OLUYIMBA 74
Yimba Oluyimba lw’Obwakabaka!
- 1. Oluyimba luno lwa buwanguzi; - Lumutenda Oyo ’w’oku ntikko. - Ebigambo byalwo bigumya bonna. - Yimba naffe, kuba lunyuvu nnyo: - (CHORUS) - ‘Ka tusinze ’Yatutonda. - Omwana we Ye Kabaka! - Oluyimba luno lwa Bwakabaka; - Tenderez’e linnya lya Katonda.’ 
- 2. Nga tuyimba, tulang’o Bwakabaka. - Yesu Kristo ’nsi anaagifuga. - Era kati waliwo ’ggwanga eppya - Nga be basika bw’Obwakabaka: - (CHORUS) - ‘Ka tusinze ’Yatutonda. - Omwana we Ye Kabaka! - Oluyimba luno lwa Bwakabaka; - Tenderez’e linnya lya Katonda.’ 
- 3. Oluyimba luno lwangu ’kuyiga; - Ebigambo byalwo bicamula. - Mu nsi yonna, bangi nnyo baluyize, - Era nabo bayita ’balala: - (CHORUS) - ‘Ka tusinze ’Yatutonda. - Omwana we Ye Kabaka! - Oluyimba luno lwa Bwakabaka; - Tenderez’e linnya lya Katonda.’ 
(Laba ne Zab. 95:6; 1 Peet. 2:9, 10; Kub. 12:10.)