OLUYIMBA 112
Yakuwa, Katonda ow’Emirembe
Printed Edition
1. Yakuwa Kitaffe
Emirembe gy’otuwa
Mazima ddala gisinga
Okutegeera kwonna.
Omwana wo Yesu
Omwesigw’e nnyo ddala
Ye yatusembeza gy’oli
Ne tuba mikwano gyo.
2. Ekigambo kyo kye
Kituw’e kitangaala.
Kitukuumye nga tuli mu
Nsi ekutte ’nzikiza.
Tusab’o tuyambe
Tusobol’o kukuuma
Emirembe gy’otuwadde
Egy’omuwendo ddala.
3. B’oyagala bonna
Obasembeza gy’oli.
Tubuulira ’bantu bonna
’Mawulire ’malungi.
Obwakabaka bwo
Bunaggyawo entalo
’Mirembe ’gy’olubeerera
Giryoke gibeerewo.
(Laba ne Zab. 4:8; Baf. 4:6, 7; 1 Bas. 5:23.)