AKASANDUUKO 9D
Obunnabbi Obukwata Ku Kutwalibwa Mu Buwambe N’okukomezebwawo
Obunnabbi bungi obukwata ku Bayudaaya okutwalibwa mu buwambe mu Babulooni eky’edda bwatuukirira ku kigero ekisingawo ekibiina Ekikristaayo bwe kyatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Laba ebyokulabirako bino wammanga.
1. OKULABULA |
2. OBUWAMBE |
3. BAGGIBWA MU BUWAMBE |
|
|---|---|---|---|
OKUTUUKIRIZIBWA OKWASOOKA |
Nga 607 E.E.T. Tegunnatuuka—Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri balabula abantu ba Yakuwa; naye obwakyewaggula bugenda mu maaso |
607 E.E.T.—Yerusaalemi kizikirizibwa; abantu ba Katonda batwalibwa mu buwambe e Babulooni |
537 E.E.T. n’Okweyongerayo—Abayisirayiri abeesigwa baddayo e Yerusaalemi, baddamu okuzimba yeekaalu, era okusinza okulongoofu kuzzibwawo |
OKUTUUKIRIZIBWA OKUSINGAWO |
Mu Kyasa Ekyasooka E.E.—Yesu, Pawulo, ne Yokaana balabula ekibiina Ekikristaayo, naye obwakyewaggula bugenda mu maaso |
Ku Ntandikwa y’Ekyasa eky’Okubiri E.E.—Abakristaayo ab’amazima batwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene |
1919 E.E. n’Okweyongerayo—Nga Yesu atandise okufuga, abaafukibwako amafuta abeesigwa baggibwa mu buwambe obw’eby’omwoyo era okusinza okulongoofu ne kuzzibwawo |