OLUYIMBA 42
Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda
Printed Edition
1. Yakuwa ggwe Muyinza wa Byonna;
Erinnya lyo litenderezebwenga.
Otuukiriza by’oyagala.
Obwakabaka bwo tubwesunga
Era tusaba bujje
’Nsi eryoke ’tereere.
2. Tukwebaza Kitaffe Yakuwa;
Ggw’otuwadde ffe byonna bye tulina.
Ggwe nsibuko y’ekitangaala;
Ggwe nsibuko y’okumanya kwonna.
Ka tukutendereze
Buli lukya Kitaffe.
3. Wadde nga mu nsi tubonaabona,
Ggw’otuyamba ne tugumira byonna.
Kitaffe ggw’otubudaabuda
Ne tuba nga tugumiikiriza.
Kitaffe tuyambenga
Tukole by’oyagala.
(Laba ne Zab. 36:9; 50:14; Yok. 16:33; Yak. 1:5.)