ESSOMO 20
Okufundikira Obulungi
Omubuulizi 12:13, 14
MU BUFUNZE: Mu bigambo by’oyogera ng’ofundikira, kubiriza abakuwuliriza okukkiriza by’obayigirizza n’okubikolerako.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Ebigambo by’oyogera ng’ofundikira bikwataganye n’omutwe gw’emboozi yo. Ddamu okwogera ku nsonga enkulu n’omutwe gw’emboozi yo.
Bakubirize okubaako kye bakolawo. Laga abakuwuliriza eky’okukola era obabuulire n’ensonga lwaki basaanidde okukikola. Yogera n’ebbugumu era nga weekakasa.
By’oyogera ng’ofundikira bisaanidde okuba nga bitonotono ate nga byangu okutegeera. Ng’ofundikira, toleeta nsonga ndala z’otannaba kwogerako. Ng’okozesa ebigambo bitono nga bwe kisoboka, kubiriza abakuwuliriza okukolera ku ebyo bye bawulidde.