ESSOMO 1
Ennyanjula Ennungi
Ebikolwa 17:22
MU BUFUNZE: Ennyanjula yo esaanidde okuleetera abakuwuliriza okwesunga ky’ogenda okwogerako, okumanya ensonga gy’ogenda okwogerako, era n’obukulu bw’ensonga eyo.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Baleetere okwesunga. Kozesa ekibuuzo, ebigambo, ekintu ekyaliwo ddala oba ekibadde mu mawulire, ekiyinza okusikiriza abakuwuliriza.
Laga ky’ogenda okwogerako. Kakasa nti ennyanjula yo eyamba abakuwuliriza okumanya ensonga gy’ogenda okwogerako n’ekigendererwa kyayo.
Laga ensonga lwaki ky’ogenda okwogerako kikulu. Ky’ogenda okwogerako kituukaganye n’ebyetaago by’abakuwuliriza. Balina okutegeera engeri gye banaaganyulwamu.