OLUYIMBA 148
Yakuwa Alokola
- 1. Yakuwa ye ggwe Katonda omulamu. - ’Mirimu gyo mingi - ku nsi ne mu ggulu. - By’okoze ggwe teriiyo asobola - ’bbikola. - Teri akwenkana. - (CHORUS) - Yakuwa alokola abeesigwa. - Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo. - N’obuvumu, n’okukkiriza, - tumutende - Nnyo Yakuwa; kuba ye - Mulokozi waffe. 
- 2. Nneetooloddwa emiguwa egy’okufa; - Yakuwa mpa ’maanyi, - nnyamba nneme kutya. - Ng’oyima eyo gy’oli, ompulira. - Nnunula; - Ntaasa nze, Kitange. - (CHORUS) - Yakuwa alokola abeesigwa. - Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo. - N’obuvumu, n’okukkiriza, - tumutende - Nnyo Yakuwa; kuba ye - Mulokozi waffe. 
- 3. Ng’oyima mu ggulu, - ojja kuboggola; - ’Balabe bo batye, - ffe nga tujaganya. - Obeera ekyo kyonna ky’oyagala; - ’Balala, - Bajja kukiraba. - (CHORUS) - Yakuwa alokola abeesigwa. - Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo. - N’obuvumu, n’okukkiriza, - tumutende - Nnyo Yakuwa; kuba ye - Mulokozi waffe. 
(Laba ne Zab. 18:1, 2; 144:1, 2.)