizibwa atya? Kiki Abafalisaayo kye baayagala okukola oluvannyuma lw’okuwulira nti Yesu yali azuukizza Laazaalo?

Matayo 26:14-16; Yokaana 11:1-53; 12:10

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share