Ennyanjula yʼEkitundu 10
Yakuwa ye Kabaka ow’oku ntikko. Okuva edda n’edda azze ayoleka obuyinza bwe era ajja kweyongera okubwoleka. Ng’ekyokulabirako, yanunula Yeremiya mu kinnya kye yali asuuliddwamu. Yawonya Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego okuva mu muliro, era yakuuma Danyeri n’ataliibwa mpologoma. Yakuwa yakuuma Eseza era n’amukozesa okuwonyaawo eggwanga ly’Abayisirayiri. Yakuwa tajja kuleka bintu bibi kweyongera kubaawo mirembe na mirembe. Obunnabbi obukwata ku kifaananyi ekinene n’omuti omunene bulaga nti mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bwa Yakuwa bujja kumalawo ebintu ebibi byonna era bufuge ensi yonna.