LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 3/1 lup. 3-8
  • Okumanya “Endowooza ya Kristo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okumanya “Endowooza ya Kristo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Nga Tannafuuka Muntu
  • Obulamu Bwe ku Nsi n’Ebyabulimu
  • Yesu Kye Yali ng’Omuntu
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Yesu Yayiga Okubeera Omuwulize
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yakuuma, Yalabirira, Yagumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • ‘Omwana Ayagala Okumanyisa Abantu Ebikwata ku Kitaawe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 3/1 lup. 3-8

Okumanya “Endowooza ya Kristo”

“‘Ani amanyi endowooza ya Yakuwa, alyoke, amuyigirize?’ Naye ffe tumanyi endowooza ya Kristo.”​—1 ABAKKOLINSO 2:16, NW.

1, 2. Mu Kigambo kye, Yakuwa yakiraba nga kisaanira kubikkula ki ku Yesu?

YESU yali afaanana atya? Enviiri ze, olususu lwe, n’amaaso ge byali bya langi ki? Yali muwanvu kwenkana wa? Yali azitowa kyenkana wa? Ebyasa bwe bizze biyitawo, ebifaananyi ebikubiddwa ebiraga Yesu bwe yali afaanana byawukanye nnyo ng’ebimu bisaanira ng’ate ebirala tebiyinza kuba bituufu. Ebimu bimulaze nga musajja wa maanyi ow’ebbugumu, ate ebirala bimulaze ng’omunafu era atali wa bbugumu.

2 Kyokka, Baibuli tessa ssira ku ndabika ya Yesu. Wabula, Yakuwa yakiraba nga kisaanira okubikkula ekintu ekisingira ewala obukulu: ekyo Yesu ky’ali. Ebiri mu Njiri tebikoma ku kwogera Yesu bye yayogera ne bye yakola byokka naye era byoleka enneewulira n’endowooza ebyali emabega w’ebigambo bye n’ebikolwa bye. Ebiri mu njiri ennya ebyaluŋŋamizibwa bitusobozesa okumanya ekyo omutume Pawulo kye yayita “endowooza ya Kristo.” (1 Abakkolinso 2:16, NW) Kikulu nnyo ffe okumanya endowooza, enneewulira, n’engeri za Yesu. Lwaki? Lwa nsonga bbiri.

3. Ffe okumanya endowooza ya Kristo kitusobozesa kumanya ki?

3 Esooka, endowooza ya Kristo etusobozesa okumanya endowooza ya Yakuwa Katonda. Yesu yali amanyi nnyo Kitaawe n’aba ng’asobola okugamba: “Tewali muntu amanyi Omwana bw’ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw’ali, wabula Omwana, n’oyo Omwana gw’ayagala okumubikkulira.” (Lukka 10:22) Yesu alinga eyali agamba nti, ‘Singa oyagala okumanya Yakuwa ky’ali, tunuulira nze.’ (Yokaana 14:9) Bwe kityo, bwe tuyiga Enjiri kye zibikkula ku ngeri Yesu gye yalowoozaamu n’enneewulira ze, mu butuufu tuba tuyiga engeri Yakuwa gy’alowoozaamu era n’enneewulira ze. Okumanya ng’okwo kutuyamba okusemberera Katonda.​—Yakobo 4:8.

4. Singa tuli ba kweyisa nga Kristo, tuteekwa kusooka kuyiga ki, era lwaki?

4 Ey’okubiri, okumanya endowooza ya Kristo kutusobozesa ‘okutambulira mu bigere bye.’ (1 Peetero 2:21) Okugoberera Yesu tekitegeeza kuddiŋŋana buddiŋŋanyi bigambo bye n’okukoppa ebikolwa bye. Okuva enjogera n’ebikolwa bwe bikwatibwako ennyo endowooza n’enneewulira, okugoberera Kristo kitwetaagisa okukulaakulanya ‘endowooza’ y’emu gye yalina. (Abafiripi 2:5) Mu ngeri endala, singa tuli ba kweyisa nga Kristo, tuteekwa okusooka okuyiga okulowooza n’okubeera n’enneewulira ng’ezize, kwe kugamba, ng’obusobozi bwaffe ng’abantu abatatuukiridde bwe butusobozesa. Kati nno, nga tuyambibwako abawandiisi b’Enjiri, ka twekkaanye endowooza ya Kristo. Tujja kusooka kwekenneenya ensonga ezirina kye zaakola ku ngeri Yesu gye yalowoozangamu n’enneewulira ze yalina.

Nga Tannafuuka Muntu

5, 6. (a) Mikwano gyaffe giyinza kutukolako ki? (b) Omwana wa Katonda omubereberye yasooka kubeera n’ani mu ggulu nga tannajja ku nsi, era kino kyamukolako ki?

5 Mikwano gyaffe egy’oku lusegere girina kye gikola ku ndowooza yaffe, enneewulira yaffe, n’ebikolwa byaffe, ka kibe kirungi oba kibi.a (Engero 13:20) Lowooza ku nkolagana Yesu gye yalina mu ggulu nga tannajja ku nsi. Enjiri ya Yokaana eyogera ku Yesu nga tannafuuka muntu nga “Kigambo,” oba Omwogezi wa Katonda. Yokaana agamba: “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, era Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo n’aba katonda. Ono ku lubereberye yali ne Katonda.” (Yokaana 1:1, 2, NW) Okuva Yakuwa bw’atalina ntandikwa, Kigambo okubeera ne Katonda okuva ku “lubereberye” kiteekwa okuba nga kitegeeza entandikwa y’emirimu gya Katonda egy’obutonzi. (Zabbuli 90:2) Yesu ye “omubereberye w’ebitonde byonna.” Bwe kityo, yaliwo ng’ebitonde ebirala eby’omwoyo era n’obwengula bwonna nga tebinnatondebwa.​—Abakkolosaayi 1:15; Okubikkulirwa 3:14.

6 Okusinziira ku kubalirira kwa sayansi okumu, obwengula bubaddewo ekiseera ekitakka wansi w’emyaka obuwumbi 12. Okubalirira okwo bwe kubeera nga kutuufu, Omwana wa Katonda omubereberye yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka nga Adamu tannatondebwa. (Geraageranya Mikka 5:2.) Bwe kityo, enkolagana ey’oku lusegere ennyo yakulaakulana wakati waabwe. Ng’oyo akiikirirwa amagezi, Omwana ono omubereberye nga tannafuuka muntu ayogerwako ng’agamba: “Era bulijjo [Yakuwa] yansanyukiranga, nga njaguza bulijjo mu maaso ge.” (Engero 8:30) Mazima ddala, okubeera awamu n’Ensibuko y’okwagala ekiseera ekiwanvu ennyo kirina kinene nnyo kye kyakola ku Mwana wa Katonda! (1 Yokaana 4:8) Omwana ono yamanya era n’ayoleka endowooza ya Kitaawe, enneewulira ze, n’engeri ze mu ngeri omuntu omulala yenna gy’atandisobodde.​—Matayo 11:27.

Obulamu Bwe ku Nsi n’Ebyabulimu

7. Emu ku nsonga lwaki kyali kyetaagisa Omwana wa Katonda omubereberye okujja ku nsi y’eruwa?

7 Omwana wa Katonda yalina bingi ebirala eby’okuyiga, kubanga Yakuwa yalina ekigendererwa eky’okufuula Omwana we Kabona Omukulu, omusaasizi, asobola “[o]kulumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe.” (Abaebbulaniya 4:15) Okusobola okufuna ebisaanyizo ebyetaagisa okukola omulimu guno y’emu ku nsonga lwaki Omwana ono yajja ku nsi ng’omuntu. Ng’ali wano ng’omuntu ow’omubiri n’omusaayi, Yesu yayolekagana n’embeera ze yalabanga obulabi emabega ng’ali mu ggulu. Kati yali asobola okutegeera enneewulira ez’obuntu. Emirundi egimu yakoowa, yalumwa ennyonta, era n’enjala. (Matayo 4:2; Yokaana 4:6, 7) Ekisingawo ku ekyo, yagumira obuzibu n’okubonaabona ebya buli ngeri. Mu ngeri eyo ‘yayiga obuwulize’ era n’afuna ebisaanyizo ebyetaagibwa eri omulimu gwe nga Kabona Omukulu.​—Abaebbulaniya 5:8-10, NW.

8. Kiki kye tumanyi ku bulamu bwa Yesu ku nsi ng’akyali muto?

8 Ate ebyo Yesu bye yayitamu ku nsi ng’akyali muto? Ebyawandiikibwa ku bulamu bwe ng’akyali muto bitono nnyo. Mu butuufu, Matayo ne Lukka be bokka abaayogera ku bintu ebyaliwo ku kuzaalibwa kwe. Abawandiisi b’Enjiri baali bamanyi nti Yesu yaliwo mu ggulu nga tannajja ku nsi. Obulamu bwe nga tannafuuka muntu, okusinga byonna, bwayamba okunnyonnyola kye yandibadde ng’omuntu. Wadde kyali kityo, Yesu yali muntu mu ngeri zonna. Wadde yali atuukiridde, yalina okuyita mu mitendera gyonna egy’okukula okutuuka bwe yafuuka omuntu omukulu, ng’ate eno bw’ayiga. (Lukka 2:51, 52) Baibuli ebikkula ebintu ebimu ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu ng’akyali muto awatali kubuusabuusa ebirina kye byamukolako.

9. (a) Kiki ekiraga nti Yesu yazaalibwa mu maka maavu? (b) Yesu yakulira mu mbeera ki?

9 Okusinziira ku bujulizi obuliwo, Yesu yazaalibwa mu maka maavu. Kino kirabikira ku kiweebwayo Yusufu ne Malyamu kye baaleeta mu yeekaalu nga wayiseewo ennaku nga 40 okuva lwe yazaalibwa. Mu kifo ky’okuleeta endiga ento ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa awamu ne kakaamukuukulu oba ejjiba etto ng’ekiweebwayo olw’ekibi, baaleeta “bukaamukuukulu bubiri oba obuyiba obuto bubiri.” (Lukka 2:24) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, ekiweebwayo kino kyaweebwangayo baavu. (Eby’Abaleevi 12:6-8) Ekiseera bwe kyayitawo, amaka gano amaavu gaagaziwa. Yusufu ne Malyamu baazaala abaana abalala mukaaga mu ng’eri eya bulijjo oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Yesu mu ngeri ey’ekyamagero. (Matayo 13:55, 56) N’olwekyo, Yesu yakulira mu maka manene, nga balina ebintu bitono.

10. Kiki ekiraga nti Malyamu ne Yusufu baali bantu abatya Katonda?

10 Yesu yakuzibwa abazadde abatya Katonda abaali bamufaako. Maama we, Malyamu, yali mukazi mulungi nnyo. Jjukira nti malayika Gabulyeri bwe yali amulamusa, yamugamba: ‘Mirembe, ggwe aweereddwa omukisa, Yakuwa ali naawe.’ (Lukka 1:28) Yusufu naye yali musajja munyiikivu mu by’eddiini. Buli mwaka yatambulanga olugendo lwa mayiro 90 okugenda e Yerusaalemi okukwata Okuyitako. Malyamu naye yagendanga wadde nga basajja bokka be baali beetaagibwa okugenda. (Okuva 23:17; Lukka 2:41) Ogumu ku mirundi egyo, oluvannyuma lw’okunoonya ennyo, Yusufu ne Malyamu baasanga Yesu ow’emyaka 12 mu yeekaalu ng’ali n’abayigiriza. Yesu yagamba bazadde be abeeraliikirivu: ‘Temumanyi nti kiŋŋwanidde okubeera mu nnyumba ya Kitange?’ (Lukka 2:49, NW) “Kitange”​—ekigambo ekyo kiteekwa okuba nga kyalina amakulu ag’omukwano eri Yesu omuto. Kirabika yategeezebwa nti Yakuwa ye yali Kitaawe yennyini. Era, Yusufu ateekwa okuba nga yayisa bulungi Yesu. Mazima ddala, Yakuwa teyandironze musajja mukambwe oba ow’ettima okukuza Omwana We omwagalwa!

11. Mulimu ki Yesu gwe yayiga, era mu biseera bya Baibuli, omulimu guno gwali guzingiramu ki?

11 Mu kiseera kye yamala mu Nazaaleesi, kirabika Yesu yayiga omulimu gw’okubajja, okuva eri Yusufu eyamukuza nga kitaawe. Yesu yayiga bulungi omulimu guno n’atuuka n’okuyitibwa “omubazzi.” (Makko 6:3) Mu biseera bya Baibuli, ababazzi baakozesebwanga okuzimba ennyumba, okukola ebibajje (nga mw’otwalidde emmeeza, entebe, ne foomu), era n’okukola ebyeyambisibwa mu kulima. Mu katabo ke akayitibwa Dialogue With Trypho, Justin Martyr, ow’omu kyasa eky’okubiri C.E, yawandiika bw’ati ku Yesu: “Yakola omulimu gw’obubazzi bwe yali mu bantu, ng’abajja enkumbi ezirima n’ebikoligo.” Omulimu ng’ogwo tegwali mwangu, kubanga omubazzi ow’edda oboolyawo yali tasobola kugula mbaawo. Kirabika, yagendanga n’anoonya omuti n’agutema, n’atwala embaawo eka. N’olwekyo Yesu ayinza okuba yamanya obuzibu obubaawo mu kukola emirimu egikuyimirizaawo, okukolagana ne bakasitoma, era n’okuyimirizaawo amaka mu by’ensimbi.

12. Kiki ekiraga nti Yusufu ye yasooka Yesu okufa, era kino kyanditegeezezza ki eri Yesu?

12 Ng’omwana eyali asinga obukulu, oboolyawo Yesu yayamba mu kulabirira amaka, kuba kirabika nti Yusufu ye yasooka Yesu okufa.b Zion’s Watch Tower aka Jjanwali 1, 1900, kaagamba: “Kikkirizibwa nti Yusufu yafa nga Yesu akyali muto, era nti oluvannyuma Yesu yatandika okuddukanya omulimu gw’okubajja era n’okuyimirizaawo amaka. Kino kifuna obuwagizi mu Byawandiikibwa ebyogera ku Yesu ng’omubazzi, era ne byogera ku maama we ne baganda be, naye ne bitabaako kye byogera ku Yusufu. (Makko 6:3) . . . N’olwekyo, kiyinzika okuba nti ekiseera ekiwanvu eky’emyaka ekkumi n’omunaana eky’obulamu bwa Mukama waffe, okuva ku kiseera [ekyogerwako mu Lukka 2:41-49] okutuuka ku kiseera ky’okubatizibwa kwe, yakimala ng’akola emirimu gy’omu bulamu obwa bulijjo.” Kirabika Malyamu n’abaana be, nga mw’otwalidde ne Yesu, baali bamanyi obulumi obubaawo ng’omwami era taata omwagalwa afudde.

13. Yesu bwe yatandika obuweereza bwe, lwaki yalina okumanya, okutegeera, era n’enneewulira omuntu omulala yenna bye yali tasobola kuba nabyo?

13 Kya lwatu, Yesu teyakulira mu bulamu bwangu. Wabula, ye kennyini yayita mu bulamu bw’omuntu owa bulijjo. Awo, mu 29 C.E, ekiseera ne kituuka Yesu okutandika omulimu ogwamuweebwa Katonda. Mu kitundu ekisembayo eky’omwaka ogwo, yabatizibwa mu mazzi era n’azaalibwa ng’Omwana wa Katonda ow’eby’omwoyo. ‘Eggulu lyamubikkukira,’ kya lwatu nga kiraga nti kati yali asobola okujjukira obulamu bwe mu ggulu nga tannafuuka muntu, nga mw’otwalidde n’ebirowoozo bye era n’enneewulira ze. (Lukka 3:21, 22) Bwe kityo, Yesu bwe yatandika obuweereza bwe, yalina okumanya, okutegeera, n’enneewulira omuntu yenna bye yali tasobola kuba nabyo. Nga balina ensonga ennungi, abawandiisi b’Enjiri baasinga kuwandiika ku byaliwo mu buweereza bwa Yesu. Wadde kyali kityo, tebaasobola kuwandiika bintu byonna bye yayogera ne bye yakola. (Yokaana 21:25) Naye bye baaluŋŋamizibwa okuwandiika bitusobozesa okutegeera endowooza y’omusajja eyasingayo okwatiikirira mu abo abaali babaddewo.

Yesu Kye Yali ng’Omuntu

14. Enjiri zooleka zitya Yesu ng’omuntu ow’omukwano era alina enneewulira ez’amaanyi?

14 Engeri za Yesu ezoolesebwa mu Njiri ze z’omuntu ow’omukwano era alina enneewulira ez’amaanyi. Yayoleka enneewulira ezitali zimu: obusaasizi eri omugenge (Makko 1:40, 41); ennaku olw’abantu abateefiirayo (Lukka 19:41, 42); obusungu obw’obutuukirivu eri abakyusa ssente ab’omululu (Yokaana 2:13-17). Ng’omuntu alumirirwa abalala, Yesu yakaaba n’okukaaba, era teyakweka nneewulira ye ey’omunda. Mukwano gwe Lazaalo bwe yafa, okulaba obulabi Malyamu, mwannyina wa Lazaalo ng’akaaba, kyakwata nnyo ku Yesu n’akaaba amaziga, nga bonna bamulaba.​—Yokaana 11:32-36.

15. Enneewulira za Yesu ez’okufaayo ku balala zeeyoleka zitya mu ngeri gye yatunuuliramu era gye yayisaamu abalala?

15 Enneewulira za Yesu ez’okufaayo ku balala zeeyoleka naddala mu ngeri gye yatunuulirangamu ne gye yayisangamu abalala. Yafaayo ku baavu n’abanyigirizibwa, n’abayamba ‘okufuna ekiwummulo.’ (Matayo 11:4, 5, 28-30) Teyakitwala nti yali akola nnyo okusobola okukola ku byetaago by’abo abali mu nnaku, gamba ng’omukazi eyalina ekikulukuto ky’omusaayi eyakwata ku kyambalo kye, oba muzibe asabiriza eyali tayinza kusirisibwa. (Matayo 9:20-22; Makko 10:46-52) Yesu yanoonyanga ebirungi mu balala era n’abasiima; kyokka, yalinga mwetegefu okuwa okukangavvula nga kyetaagisa. (Matayo 16:23; Yokaana 1:47; 8:44) Mu kiseera ekyo ng’abakazi balina enkizo ntono, Yesu yabawa ekitiibwa ekisaanira. (Yokaana 4:9, 27) N’olwekyo, ekibinja ky’abakazi baamuweerezanga nga bakozesa ebintu byabwe.​—Lukka 8:3.

16. Kiki ekiraga nti Yesu yalina endowooza etegudde lubege ku bulamu n’ebintu?

16 Yesu yalina endowooza etegudde lubege ku bulamu. Ebintu si bye byali bisinga obukulu gy’ali. Kirabika yalina ebintu bitono nnyo. Yagamba nti ‘teyalina w’assa mutwe gwe.’ (Matayo 8:20) Mu kiseera kye kimu, Yesu yayongera ku ssanyu ly’abalala. Bwe yagenda ku mbaga y’obugole​—omukolo ogwaliko ennyimba, okuyimba n’okujaganya​—kya lwatu teyagendayo kumalawo ssanyu ku mukolo ogwo. Mazima ddala, eyo Yesu gye yakolera ekyamagero kye ekyasooka. Omwenge bwe gwaggwaawo, yafuula amazzi omwenge, eky’okunywa ‘ekisanyusa omutima gw’omuntu.’ (Zabbuli 104:15; Yokaana 2:1-11) Bwe kityo embaga yasobola okweyongera mu maaso, era omugole omukazi n’omugole omusajja baawona okuswala. Ekirala ekiraga nti teyagwa lubege kiri nti emirundi egisinga obungi Yesu ayogerwako ng’akola ekiseera ekiwanvu mu buweereza bwe.​—Yokaana 4:34.

17. Lwaki tekyewuunyisa nti Yesu yali Muyigiriza Mukugu, era okuyigiriza kwe kwayoleka ki?

17 Yesu yali Muyigiriza Mukugu. Bingi bye yayigiriza byayoleka ebyabangawo mu bulamu obwa bulijjo, bwe yali amanyi obulungi. (Matayo 13:33; Lukka 15:8) Engeri gye yayigirizaamu yali tegeraageranyizika​—ng’etegeerekeka bulungi, nnyangu, era nga ya mugaso. Ekisingawo n’obukulu by’ebyo bye yayigirizanga. Okuyigiriza kwe kwakyoleka nti yali ayagala nnyo okutegeeza abamuwuliriza endowooza, enneewulira, era n’amakubo ga Yakuwa.​—Yokaana 17:6-8.

18, 19. (a) Yesu yeeyambisa byakulabirako ki okwogera ku Kitaawe? (b) Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?

18 Emirundi mingi Yesu yakozesanga ebyokulabirako era yayogera ku Kitaawe nga yeeyambisa ebyokulabirako ebitali byangu bya kwerabira. Oyinza okwogera ku busaasizi bwa Katonda. Naye kiba kya njawulo okugeraageranya Yakuwa ku taata asonyiwa akwatibwako ennyo bw’alaba omwana we ng’akomawo n’atuuka ‘n’okudduka n’amunywegera.’ (Lukka 15:11-24) Nga yeesamba empisa y’abakulembeze b’eddiini ey’okunyooma abantu aba bulijjo, Yesu yannyonnyola nti Kitaawe ye Katonda atuukirikika eyasiima okusaba kw’omuwooza omwetoowaze mu kifo ky’okusaba kw’Omufalisaayo eyeewaana. (Lukka 18:9-14) Yesu yayogera ku Yakuwa nga Katonda afaayo amanya n’enkazaluggya egwa wansi. “Temutya,” bw’atyo Yesu bwe yagumya abayigirizwa be, “mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29, 31) Nga kitegeerekeka bulungi, abantu ‘beewuunya engeri Yesu gye yayigirizaamu’ era baasikirizibwa gy’ali. (Matayo 7:28, 29) Weewuunye, lumu ‘ekibiina ekinene’ kyali naye ennaku ssatu, nga tebalidde na mmere!​—Makko 8:1, 2.

19 Tuyinza okubeera abasanyufu nti Yakuwa abikkudde mu Kigambo kye endowooza ya Kristo! Kyokka, tuyinza tutya okukulaakulanya n’okwoleka endowooza ya Kristo mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala? Kino kijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Eky’okuba nti ebitonde eby’omwoyo biyinza okutwalirizibwa bye bibeera nabyo, kiragibwa mu Okubikkulirwa 12:3, 4. Awo Setaani ayogerwako nga “ogusota” ogwasendasenda “emmunyeenye” endala, oba abaana abalala ab’omwoyo, okumwegattako mu kkubo ery’obujeemu.​—Geraageranya Yobu 38:7.

b Yusufu asembayo okwogerwako obutereevu Yesu ow’emyaka 12 bwe yasangibwa mu yeekaalu. Tewali wonna we kigambibwa nti Yusufu yaliwo ku mbaga y’obugole eyali e Kaana, ku ntandikwa y’obuweereza bwa Yesu. (Yokaana 2:1-3) Mu 33 C.E, Yesu eyali akomereddwa ku muti yakwasa omutume Yokaana omwagalwa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira Malyamu. Ekyo Yesu teyandikikoze singa Yusufu yali akyali mulamu.​—Yokaana 19:26, 27.

Okyajjukira?

• Lwaki kikulu nnyo ffe okumanya “endowooza ya Kristo”?

• Yesu yali n’ani nga tannafuuka muntu?

• Mu bulamu bwe obw’oku nsi, mbeera ki Yesu ze yayitamu?

• Enjiri zibikkula ki ku ngeri za Yesu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Yesu yakulira mu maka manene, kirabika nga baalina ebintu bitono

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Abayigiriza beewuunya okutegeera kwa Yesu ow’emyaka 12 n’ebyo bye yaddamu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share