OLUYIMBA 149
Oluyimba olw’Obuwanguzi
Printed Edition
1. Tenda Yakuwa. Erinnya lye lya kitiibwa nnyo.
Eggye ly’Abamisiri alisaanyizzaawo.
Mutendereze
Omuyinza w’Ebintu Byonna.
’Linnya lye Yakuwa;
Y’awangudd’o lutalo.
(CHORUS)
Yakuwa, teri alinga ggwe;
Ggwe tokyuka emirembe gyonna.
Erinnya lyo oliritukuza
Ng’oggyawo ’balabe bonna.
2. Laba ’mawanga Gonna ’gawakanya Yakuwa.
Nago ga kuswazibwa,
Wadde ga maanyi nnyo.
Ga kusaanawo
Gonna gonna kw’Amagedoni.
’Linnya lya Katonda
Lirimanyibwa bonna.
(CHORUS)
Yakuwa, teri alinga ggwe;
Ggwe tokyuka emirembe gyonna.
Erinnya lyo oliritukuza
Ng’oggyawo ’balabe bonna.
(Laba ne Zab. 2:2, 9; 92:8; Mal. 3:6; Kub. 16:16.)