Ennyanjula yʼEkitundu 7
Ekitundu kino kyogera ku bulamu bwa Kabaka Sawulo ne Kabaka Dawudi, era bye kyogerako byaliwo mu bbanga lya myaka nga 80. Mu kusooka Sawulo yali mwetoowaze era ng’atya Katonda, naye oluvannyuma yakyuka n’alekera awo okugondera Yakuwa. Yakuwa yasalawo okumuggyako obwakabaka era n’alagira Samwiri okufuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri anaddako. Olw’obuggya bwe yalina, emirundi mingi Sawulo yagezaako okutta Dawudi, naye Dawudi teyawoolera ggwanga. Yonasaani mutabani wa Sawulo yali akimanyi nti Yakuwa yali alonze Dawudi, bwe kityo yawagira Dawudi. Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, naye yakkiriza okukangavvula Yakuwa kwe yamuwa. Bw’oba ng’oli muzadde, yamba omwana wo okulaba ensonga lwaki bulijjo kikulu okuwagira enteekateeka za Katonda.