OLUYIMBA 138
Abalina Envi ba Kitiibwa
Printed Edition
	- 1. Abakaddiye bangi - Mu b’oluganda. - Tuweerereza wamu; - Banywevu ddala. - Abamu bafiiriddwa - ’Baagalwa baabwe. - Yonger’o kubagumya, - Ai Kitaffe. - (CHORUS) - Kitaffe omanyi - ’Bwesigwa bwabwe. - Bazzeemu amaanyi; - K’obasiime ggwe! 
- 2. Bw’oba mu kkubo ’ttuufu - Envi kitiibwa. - ’Beesigwa ba muwendo - Eri Yakuwa. - Tukijjukirenga nti - Baaliko ’bato. - Mu buweereza bwabwe - Baafubanga nnyo. - (CHORUS) - Kitaffe omanyi - ’Bwesigwa bwabwe. - Bazzeemu amaanyi; - K’obasiime ggwe! 
(Laba ne Zab. 71:9, 18; Nge. 20:29; Mat. 25:21, 23; Luk. 22:28; 1 Tim. 5:1.)