LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 5/1 lup. 8-13
  • Okufuula Ebintu Byonna Ebiggya—Nga Bwe Kyalagulwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufuula Ebintu Byonna Ebiggya—Nga Bwe Kyalagulwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Similar Material
  • Ensi Empya—Onoobeerayo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Ensi Empya Katonda Gye Yasuubiza
    Beera Bulindaala!
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 5/1 lup. 8-13

Okufuula Ebintu Byonna Ebiggya​—Nga Bwe Kyalagulwa

“N’oyo atuula ku ntebe n’ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N’ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.”​—OKUBIKKULIRWA 21:5.

1, 2. Lwaki abantu bangi balonzalonza okuteeba ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

WALI oyogeddeko oba olowoozezzaako nti, ‘Ani amanyi ekinaabaawo enkya?’ Oyinza okutegeera ensonga lwaki abantu balonzalonza okuteeba ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso oba okwesiga abo abagamba nti basobola okulagula ebinaabaawo gye bujja. Abantu tebalina busobozi okulagula ebinaabaawo mu myezi oba emyaka egijja mu maaso.

2 Mu lufulumya lwayo olumu, magazini eyitibwa Forbes ASAP yayogera ku nsonga y’ebiseera. Mu yo, Robert Cringely omwanjuzi omumanyifu ennyo ow’oku ttivi, yawandiika: “Ebiseera birwaddaaki ne bitufeebya ffenna, naye tewali asinga kufeebezebwa biseera ng’abo abalagula ebinaabaawo mu maaso. Okugezaako okuteeba ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso gwe muzannyo mwe tubeera nga tuwangulwa buli kiseera. . . . Naye wadde kiri bwe kityo, abo abayitibwa abakugu beeyongera mu maaso okulagula ebinaabaawo.”

3, 4. (a) Abamu basuubira birungi ki mu myaka olukumi emirala egitandise? (b) Abalala balina ndowooza ki etegudde lubege ku biseera eby’omu maaso?

3 Oyinza okuba okyetegerezza nti wadde ng’ebirowoozo by’abantu bangi biri ku myaka emirala olukumi egitandise, kiyinza okulabika nti abantu bangi beeyongedde okulowooza ku biseera eby’omu maaso. Ku ntandikwa y’omwaka ogwayita magazini eyitibwa Maclean’s yagamba: “Eri Abakanada abasinga obungi, omwaka 2000 guyinza okutwalibwa ng’omwaka omulala gwonna ku kalenda, naye guyinza okujja n’entandikwa empya ddala.” Profesa Chris Dewdney ow’omu York University yawaayo ensonga emu ereetera abantu okusuubira nti ebintu binaalongooka: “Emyaka emirala olukumi egigenda okutandika gitegeeza nti tujja kuba tukubidde ddala amabega ekyasa ekibadde ekibi ennyo.”

4 Naye okwo si kuteebereza buteebereza? Mu Canada okunoonyereza kwalaga nti abantu 22 bokka ku buli kikumi “bakkiriza nti omwaka 2000 gujja kuleetawo entandikwa empya mu nsi.” Mu butuufu, kumpi kimu kya kubiri “basuubira olutalo olulala olw’ensi yonna”​—ssematalo omulala​—mu myaka 50. Kya lwatu, abasinga obungi bakiraba nti emyaka emirala olukumi egitandise tegiyinza kumalawo bizibu byaffe oba okufuula ebintu byonna ebiggya. Sir Michael Atiyah, eyaliko pulezidenti wa Royal Society eya Bungereza, yawandiika: “Enkyukakyuka ezigenda zibaawo amangu . . . zitegeeza nti ekyasa eky’amakumi abiri mu ekimu kijja kuleeta okusoomooza okw’amaanyi eri abantu bonna. Kati twolekaganye n’ebizibu, gamba ng’okweyongera kw’abantu, okukendeera kw’ebikozesebwa, okwonoonebwa kw’obutonde, awamu n’obwavu obubunye wonna, era tulina okubigonjoola mu bwangu ddala.”

5. Wa we tuyinza okusanga obubaka obwesigika ku biri mu biseera eby’omu maaso?

5 Oyinza okwebuuza, ‘Okuva abantu bwe batasobola kulagula ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, tetwandireseyo bulesi okulowooza ku biseera eby’omu maaso?’ Eky’okuddamu kiri nti, nedda! Kyo kituufu nti, abantu tebasobola kulagulira ddala ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, naye tetusaanidde kukitwala nti teri n’omu asobola. Kati olwo ani asobola, era lwaki twandisuubidde birungi mu biseera eby’omu maaso? Oyinza okufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebyo okuva mu bunnabbi buna obukakafu era obuli mu buwandiike. Busangibwa mu kitabo ekisingiddeyo ddala okubunyisibwa n’okusomebwa, ate era ekisingiddeyo ddala obutategeerwa n’okubuusibwa amaaso​—ng’eno ye Baibuli. K’obeere nga Baibuli ogirowoozaako otya, era k’obeere ng’ogimanyi kyenkana wa, osaanidde okwekenneenya ebyawandiikibwa bino ebikulu ebina. Mu butuufu biragula ebiseera eby’omu maaso ebirungi ennyo. Ate era, obunnabbi buno obukulu obuna bulaga ebiseera byo eby’omu maaso era n’eby’abaagalwa bo bwe biyinza okubeera.

6, 7. Isaaya yalagula mu kiseera ki, era bye yalagula byatuukirizibwa bitya mu ngeri ey’ekitalo?

6 Obusooka busangibwa mu Isaaya essuula 65. Nga tonnabusoma, lowooza ku mbeera ezaaliwo​—mu kiseera ebigambo ebyo we byawandiikirwa era n’ekyali kyogerwako. Nnabbi wa Katonda, Isaaya, eyawandiika ebigambo bino, yaliwo ng’ebulayo emyaka egisukka mu kikumi ng’obwakabaka bwa Yuda tebunnazikirizibwa. Okuzikirizibwa kwabaawo Yakuwa bwe yalekera awo okuwa obukuumi Abayudaaya abataali beesigwa, n’aleka Abababulooni okuzikiriza Yerusaalemi n’okutwala abantu baakyo mu buwaŋŋanguse. Ebyo byaliwo luvannyuma lw’emyaka egisukka mu kikumi okuva Isaaya lwe yabyogera.​—2 Ebyomumirembe 36:15-21.

7 Ku bikwata ku kutuukirizibwa okwo, jjukira nti ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Isaaya yalagula erinnya ly’Omuperusi eyali tannazaalibwa mu kiseera ekyo, Kuulo, eyawamba Babulooni. (Isaaya 45:1) Kuulo yatemera oluwenda Abayudaaya okuddayo mu nsi ya boobwe mu 537 B.C.E. Kyokka, ekyewuunyisa, Isaaya yalagula okuzzibwayo kwabwe okwo, nga bwe tuyinza okusoma mu ssuula 65. Yayogera ku mbeera Abaisiraeri ze bandibaddemu nga bazzeeyo mu nsi ya boobwe.

8. Isaaya yalagula biseera ki eby’essanyu mu maaso, era bigambo ki ebyetaaga okwetegerezebwa?

8 Tusoma bwe tuti mu Isaaya 65:17-19: “Laba, ntonda eggulu eriggya n’ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n’abantu baamu okuba essanyu. Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n’eddoboozi ery’okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery’okulira.” Mazima ddala Isaaya yayogera ku mbeera ennungi ennyo okusinga ezo Abayudaaya ze baalimu mu Babulooni. Yalagula nti wandibaddewo okusanyuka n’okujaguza. Kati weetegereze ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya.” Kino kye kifo ekisooka ku bifo ebina ebigambo bino we birabikira mu Baibuli, era ebyawandiikibwa ebyo ebina bikwatira ddala butereevu ku biseera byaffe eby’omu maaso, n’okulagula ebinaabaawo.

9. Abayudaaya ab’edda baakwatibwako batya mu kutuukirizibwa kwa Isaaya 65:17-19?

9 Okutuukirizibwa okwasooka okwa Isaaya 65:17-19 kwakwata ku Bayudaaya ab’edda, abaddayo mu nsi ya boobwe ne bazzaawo okusinza okw’amazima, nga Isaaya bwe yalagula. (Ezera 1:1-4; 3:1-4) Kya lwatu, baddayo mu nsi ya boobwe eyali ku pulaneti eno yennyini gye tuliko, so si ekifo ekirala mu bwengula eyo. Okutegeera ekyo kisobola okutuyamba okwekkaanya ekyo Isaaya kye yali ategeeza bwe yagamba nti eggulu eriggya n’ensi empya. Tekitwetaagisa kuteebereza, ng’abamu bwe bakola, nga bekkaanya obunnabbi bwa Nostradamus obutategeerekeka oba obw’abantu abalala abateebereza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Baibuli yennyini ennyonnyola bulungi Isaaya kye yali ategeeza.

10. “Ensi” Isaaya gye yalagula etegeeza ki?

10 Mu Baibuli, ekigambo “ensi” buli kiseera kiba tekitegeeza nsi kwe tuli. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 96:1 lugamba bwe luti: “Muyimbire Mukama oluyimba, mmwe ensi zonna.” Tukimanyi nti ensi yaffe​—ettaka n’agayanja aganene agaliko​—tebisobola kuyimba. Bantu be bayimba. Yee, Zabbuli 96:1 eba etegeeza bantu abali ku nsi.a Naye Isaaya 65:17 era lwogera ku ‘ggulu eriggya.’ “Ensi” bw’eba etegeeza ekibiina ky’abantu abappya abaddayo mu nsi y’Abayudaaya, “eggulu eriggya” litegeeza ki?

11. Ebigambo “eggulu eriggya” byali bitegeeza ki?

11 Ekitabo Cyclopædia of Biblical, Theological, and Ecclesiastical Literature, ekya McClintock ne Strong, kigamba: “Buli kiseera eggulu lwe lyogerwako mu kwolesebwa okw’obunnabbi, eggulu liba likiikirira . . . enteekateeka yonna ey’ab’obuyinza abafuga . . . abali waggulu era abafuga be bakulembera, ng’eggulu bwe liri waggulu era nga lifuga ensi.” Ate, ku bikwata ku bigambo ebyo byombi nga biri wamu, “eggulu n’ensi,” Cyclopædia eno ennyonnyola nti ‘mu lulimi olw’obunnabbi ebigambo ebyo bitegeeza embeera y’obufuzi ey’abantu ab’ebiti eby’enjawulo. Eggulu bwe bufuzi; ensi be bantu abafugibwa.’

12. Abayudaaya ab’edda baafuna batya “eggulu eriggya n’ensi empya”?

12 Abayudaaya bwe baddayo mu nsi yaabwe, baatuuka mu ky’oyinza okuyita embeera empya ez’ebintu. Baalina enteekateeka empya ey’obufuzi. Zerubabbeeri, muzzukulu wa Kabaka Dawudi, ye yali gavana, ate Yoswa ye yali kabona omukulu. (Kaggayi 1:1, 12; 2:21; Zekkaliya 6:11) Bano be baali “eggulu eriggya.” Lyali likulembera ki? ‘Eggulu eryo eriggya’ lyali likulembera “ensi empya,” ekibiina ky’abantu abalongooseddwa abaali bakomyewo mu nsi yaabwe okuddamu okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo ey’okusinzizaamu Yakuwa. N’olwekyo, mu ngeri eno yennyini, waaliwo eggulu eriggya n’ensi empya mu kutuukirizibwa okwali kukwata ku Bayudaaya mu biseera ebyo.

13, 14. (a) Kifo ki ekirala awali ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya” kye tusaanidde okwekenneenya? (b) Lwaki obunnabbi bwa Peetero butuukirawo mu kiseera kino?

13 Weegendereze oleme kusubwa nsonga eno gye tuliko. Wano tetugezaako kutaputa butapusi ebiri mu Baibuli oba okutunula obutunuzi mu byafaayo eby’edda. Kino oyinza okukiraba bwe tugenda mu kifo ekirala awalabika ebigambo bino “eggulu eriggya n’ensi empya.” Mu 2 Peetero essuula 3, ojja kulaba ekifo kino, era olabe nti ebiseera byaffe eby’omu maaso bizingirwamu.

14 Omutume Peetero yawandiika ebbaluwa ye nga wayiseewo emyaka egisukka mu 500 oluvannyuma lw’Abayudaaya okuddayo mu nsi ya boobwe. Ng’omu ku batume ba Yesu, Peetero yali awandiikira abagoberezi ba Kristo, “Mukama waffe” ayogerwako mu 2 Peetero 3:2. Mu lunyiriri 4, Peetero ayogera ku ‘kubeerawo kwa Yesu okwasuubizibwa,’ ekifuula obunnabbi okuba nga butuukirawo ddala mu kiseera kyaffe. Obujulizi bulaga nti okuva mu kiseera kya Ssematalo I, Yesu abadde waali mu ngeri nti abadde n’obuyinza ng’Omufuzi mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 6:1-8; 11:15, 18) Kino kifuna amakulu amalala ag’enjawulo olw’ekintu ekirala Peetero kye yalagula mu ssuula eno.

15. Obunnabbi bwa Peetero obukwata ku ‘ggulu eriggya’ butuukirizibwa butya?

15 Mu 2 Peetero 3:13 tusoma tuti: “Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe bu[li]tuula.” Oyinza okuba wayiga dda nti Yesu mu ggulu, ye Mufuzi omukulu mu ‘ggulu eriggya.’ (Lukka 1:32, 33) Kyokka, ebyawandiikibwa ebirala mu Baibuli biraga nti tafuga yekka. Yesu yasuubiza nti abatume n’abalala abalinga bo bandibadde n’ekifo mu ggulu. Mu kitabo ky’Abaebbulaniya, omutume Pawulo abalinga abo yaboogerako nga “abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu.” Era Yesu yagamba nti abali mu kibinja kino bajja kutuula ku ntebe z’obwakabaka awamu naye mu ggulu. (Abaebbulaniya 3:1; Matayo 19:28; Lukka 22:28-30; Yokaana 14:2, 3) Ensonga gye tuliko kati eri nti abantu abalala bajja kufuga mu ggulu ne Yesu ng’ekitundu ky’eggulu eriggya. Kati olwo Peetero yali ategeeza ki bwe yayogera ku “ensi empya”?

16. “Ensi empya” eriwo y’eruwa?

16 Nga bwe kyali mu kutuukirizibwa okwasooka​—Abayudaaya bwe baddayo mu nsi ya boobwe​—okutuukirizibwa okw’omu kiseera kino okwa 2 Peetero 3:13 kuzingiramu abantu abagondera obufuzi bw’eggulu lino eriggya. Leero, oyinza okusanga obukadde n’obukadde bw’abo abagondera obufuzi obwo n’essanyu. Baganyulwa mu nteekateeka yaabwo ey’okuyigiriza, era bafuba okugoberera amateeka gaabwo agasangibwa mu Baibuli. (Isaaya 54:13) Bano be bakola omusingi gwa “ensi empya” mu ngeri nti bakola ekibiina ekibunye ensi yonna ekirimu amawanga gonna, ennimi, n’erangi, era bakolera wamu nga bagondera Kabaka afuga, Yesu Kristo. Ekikulu kiri nti oyinza okubeera omu ku bo!​— Mikka 4:1-4.

17, 18. Lwaki ebigambo ebiri mu 2 Peetero 3:13 bituleetera okwesunga ebiri mu biseera eby’omu maaso?

17 Tolowooza nti wano bino we bikoma, nti tetulina kisingako awo kye tumanyi ku biseera eby’omu maaso. Mu butuufu, nga wekkaanya ebiri mu 2 Peetero essuula 3, ojja kulabamu ebiraga nti waliwo enkyukakyuka ennene ejja mu maaso. Mu lunyiriri 5 ne 6, Peetero awandiika ku Mataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, Amataba agaasaanyawo ensi embi eyaliwo mu biseera ebyo. Ate mu lunyiriri 7, Peetero ayogera ku ‘ggulu erya kaakano n’ensi,’ obufuzi n’abantu, ebitegekeddwa ‘olunaku olw’omusango n’okuzikirizibwa kw’abantu abatatya Katonda.’ Kino kikakasa nti ebigambo “eggulu n’ensi erya kaakano” bitegeeza bantu n’obufuzi bwabwe, so si obutonde obulabika.

18 Peetero annyonnyola mu nnyiriri eziddako nti olunaku lwa Yakuwa olujja lujja kusobozesa okulongoosa okw’amaanyi okubaawo, kitemere oluwenda “eggulu eriggya n’ensi empya” ebyogerwako mu lunyiriri 13. Weetegereze ebigambo ebisembayo mu lunyiriri olwo​—“obutuukirivu mwe bu[li]tuula.” Ekyo tekiraga nti wateekwa okubaawo enkyukakyuka ez’amaanyi ezinaaleeta ebintu ebirungi? Ekyo tekiwa ssuubi ery’ebintu ebippya ddala, ekiseera abantu lwe baliba n’essanyu erisingira ewala eryo lye balina kati? Bw’oba ng’osobola okulaba ekyo, olwo ofunye okutegeera okukwata ku ebyo Baibuli by’eragula okubaawo, okutegeera batono nnyo kwe balina.

19. Mbeera ki ekitabo ky’Okubikkulirwa mwe kyogerera ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya’ ebigenda okujja?

19 Naye ka tweyongereyo ku nsonga eno. Tulabye ekifo ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya” we birabikira, mu Isaaya essuula 65, era n’ekifo ekirala mu 2 Peetero essuula 3. Kati genda mu Okubikkulirwa essuula 21, omuli ekifo ekirala omusangibwa ebigambo bino mu Baibuli. Era, kijja kutuyamba okusooka okutegeera embeera eyogerwako. Essuula bbiri emabega, mu Okubikkulirwa essuula 19, tusoma ku lutalo olwogerwako mu bubonero​—naye nga si lutalo wakati w’amawanga abiri ag’obulabe. Ku luuyi olumu waliyo “Kigambo kya Katonda.” Oyinza okuba omanyi ng’ekitiibwa ekyo kikozesebwa ku Yesu Kristo. (Yokaana 1:1, 14) Ali mu ggulu, era okwolesebwa kuno kumulaga ng’ali wamu n’amagye ag’omu ggulu. Ng’alwanyisa ani? Essuula eno eyogera ku “bakabaka,” “abagabe” era n’abantu abalala ab’ebiti ebitali bimu, “abato n’abakulu.” Olutalo luno lukwata ku lunaku lwa Yakuwa olujja, ku kuzikirizibwa kw’obubi. (2 Abasessaloniika 1:6-10) Essuula eddako, Okubikkulirwa 20, etandika ng’eraga okuggibwawo kwa ‘omusota ogw’edda, Omulyolyomi era Setaani.’ Bino bituwa ekifaananyi ekirungi nga tutandika okwekenneenya Okubikkulirwa essuula 21.

20. Okubikkulirwa 21:1 lulaga nkyukakyuka ki enkulu eri mu maaso?

20 Omutume Yokaana atandika n’ebigambo ebibuguumiriza: “Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya: kubanga eggulu ery’olubereberye n’ensi ey’olubereberye nga bigenze: n’ennyanja nga tekyaliwo.” Okusinziira ku bye tumaze okulaba mu Isaaya essuula 65 ne 2 Peetero essuula 3, tuyinza okuba abakakafu nti kino tekitegeeza kuggibwawo kw’eggulu lyennyini erirabika awamu n’ensi kwe tuli, era n’ennyanja eziriko. Ng’essuula ezivuddeko bwe ziraze, abantu ababi n’obufuzi bwabwe, nga mw’otwalidde n’omufuzi atalabika Setaani, be bajja okuggibwawo. Yee, ekisuubizibwa wano ze mbeera empya ez’ebintu eri abantu ku nsi.

21, 22. Yokaana atukakasa kufuna mikisa ki, era okusangulibwa amaziga kitegeeza ki?

21 Kino tukikakasa bwe tweyongera mu maaso mu bunnabbi buno obw’ekitalo. Olunyiriri 3 lukomekkereza nga lwogera ku kiseera Katonda lw’alibeera n’abantu, n’abaako by’akolera abantu abakola by’ayagala. (Ezeekyeri 43:7) Yokaana ayongerezaako mu lunyiriri 4 ne 5: “[Yakuwa] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo. N’oyo atuula ku ntebe n’ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N’ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.” Ng’obunnabbi buno buzzaamu nnyo amaanyi!

22 Fumiitirizaako katono ku ebyo Baibuli by’eragula wano. ‘Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.’ Ekyo tekiyinza kuba nga kitegeeza amaziga aga bulijjo agalongoosa amaaso gaffe, wadde ag’essanyu. Nedda, amaziga Katonda g’alisangula ge maziga agaleetebwa okubonaabona, ennaku, okusaalirwa, obulumi, n’obuyinike. Tuyinza tutya okuba abakakafu? Ekisuubizo kya Katonda kino eky’ekitalo kikwataganya okusangulibwa kw’amaziga ‘n’okufa, ennaku, okukaaba, n’okulumwa okuba nga tebikyaliwo.’​—Yokaana 11:35.

23. Obunnabbi bwa Yokaana bukakasa nkomerero ya mbeera ki?

23 Ekyo tekikakasa nti kookolo, okusannyalala kw’ebitundu eby’omubiri, n’endwadde z’omutima era n’okufa biriba biggiddwawo ddala? Ani ku ffe atafiirwangako mwagalwa we olw’obulwadde, akabenje, oba akatyabaga? Wano Katonda asuubiza nti okufa kuliba tekukyaliwo, ekitegeeza nti abaana abalizaalibwa mu kiseera ekyo tebalikaddiwa​—ate ne bafa. Obunnabbi buno era butegeeza nti teribaayo ndwadde za mitwe, ndwadde za magumba, bizimba mu mubiri, amaaso okuyimbaala oba yadde okufuna ensenke​—ebitera okubaawo mu bukadde.

24. “Eggulu eriggya n’ensi empya” binaaleeta mikisa ki, era kiki kye tujja okwekenneenya?

24 Awatali kubuusabuusa okikkiriza nti ennaku n’okukaaba bijja kukendeera ng’okufa, okukaddiwa, n’endwadde, bivuddewo. Naye, ate obwavu, okutuntuza abaana, era n’obusosoze olw’embeera z’omuntu ez’obulamu oba olwa langi? Singa ebintu ng’ebyo​—ebicaase ennyo leero​—byandyeyongedde okubaawo, twandibadde tetunneegoberako ddala nnaku n’okukaaba. Bwe kityo, obulamu wansi wa “eggulu eriggya n’ensi empya” tebujja kubaamu ebintu ebiriwo mu kiseera kino ebireeta ennaku. Ng’eriba nkyukakyuka ya kitalo nnyo! Kyokka, twekenneenyezzaako ebifo bisatu byokka ku bina ebiri mu Baibuli, ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya,” we bisangibwa. Waliyo ekifo ekirala ekikwatagana n’ebyo bye twekenneenyezza era ekiggumiza lwaki tulina okwesunga ekiseera era n’engeri Katonda bw’alituukirizaamu ekisuubizo kye ‘eky’okufuula ebintu byonna ebiggya.’ Ekitundu ekiddako kikwata ku bunnabbi obwo era ne kye buyinza okutegeeza eri essanyu lyaffe.

[Obugambo obuli wansi]

a The New English Bible evvuunula bw’eti Zabbuli 96:1: “Muyimbire MUKAMA, mmwe abantu abali ku nsi.” The Contemporary English Version, yo esoma bw’eti: “Buli muntu ku nsi eno, ayimbire MUKAMA ennyimba ezitendereza.” Kino kituukana n’ennyinnyonnyola nti bwe yayogera “ensi empya” Isaaya yali ategeeza abantu ba Katonda abazzeeyo mu nsi ya boobwe.

Kiki ky’Ojjukira?

• Bifo ki ebisatu Baibuli w’eyogerera ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya’?

• Abayudaaya ab’edda baakwatibwako batya mu kutuukirizibwa kwa “eggulu eriggya n’ensi empya”?

• “Eggulu eriggya n’ensi empya” Peetero bye yayogerako bituukirizibwa bitya?

• Okubikkulirwa essuula 21 eraga etya ebirungi ebiri mu biseera eby’omu maaso?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Nga Yakuwa bwe yali alagudde, Kuulo yasobozesa Abayudaaya okuddayo mu nsi ya boobwe mu 537 B.C.E.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share