OLUYIMBA 113
Emirembe Gye Tulina
Printed Edition
1. Yakuwa wa mirembe;
Mutendereze.
Aliggyawo entalo,
’Nsi etereere.
’Mwana we wa mirembe
Era wa kisa.
’Mirembe ’gitaggwaawo
Tuligifuna.
2. ’Bigambo ebivuma
Twabireka dda.
’Bitala n’amafumu
Ffe tubyesamba.
Tukuume emirembe
Nga tusonyiwa.
Tufubenga bulijjo
’Kukoppa Kristo.
3. ’Mirembe gyaffe giva
Eri Katonda.
’Mateeka ge malungi
Tugagondere.
Tubeere ba mirembe
Mu bantu bonna.
’Kiseera kinaatuuka
Gibune wonna.
(Laba ne Zab. 46:9; Is. 2:4; Yak. 3:17, 18.)