ESSOMO 12
Okwoleka Omukwano n’Ekisa
1 Abassessalonika 2:7, 8
MU BUFUNZE: Yoleka enneewulira etuukirawo, era laga abakuwuliriza nti obafaako.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Lowooza ku banaakuwuliriza. Lowooza ku bizibu bye boolekagana nabyo. Gezaako okwessa mu bigere byabwe.
Londa ebigambo byo n’obwegendereza. Beera n’ekiruubirirwa eky’okuzzaamu abakuwuliriza amaanyi. Weewale okwogera ebiyinza okubayisa obubi, era toyogera bubi ku bantu ab’amadiini amalala oba ku ebyo bye bakkiririzaamu.
Laga nti obafaako. Yogera mu ddoboozi ery’ekisa olage abakuwuliriza nti obafaako. Teekako akamwenyumwenyu.