LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 4/1 lup. 19-24
  • Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okufuusibwa kwa Yesu Kuzimba Okukkiriza
  • Engeri Emmunyeenye Ekeesa Obudde gy’Erabikamu
  • “Ekitangaala Kizze mu Nsi”
  • Ebyayolesebwa Ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda Bituukirira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Kristo—Oyo Obunnabbi Gwe Bwali Busongako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Kristo Afuusibwa—Alabikira mu Kitiibwa
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 4/1 lup. 19-24

Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi

“Tweyongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi; era mukola bulungi okukissaako omwoyo.”​—2 Peetero 1:19, NW.

1, 2. Kyakulabirako ki ekya masiya ow’obulimba ky’oyinza okuwaayo?

OKUMALA ebyasa by’emyaka, bamasiya ab’obulimba bagezezzaako okulagula eby’omu biseera eby’omu maaso. Mu kyasa eky’okutaano C.E., omusajja eyali yeeyita Musa yamatiza Abayudaaya abaali ku kizinga ky’e Kuleete nti ye yali masiya era nti yandibanunudde okuva mu kunyigirizibwa. Olunaku lwe yabagamba okubanunula bwe lwatuuka, baamugoberera ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekitunudde mu Nnyanja Mediterranean. Yabagamba nti bwe bandyesudde mu nnyanja eyo, yandyeyawuddemu. Bangi abeesuula mu nnyanja baafiiramu, era masiya oyo ow’obulimba n’abulawo.

2 Mu kyasa 12, “masiya” omulala yalabika mu Yemen. Kaliifa, oba omufuzi, yamusaba abawe akabonero akalaga nti ye masiya. “Masiya” ono yagamba kaliifa amutemeko omutwe. Yalagula nti okuzuukizibwa kwe okw’amangu ke kandibadde akabonero. Kaliifa yakkiriza okukikola​—era eyo ye yali enkomerero ya “masiya” oyo.

3. Ani yali Masiya ow’amazima, era obuweereza bwe bwakakasa ki?

3 Bamasiya ab’obulimba n’obunnabbi bwabwe balemereddwa ddala, naye okussaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi tekuba kwa bwereere. Masiya ow’amazima, Yesu Kristo, yatuukiriza obunnabbi bungi obwa Baibuli. Ng’ekyokulabirako, ng’ajuliza obunnabbi bwa Isaaya, Matayo omuwandiisi w’Enjiri yawandiika bw’ati: “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, ekkubo ly’ennyanja, emitala wa Yoludaani, e Ggaliraaya ey’amawanga, abantu abaali batuula mu kizikiza, baalaba omusana mungi [“ekitangaala kingi,” NW] n’abo abaali batuula mu nsi y’okufa ne mu kisiikirize kyakwo, omusana gwabaakira [“ekitangaala kyabaakira,” NW]. Yesu n’asookera awo okubuulira n’okugamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Matayo 4:15-17; Isaaya 9:1, 2) Yee, Yesu Kristo ye yali ‘ekitangaala ekyo eky’amaanyi,’ era obuweereza bwe bwakakasa nti ye yali Nnabbi Musa gwe yalagulako. Abo abatandiwulirizza Yesu bandizikiriziddwa.​—Ekyamateeka 18:18, 19; Ebikolwa 3:22, 23.

4. Yesu yatuukiriza atya Isaaya 53:12?

4 Era Yesu yatuukiriza obunnabbi bw’omu Isaaya 53:12: “Yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n’abalirwa wamu n’abasobya: naye yeetikka ekibi ky’abangi, era yawolereza abasobya.” Ng’akimanyi nti mu kaseera katono yandiwaddeyo obulamu bwe obw’obuntu ng’ekinunulo, Yesu yanyweza okukkiriza kw’abayigirizwa be. (Makko 10:45) Yakola kino mu ngeri ey’enkukunala okuyitira mu kufuusibwa kwe.

Okufuusibwa kwa Yesu Kuzimba Okukkiriza

5. Mu bigambo byo, wandinnyonnyodde otya okufuusibwa kwa Yesu?

5 Okufuusibwa kwa Yesu bwali bunnabbi. Yesu yagamba: “Omwana w’omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be . . . Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n’akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w’omuntu ng’ajja mu bwakabaka bwe.” (Matayo 16:27, 28) Ddala abamu ku batume baalaba Yesu ng’ajja mu Bwakabaka bwe? Matayo 17:1-7 lugamba: “Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka: n’afuusibwa mu maaso gaabwe.” Ekyaliwo kino nga kyali kikulu nnyo! “Amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng’omusana. Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye.” Era, “ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza” era baawulira eddoboozi lya Katonda kennyini nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire. Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo. Yesu n’ajja n’abakomako n’agamba nti Muyimuke, temutya.”

6. (a) Lwaki Yesu yayita okufuusibwa kwe okwolesebwa? (b) Okufuusibwa kwa Yesu kwali kusonga ku ki?

6 Kirabika ebyewuunyisa bino byaliwo ku Lusozi Kerumooni, Yesu n’abatume be abasatu gye baamala ekiro kyonna. Kirabika okufuusibwa kuno kwaliwo kiro, ne kikusobozesa okulabika obulungi. Ensonga emu lwaki Yesu yakuyita okwolesebwa yali nti Musa ne Eriya, abaali baafa edda, tebaaliwo ddala. Kristo yekka ye yaliwo ddala. (Matayo 17:8, 9) Okufuusibwa okwo okw’ekitalo kwalengeza Peetero, Yakobo, ne Yokaana ku kubeerawo kwa Yesu okw’ekitiibwa mu buyinza bw’Obwakabaka. Musa ne Eriya bakiikirira abaafukibwako amafuta abanaafugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka, era okwolesebwa kuno kwanyweza obujulizi Yesu bwe yawa obukwata ku Bwakabaka n’obufuzi bwe obw’omu biseera eby’omu maaso.

7. Tumanya tutya nti Peetero yali akyajjukira bulungi okufuusibwa kwa Yesu?

7 Okufuusibwa kwa Yesu kwayamba okunyweza okukkiriza kw’abatume abasatu abaali ab’okuba n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina Ekikristaayo. Obwenyi bwa Kristo okumasamasa ennyo, engoye ze okumasamasa ennyo, n’eddoboozi lya Katonda kennyini okugamba nti Yesu yali Mwana We omwagalwa gwe basaanidde okuwuliriza​—bino byonna byatuukiriza bulungi nnyo ekigendererwa kyabyo. Naye abatume tebaalina kubuulira muntu yenna bye baayolesebwa okutuusa nga Yesu amaze okuzuukizibwa. Nga wayiseewo emyaka nga 32, Peetero yali akyajjukira bulungi nnyo okwolesebwa kuno. Ng’akwogerako awamu n’amakulu gaakwo, yawandiika: “Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n’amagezi bwe twabategeeza obuyinza n’okujja [“okubeerawo,” NW] kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n’amaaso gaffe obukulu bwe. Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n’ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy’ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo: n’eddoboozi eryo ffe ne tuliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.”​—2 Peetero 1:16-18.

8. (a) Katonda bye yalangirira ebikwata ku Mwana we byassa essira ku ki? (b) Ekire ekyalabika mu kufuusibwa kwa Yesu kyali kiraga ki?

8 Ekyali kisinga obukulu kwe kulangirira kwa Katonda nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.” Ebigambo bino bissa essira ku Yesu nga Kabaka Katonda gwe yatuuza ku ntebe, ebitonde byonna gwe biteekwa okugondera. Ekire ekyamusiikiriza kyalaga nti okutuukirizibwa kw’okwolesebwa kuno tekujja kulabika. Abo bokka abategeera “akabonero” k’okubeerawo kwa Yesu okutalabika mu buyinza bw’Obwakabaka be bandikulabye n’amaaso ag’okutugeera. (Matayo 24:3) Mu butuufu, Yesu okubalabula obutabuulira muntu yenna ku kwolesebwa kuno okutuusa ng’azuukiziddwa mu bafu, kiraga nti okugulumizibwa kwe kwandibaddewo oluvannyuma lw’okuzuukira kwe.

9. Lwaki okufuusibwa kwa Yesu kwandinywezezza okukkiriza kwaffe?

9 Oluvannyuma lw’okwogera ku kufuusibwa, Peetero yagamba: “N’olwekyo, tweyongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi; era mukola bulungi okukissaako omwoyo ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’erabika, mu mitima gyammwe. Kubanga mukimanyi nti tewali bunnabbi bwa mu Byawandiikibwa obusibuka eri omuntu yenna. Kubanga tewali bunnabbi bwaleetebwa kwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga baluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu.” (2 Peetero 1:19-21, NW) Okufuusibwa kwa Yesu kwoleka nti ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kyesigika. Tuteekwa okussa omwoyo ku kigambo ekyo so si ku “ngero ezaagunjibwa n’amagezi,” ezitasiimibwa Katonda. Okukkiriza kwaffe mu kigambo eky’obunnabbi kwandinywezeddwa okufuusibwa kwa Yesu kubanga okwolesebwa okwo okwali kusonga ku kitiibwa kya Yesu n’obuyinza bw’Obwakabaka kutuukiridde. Yee, waliwo obujulizi bungi obulaga nti Kristo w’ali leero nga Kabaka ow’amaanyi mu ggulu.

Engeri Emmunyeenye Ekeesa Obudde gy’Erabikamu

10. “Emmunyeenye ekeesa obudde” Peetero gye yayogerako y’ani oba kye ki, era lwaki oddamu bw’otyo?

10 Peetero yawandiika: “Mukola bulungi okukissaako omwoyo ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’erabika.” “Emmunyeenye ekeesa obudde” y’ani oba kye ki? Ebigambo “emmunyeenye ekeesa obudde” birabika omulundi gumu gwokka mu Baibuli, era birina amakulu ge gamu ne “emmunyeenye ey’enkya.” Okubikkulirwa 22:16 luyita Yesu Kristo “emmunyeenye eyaka [ennyo] ey’enkya.” Mu biseera ebimu eby’omwaka, emmunyeenye ng’ezo ze zisembayo okulabika ebuvanjuba. Zirabika ng’enjuba eneetera okuvaayo, era n’olw’ensonga eyo, zooleka nti olunaku oluppya lutandise. Peetero yakozesa ebigambo “emmunyeenye ekeesa obudde” okwogera ku Yesu oluvannyuma lw’okufuna obuyinza bw’Obwakabaka. Mu kiseera ekyo, Yesu yalabika mu butonde bwonna, nga mw’otwalidde n’ensi yaffe! Nga Masiya Emmunyeenye Ekeesa Obudde, ayoleka olunaku oluppya, oba ekiseera ekippya, ku bikwata ku bantu abawulize.

11. (a) Lwaki 2 Peetero 1:19 terutegeeza nti “emmunyeenye ekeesa obudde” erabika mu mitima gy’abantu gyennyini? (b) Wandinnyonnyodde otya 2 Peetero 1:19?

11 Enkyusa za Baibuli nnyingi ziwa endowooza nti ebigambo by’omutume Peetero ebiri mu 2 Peetero 1:19 byogera ku mutima gw’omuntu. Omutima gw’omuntu omukulu guzitowa awunzi eziri wakati wa 9 ne 11. Kati olwo, Yesu Kristo​—ekitonde eky’omwoyo eky’ekitiibwa ekitafa ekiri mu ggulu​—ayinza atya okulabika mu mitima gy’omuntu emitono bwe gityo? (1 Timoseewo 6:16) Kya lwatu, emitima gyaffe gikwatibwako ku nsonga eno, kubanga gye tukozesa okussaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi. Naye wekkaanye 2 Peetero 1:19, era ojja kulaba nti New World Translation ekozesa obubonero obuwummuza okwawula ebigambo “okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’erabika” okuva ku bigambo ebisooka mu lunyiriri era n’okuva ku bigambo “mu mitima gyammwe.” Olunyiriri luno luyinza okuteekebwa bwe luti: “Tweyongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi; era mukola bulungi okukissaako omwoyo ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza, kwe kugamba, mu mitima gyammwe, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’erabika.’

12. Okutwalira awamu emitima gy’abantu giri mu mbeera ki, naye kiri kitya ku Bakristaayo ab’amazima?

12 Emitima gy’abantu aboonoonyi egy’akabonero giri mu mbeera ki? Emitima gyabwe giri mu kizikiza eky’eby’omwoyo! Kyokka, bwe tubeera Abakristaayo ab’amazima, tubanga abalina ettabaaza eyaka mu mitima gyaffe. Nga bwe kiragiddwa mu bigambo bya Peetero, Abakristaayo ab’amazima bwe bassaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi ekiwa ekitangaala, baba basobola okubeera obulindaala era n’okutegeera nti olunaku oluppya lutandise. Bandikitegedde nti Emmunyeenye Ekeesa Obudde yalabika, si mu mitima gy’abantu, naye mu maaso g’obutonde bwonna.

13. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Emmunyeenye Ekeesa Obudde yamala dda okulabika? (b) Lwaki Abakristaayo basobola okugumira embeera enzibu Yesu ze yalagula okubaawo mu kiseera kyaffe?

13 Emmunyeenye Ekeesa Obudde yamala dda okulabika! Tuyinza okubeera abakakafu ku ekyo nga tussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Yesu obukulu obukwata ku kubeerawo kwe. Kati tulaba okutuukirizibwa kwabwo mu bintu ng’entalo ez’amaanyi, enjala, musisi, n’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. (Matayo 24:3-14) Wadde embeera enzibu Yesu ze yalagula naffe Abakristaayo zitukwatako, tusobola okugumiikiriza nga tulina eddembe n’essanyu mu mutima. Lwaki? Kubanga tussaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi era tukkiririza mu by’asuubiza mu biseera eby’omu maaso. Tukimanyi nti tuli kumpi okutuuka mu biseera ebisingayo obulungi kubanga tuli wala nnyo mu ‘kiseera eky’enkomerero’! (Danyeri 12:4) Ensi eri mu mbeera embi eyalagulwa mu Isaaya 60:2: “Laba, ekizikiza kiribikka ku nsi n’ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga.” Omuntu yenna ayinza atya okulaba ekkubo mu kizikiza kino? Mu bwetoowaze, omuntu ateekwa okussaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi kati ng’ekiseera tekinnaggwaayo. Abantu ab’emitima emyesigwa beetaaga okwesiga Yakuwa Katonda, Ensibuko y’obulamu n’ekitangaala. (Zabbuli 36:9; Ebikolwa 17:28) Okukola ekyo ye ngeri yokka omuntu gy’ayinza okufunamu ekitangaala eky’amazima, era n’essuubi ery’okunyumirwa ebiseera eby’omu maaso eby’ekitalo Katonda by’ategekedde abantu abawulize.​—Okubikulirwa 21:1-5.

“Ekitangaala Kizze mu Nsi”

14. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okulaba okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Baibuli eby’ekitalo?

14 Ebyawandiikibwa bikiraga bulungi nti Yesu Kristo kati afuga nga Kabaka. Olw’okuba yajja mu buyinza mu 1914, obunnabbi obw’ekitalo bujja kutuukirira. Ffe okusobola okulaba okutuukirizibwa kw’abo, tulina okubeera abantu abawombeefu abakkiririza mu Yesu Kristo, era ne twenenya ebikolwa ebibi bye twakola mu butamanya. Kya lwatu, abo abaagala ekizikiza tebajja kufuna bulamu obutaggwaawo. Yesu yagamba bw’ati: “Kino kye kisinziirwako okusala omusango, nti ekitangaala kizze mu nsi naye abantu ne baagala ekizikiza okusinga ekitangaala, kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa ekitangaala era tajja eri kitangaala ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. Naye akola eby’amazima ajja eri ekitangaala ebikolwa bye birabike nga byakolebwa bumu ne Katonda.”​—Yokaana 3:19-21, NW.

15. Kiki ekinaabaawo singa tulagajjalira obulokozi Katonda bw’atuteereddewo okuyitira mu Mwana we?

15 Ekitangaala eky’eby’omwoyo kyajja mu nsi okuyitira mu Yesu, era kikulu nnyo okumuwuliriza. Pawulo yawandiika: “Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi, mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna.” (Abaebbulaniya 1:1, 2) Kati, kiki ekinaabaawo singa tulagajjalira obulokozi buno Katonda bw’atuteereddewo okuyitira mu Mwana we? Pawulo yeeyongera n’agamba: “Kuba oba ng’ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n’obutawulira byaweebwanga empeera ey’ensonga; ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? [O]bwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira; era Katonda ng’ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by’amagero era ne mu by’amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby’[o]mwoyo [o]mutukuvu, nga bwe yayagalanga yekka[?]” (Abaebbulaniya 2:2-4) Yee, Yesu alina ekifo kikulu ku bikwata ku kulangirira ekigambo ky’obunnabbi.​—Okubikkulirwa 19:10, NW.

16. Lwaki tuyinza okubeera n’okukkiriza okujjuvu mu bunnabbi bwa Yakuwa Katonda bwonna?

16 Nga bwe twalabye, Peetero yagamba: “Tewali bunnabbi bwa mu Byawandiikibwa obusibuka ku muntu yenna.” Abantu, ku lwabwe, tebayinza kuleetawo bunnabbi bwa mazima, naye tuyinza okuba n’obwesige obujjuvu mu bunnabbi bwa Katonda bwonna. Buno buva eri Yakuwa Katonda yennyini. Okuyitira mu mwoyo omutukuvu, asobozesezza abaweereza be okutegeera engeri obunnabbi bwa Baibuli gye butuukirizibwamu. Mazima ddala, tusiima nnyo Yakuwa olw’okuba tulabye okutuukirizibwa kw’obunnabbi ng’obwo okuva mu mwaka gwa 1914. Era tuli bakakafu ddala nti n’obunnabbi obulala obusigaddeyo obukwata ku nkomerero y’embeera zino ez’ebintu bwonna bujja kutuukirira. Kikulu nnyo ffe okussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Katonda ng’eno bwe tuleka ekitangaala kyaffe okwaka. (Matayo 5:16) Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa aleetedde ‘ekitangaala okutwakira mu kizikiza eky’amaanyi’ ekibuutikidde ensi leero!​—Isaaya 58:10.

17. Lwaki twetaaga ekitangaala eky’eby’omwoyo okuva eri Katonda?

17 Ekitangaala kitusobozesa okulaba. Era kisobozesa ebimera ebituwa emmere ey’enjawulo okukula. Tetuyinza kubeerawo awatali kitangaala. Kiri kitya eri ekitangaala eky’eby’omwoyo? Kituwa obulagirizi era ne kitulaga ebiseera eby’omu maaso ebyalagulwa mu Kigambo kya Katonda, Baibuli. (Zabbuli 119:105) Yakuwa Katonda ‘atuwa ekitangaala n’amazima.’ (Zabbuli 43:3) Mazima ddala, twandisiimye nnyo enteekateeka ng’ezo. N’olwekyo, ka tukole kyonna kye tusobola okufuna ekitangaala ‘eky’okutegeera ekitiibwa kya Katonda’ kisobole okumulisa omutima gwaffe ogw’akabonero.​—2 Abakkolinso 4:6; Abaefeso 1:18.

18. Emmunyeenye ya Yakuwa Ekeesa Obudde kati mwetegefu kukola ki?

18 Nga tulina omukisa okumanya nti mu 1914, Yesu Kristo, Emmunyeenye Ekeesa Obudde, yalabika mu butonde bwonna era n’atandika okutuukiriza okwolesebwa kw’okufuusibwa kwe! Emmunyeenye ya Yakuwa Ekeesa Obudde waali era mwetegefu okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda ayongere okutuukiriza okufuusibwa kwe​—ku “[lutalo] olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Oluvannyuma lw’okuzikiriza embeera z’ebintu zino enkadde, Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye ekya “eggulu eriggya n’ensi empya” gye tujja okumutendereza emirembe gyonna nga Mukama Afuga obutonde bwonna era Katonda w’obunnabbi obw’amazima. (2 Peetero 3:13) Okutuusa ng’olunaku olwo lutuuse, ka tweyongere okutambulira mu kitangaala kya Katonda nga tussaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi.

Wandizzeemu Otya?

• Wandinnyonnyodde otya

okufuusibwa kwa Yesu?

• Okufuusibwa kuzimba kutya okukkiriza?

• Emmunyeenye ya Yakuwa Ekeesa Obudde y’ani oba kye ki, era yalabika ddi?

• Lwaki twandissizzaayo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Osobola okunnyonnyola amakulu g’okufuusibwa kwa Yesu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Emmunyeenye Ekeesa Obudde yamala dda okulabika. Omanyi mu ngeri ki era ddi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share