OLUYIMBA 92
Ekifo Ekiyitibwa Erinnya Lyo
Printed Edition
	- 1. Nga nkizo ya maanyi Yakuwa, - ’Kkuzimbira ’kifo kino! - Tukiwaayo gy’oli kaakano - Omanyikire ddala nnyo. - Buli kintu ffe kye tukuwa, - Mazima ggwe wakituwa. - ’Maanyi gaffe n’eby’omuwendo, - Tusanyuk’o kubikuwa. - (CHORUS) - Tukukwas’e kifo kino - ’Linnya lyo limanyibwe. - Tukiwaayo gy’oli leero; - Kitaffe kikkirize. 
- 2. Ka tukutendenga Kitaffe - Nga tuzze mu kifo kino. - Ka beeyongerenga obungi - Abayiga ’makubo go. - ’Kifo kya kukusinzizaamu; - Tujja kukirabirira - Nakyo kiwe obujulirwa, - Nga naffe bwe tubuulira. - (CHORUS) - Tukukwas’e kifo kino - ’Linnya lyo limanyibwe. - Tukiwaayo gy’oli leero; - Kitaffe kikkirize. 
(Laba ne 1 Bassek. 8:18, 27; 1 Byom. 29:11-14; Bik. 20:24.)