LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 18 lup. 21
  • Ebiganyula Abakuwuliriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebiganyula Abakuwuliriza
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okufuba Okutuuka ku Mutima
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okulaga Omuganyulo
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 18 lup. 21

ESSOMO 18

Ebiganyula Abakuwuliriza

Ekyawandiikibwa

1 Abakkolinso 9:19-23

MU BUFUNZE: Leetera abakuwuliriza okufumiitiriza, w’omalira okwogera babe nga bawulira nti balina ekintu eky’omugaso kye bayize.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Lowooza ku bintu abakuwuliriza bye bamanyi. Mu kifo ky’okwogera obwogezi ku bintu bye baawulirako, bayambe okutunuulira ensonga mu ngeri ey’enjawulo.

    Eky’okukola

    Bw’oba oyogera ku bintu ebimanyiddwa, tobirwako nnyo, naye ebintu ebipya binnyonnyole bulungi.

  • Noonyereza era fumiitiriza. Bwe kiba kisoboka, kozesa ekyokulabirako eky’ekintu ekitamanyiddwa nnyo oba ekyakabaawo, okunnyonnyola ensonga enkulu. Weekenneenye by’ogenda okuyigiriza n’engeri gye bikwataganamu n’ekyokulabirako ky’ogenda okukozesa.

    Eky’okukola

    Nga weekenneenya by’ogenda okuyigiriza abalala, weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘kiki, lwaki, ddi, wa, ani, ne mu ngeri ki.’ Bw’oba owa emboozi, buuza ebibuuzo ng’ebyo nga bw’obiddamu, osobole okuginyumisa.

  • Laga omuganyulo oguli mu ebyo by’oyigiriza. Laga engeri ebyawandiikibwa by’osoma gye bisobola okuyambamu abakuwuliriza mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Yogera ku mbeera ezaaliwo, endowooza z’abantu n’ebintu bye baakola, abakuwuliriza bye basobola okufunamu eky’okuyiga.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share