LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 87 lup. 204-lup. 205 kat. 3
  • Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Mu Kisenge Ekya Waggulu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • “Mukolenga Bwe Mutyo Okunzijukiranga Nze”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yesu Anaatera Okukwata Okuyitako Okusembayo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 87 lup. 204-lup. 205 kat. 3
Yesu ng’atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe ng’ali wamu n’abatume be ekkumi n’omu abeesigwa

ESSOMO 87

Eky’Ekiro kya Yesu Ekyasembayo

Buli mwaka mu mwezi gwa Nisaani ng’ennaku z’omwezi 14, Abayudaaya baakwatanga embaga ey’Okuyitako. Embaga eyo yabajjukizanga engeri Yakuwa gye yabanunula okuva mu buddu e Misiri n’abatwala mu Nsi Ensuubize. Mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu n’abatume be embaga ey’Okuyitako baagikwatira mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi. Bwe baali banaatera okumaliriza ekijjulo ekyo, Yesu yagamba nti: ‘Omu ku mmwe agenda kundyamu olukwe.’ Abatume beewuunya nnyo, ne babuuza Yesu nti: ‘Ani oyo?’ Yesu yabaddamu nti: ‘Y’oyo gwe ŋŋenda okuwa omugaati guno.’ Yesu yawa Yuda Isukalyoti omugaati, era amangu ago Yuda yasituka n’afuluma.

Oluvannyuma Yesu yasaba, n’akwata omugaati, n’agumenyamu, n’aguwa abatume be abaali basigaddewo. Yabagamba nti: ‘Mulye omugaati guno. Gukiikirira omubiri gwange ogugenda okuweebwayo ku lwammwe.’ Oluvannyuma yakwata envinnyo n’asaba, era n’agiwa abatume be. Yabagamba nti: ‘Munywe envinnyo eno. Ekiikirira omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa, abantu basobole okusonyiyibwa ebibi. Mbasuubiza nti mujja kufuga nange nga bakabaka mu ggulu. Mukolenga bwe muti buli mwaka okunzijukiranga.’ N’okutuusa leero, buli mwaka nga Nisaani 14 akawungeezi, abagoberezi ba Yesu bakwata omukolo ogwo. Omukolo ogwo kati guyitibwa Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.

Oluvannyuma lw’okulya eky’ekiro ekyo, abatume ba Yesu baakaayana ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Yesu yabagamba nti: ‘Omukulu mu mmwe y’oyo eyeetwala ng’asembayo obuto era asingayo okuba owa wansi mu mmwe.

‘Muli mikwano gyange. Mbabuulira byonna Kitange by’ayagala mbabuulire. Nnaatera okugenda mu ggulu ewa Kitange. Nja kubaleka wano ku nsi, naye bwe munaayagalananga, abantu bajja kumanya nti muli bayigirizwa bange. Mulina okwagalananga nga nze bwe mbadde mbaagala.’

Oluvannyuma Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abayigirizwa be bonna. Yasaba Yakuwa abayambe okukolera awamu mu mirembe. Yasaba erinnya lya Yakuwa litukuzibwe. Oluvannyuma Yesu n’abatume be baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa era bwe baamala okuyimba ne bafuluma wabweru. Ekiseera kyali kisembedde Yesu akwatibwe.

“Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.”​—Lukka 12:32

Ebibuuzo: Kiki Yesu kye yasuubiza abatume be? Bintu ki ebikulu Yesu bye yayigiriza abatume be ku ky’ekiro ekyasembayo ng’ali nabo?

Matayo 26:20-30; Lukka 22:14-26; Yokaana 13:1, 2, 26, 30, 34, 35; 15:12-19; 17:3-26

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share