Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi Ekikwata ku Kiseera Kyaffe
“Tegeera, ggwe omwana w’omuntu: kubanga ebyolesebwa bya kiseera kya nkomerero.”—DANYERI 8:17.
1. Kiki Yakuwa ky’ayagala abantu bonna okumanya ku kiseera kyaffe?
YAKUWA teyeesigaliza yekka kumanya okukwata ku binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Wabula Abikkula ebyama. Mu butuufu, ayagala ffenna okukimanya nti tuli wala nnyo mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ Ng’ago mawulire makulu nnyo eri abantu obuwumbi omukaaga abali ku nsi leero!
2. Lwaki abantu bafaayo nnyo ku biseera by’omuntu eby’omu maaso?
2 Kyewuunyisa nti ensi eno eri kumpi kutuuka ku nkomerero yaayo? Abantu bayinza okugenda ku mwezi, naye mu bifo bingi tebayinza kutambulira mu nguudo ez’omu nsi eno nga tebalina kye batya. Bayinza okujjuza amayumba gaabwe n’ebikozesebwa ebiri ku mulembe, naye tebayinza kukomya kusasika kw’amaka. Era basobozesezza abantu okumanya ebintu bingi, naye tebasobola kuyigiriza bantu kubeera wamu mu mirembe. Okulemererwa kuno kutuukagana n’obujulizi obungi obuli mu Byawandiikibwa obulaga nti tuli mu kiseera eky’enkomerero.
3. Ebigambo “ekiseera eky’enkomerero” byasooka kukozesebwa ddi ku nsi?
3 Ebigambo ebyo eby’enkukunala—“ekiseera eky’enkomerero”—byasooka okukozesebwa malayika Gabulyeri emyaka nga 2,600 egiyise. Nnabbi wa Katonda eyali akwatiddwa entiisa yawulira Gabulyeri ng’agamba: “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu: kubanga ebyolesebwa bya kiseera kya nkomerero.”—Danyeri 8:17.
Kino Kye ‘Kiseera eky’Enkomerero’!
4. Baibuli eyogera ku kiseera eky’enkomerero mu ngeri ki endala?
4 Ebigambo “ekiseera eky’enkomerero” ne ‘ekiseera ekigereke eky’enkomerero’ birabika emirundi mukaaga mu kitabo kya Danyeri. (Danyeri 8:17, 19; 11:35, 40; 12:4, 9) Bikwata ku ‘nnaku ez’oluvannyuma,’ ezaalagulwa omutume Pawulo. (2 Timoseewo 3:1-5) Yesu Kristo ekiseera kino kye kimu yakyogerako nga “okubeerawo” kwe nga Kabaka atuuziddwa ku ntebe mu ggulu.—Matayo 24:37-39, NW.
5, 6. Baani ‘abaddiŋŋanye’ mu kiseera eky’enkomerero, era biki ebivuddemu?
5 Danyeri 12:4 lugamba: “Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky’enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera.” Bingi ku ebyo Danyeri bye yawandiika byabikkibwako era ne bissibwako akabonero ne wayitawo ebyasa by’emyaka ng’abantu tebabitegeera. Naye kiri kitya leero?
6 Mu kiseera kino eky’enkomerero, Abakristaayo bangi abeesigwa ‘baddiŋŋanye’ Ekigambo kya Katonda, Baibuli. Kiki ekivuddemu? Olw’emikisa gya Yakuwa, okumanya okw’amazima kweyongedde nnyo. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa abaafukibwako amafuta basobodde okutegeera nti, Yesu Kristo yafuuka Kabaka mu ggulu mu mwaka 1914. Nga batuukagana n’ebigambo by’omutume ebiri mu 2 Peetero 1:19-21 (NW), abaafukibwako amafuta abo ne bannaabwe abeesigwa ‘bassaayo omwoyo ku kigambo eky’obunnabbi’ era bakakafu ddala nti kino kye kiseera eky’enkomerero.
7. Bintu ki ebimu ebifuula ekitabo kya Danyeri okubeera eky’enjawulo?
7 Ekitabo kya Danyeri kya njawulo mu ngeri nnyingi. Mu kitabo ekyo, kabaka ateekateeka okutta abasajja be abagezigezi olw’okuba tebasobola kubikkula n’okunnyonnyola amakulu g’ekirooto kye yaloose, naye nnabbi wa Katonda agannyonnyola. Abavubuka abasatu abagaana okusinza ekifaananyi ekigulumivu basuulibwa mu kikoomi ky’omuliro ogubumbujja, naye bavaamu nga tegulina kye gubakozeeko kyonna. Ku mbaga emu, abantu bikumi na bikumi balaba omukono nga guwandiika ebigambo ebitategeerekeka ku kisenge ky’omu lubiri. Abantu ab’enkwe baleetera omusajja omukadde ennyo okusuulibwa mu bunnya bw’empologoma, naye avaayo nga taliiko kamogo. Ensolo nnya zirabibwa mu kwolesebwa, era zirina amakulu ag’obunnabbi agakwata ne ku kiseera eky’enkomerero.
8, 9. Ekitabo kya Danyeri kiyinza kitya okutuganyula, naddala kati, mu kiseera eky’enkomerero?
8 Kya lwatu, ekitabo kya Danyeri kirimu ebitundu bibiri eby’enjawulo ennyo. Ekitundu ekimu kittottola byaliwo, ate ekirala kya bunnabbi. Byombi biyinza okuzimba okukkiriza kwaffe. Ebyaliwo ebittottolwa biraga nti Yakuwa Katonda awa omukisa abo abakuuma obugolokofu gy’ali. Ebitundu eby’obunnabbi bizimba okukkiriza nga biraga nti Yakuwa amanya ebinaabaawo ng’ekyabulayo ebyasa n’ebyasa by’emyaka—yee, enkumi n’enkumi z’emyaka.
9 Obunnabbi obw’enjawulo Danyeri bwe yawandiika busonga ku Bwakabaka bwa Katonda. Nga tulaba okutuukirizibwa kw’obunnabbi ng’obwo, okukkiriza kwaffe kunywezebwa, awamu n’obwesige bwe tulina nti tuli mu kiseera kya nkomerero. Naye abawakanyi abamu bavumirira Danyeri, nga bagamba nti obunnabbi obuli mu kitabo ekiyitibwa erinnya lye, bwawandiikibwa luvannyuma lw’ebintu ebibutuukiriza okumala okubaawo. Bwe kiba nti bye boogera bya mazima, kyandireeseewo okubuusabuusa okw’amaanyi ku ebyo ekitabo kya Danyeri bye kyalagula ku kiseera eky’enkomerero. Abamu era babuusabuusa ebintu ebittottolwa mu kitabo ekyo. N’olwekyo, ka twekenneenye ensonga zino.
Kiwozesebwa!
10. Mu ngeri ki ekitabo kya Danyeri gye kivumirirwamu?
10 Kuba ekifaananyi ng’oli mu kkooti, ng’owulira omusango oguwozebwa. Munnamateeka ow’oludda oluwaabi alumiriza nti omuwawaabirwa yazza omusango ogw’okugingaginga ebintu. Ekitabo kya Danyeri kyeyogerako ng’ekitabo eky’amazima ekyawandiikibwa nnabbi Omwebbulaniya eyaliwo mu kyasa eky’omusanvu n’eky’omukaaga B.C.E. Kyokka, abawakanyi, bo, bagamba nti ekitabo kino kigingeginge. Kati nno, ka tusooke twetegereze obanga ekitundu ky’ekitabo kino ekittottola ebyaliwo kikwatagana bulungi n’ebyaliwo mu byafaayo.
11, 12. Kiki ekyatuuka ku ndowooza nti Berusazza teyaliiwo ddala?
11 Ka twekenneenye ensonga eyo eyinza okuyitibwa eya kabaka agambibwa nti teyaliiwo. Danyeri essuula 5 eraga nti Berusazza ye yali afuga nga kabaka wa Babulooni mu kiseera ekibuga ekyo we kyawambibwa mu 539 B.C.E. Ekintu kino abawakanyi bakiwakanyizza nnyo olw’okuba erinnya lya Berusazza teririna walala wonna we lyali lisangibwa okuggyako mu Baibuli. Wabula, bo bannabyafaayo ab’edda baagamba nti Nabonidasi ye yali kabaka wa Babulooni eyasembayo.
12 Kyokka, mu mwaka 1854, ebibya eby’ebbumba ebyaliko ebiwandiiko, byasimibwa mu ttaka mu kifo awali amatongo g’ekibuga kya Babulooni eky’edda ekiyitibwa Uli, mu nsi leero emanyiddwa nga Iraq. Ebiwandiiko bino ebyali mu mpandiika ey’edda eyitibwa cuneiform byalimu essaala Kabaka Nabonidasi mwe yayogerera ku “Bel-sar-ussur, omwana wange asinga obukulu.” N’abawakanyi baawalirizibwa okukikkiriza nti: Ono ye Berusazza ow’omu kitabo kya Danyeri. Bwe kityo, oyo gwe baatwalanga nga kabaka ataaliwo mu butuufu yaliwo ddala, okuggyako nti yali tannamanyibwa mu bitabo ebitali bya ddiini. Buno bwe bumu ku bukakafu obungi obulaga nti ebiwandiiko bya Danyeri ddala bya mazima. Obujulizi ng’obwo bulaga nti ekitabo kya Danyeri mazima ddala kitundu kya Kigambo kya Katonda eky’obunnabbi kye tugwanidde okwekenneenya kati, mu kiseera eky’enkomerero.
13, 14. Nebukadduneeza yali ani, era yasinzanga katonda ki ow’obulimba?
13 Mu kitabo kino ekya Danyeri mulimu obunnabbi obukwata ku bufuzi kirimaanyi obw’enjawulo obw’ensi yonna obwandibaddewo era n’ebimu ku bikolwa by’abafuzi baabwo. Omu ku bafuzi bano ayinza okuyitibwa omulwanyi eyassaawo obwakabaka obunene. Ng’omulangira eyandisikidde omufuzi wa Babulooni, ye awamu n’amagye ge baafufuggaza amagye ga Falaawo wa Misiri ayitibwa Neko, e Kalukemiisi. Naye waliwo obubaka omulangira ono omuwanguzi Omubabulooni bwe yafuna obwamuwaliriza okulekera abagabe be omulimu gw’okumalirawo ddala abalabe abaali basigadde. Ng’ategedde nti kitaawe, Nabopolaasa, yali afudde, omuvubuka ono ayitibwa Nebukadduneeza yatuula mu ntebe y’obwakabaka mu 624 B.C.E. Mu bufuzi bwe obwamala emyaka 43, yassaawo obwakabaka obwazingiramu ebitundu ebyali bifugibwa Bwasuuli era n’agaziya amatwale ge okutuuka mu Siriya ne Palesitayini era ne ku nsalo ya Misiri.
14 Nebukadduneeza yali asinza Maruduki, katonda omukulu owa Babulooni. Kabaka ono yagamba nti obuwanguzi bwonna bwe yatuukako bwava eri Maruduki. Mu Babulooni, Nebukadduneeza yazimbayo era n’ayooyoota yeekaalu za Maruduki n’eza bakatonda ba Babulooni abalala. Ekifaananyi ekya zaabu kabaka wa Babulooni ono kye yassaawo mu lusenyi lwa Dduula kiyinza okuba nga kyaweebwayo eri Maruduki. (Danyeri 3:1, 2) Era kirabika nti Nebukadduneeza yeesigamanga nnyo ku by’obulaguzi nga yeeteekerateekera entalo.
15, 16. Kiki Nebukadduneeza kye yakolera Babulooni, era kiki ekyabaawo bwe yeewaana olw’obukulu bwe?
15 Bwe yamaliriza okuzimba bbuggwe wa Babulooni omunene ennyo ow’ebisenge eby’emibiri ebiri, kitaawe gwe yali atandiseeko okuzimba, Nebukadduneeza yafuula ekibuga ekikulu ekinywevu ennyo ne kirabika ng’ekitayinza kuwangulwa. Okusobola okusanyusa mukazi we Omumeedi, eyasaalirwanga obutalaba ku nsozi n’ebibira by’omu nsi ye, kigambibwa nti Nebukadduneeza yasimba ennimiro z’ebimuli ez’ekyewuunyo—ebimu ku byewuunyo omusanvu eby’omu nsi ey’edda. Yafuula Babulooni ekibuga ekyali kisingayo okubaako bbugwe ow’amaanyi mu byonna ebyaliwo mu kiseera ekyo. Era nga yenyumiririza nnyo mu kibuga ekyo ekyali ekitebe ky’okusinza eky’obulimba!
16 “Kino si Babulooni [Ekinene] kye nnazimba?” bw’atyo lumu Nebukadduneeza bwe yeewaana. Kyokka, okusinziira ku Danyeri 4:30-36, “ekigambo [bwe kyali] nga kikyali mu kamwa ka kabaka,” n’agwa eddalu. Nga takyayinza kufuga okumala emyaka musanvu, yalyanga muddo, nga Danyeri bwe yali alagudde. Oluvannyuma lw’ekiseera ekyo, obwakabaka bwe bwazzibwawo. Omanyi amakulu g’obunnabbi agaali mu ebyo ebyaliwo? Osobola okunnyonnyola engeri okutuukirizibwa kwakyo okukulu gye kutuukira ddala ku kiseera eky’enkomerero?
Okwekenneenya Obunnabbi
17. Wandinnyonnyodde otya ekirooto eky’obunnabbi Katonda kye yaloosa Nebukadduneeza mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwe ng’omufuzi w’ensi yonna?
17 Kati ka twekenneenye obunnabbi obumu obuli mu kitabo kya Danyeri. Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza ng’omufuzi w’ensi yonna (606/605 B.C.E.), Katonda yamuloosa ekirooto eky’entiisa. Okusinziira ku Danyeri essuula 2, ekifaananyi kyali kikwata ku kifaananyi ekinene ekyalina omutwe ogwa zaabu, ekifuba n’emikono ebya ffeeza, olubuto n’ebisambi eby’ekikomo, amagulu ag’ekyuma, era n’ebigere eby’ekyuma ebitabikiddwamu ebbumba. Ebitundu eby’enjawulo eby’ekifaananyi byali bikiikirira ki?
18. Omutwe gwa zaabu ogw’ekifaananyi eky’omu kirooto, ekifuba n’emikono ebya ffeeza, n’olubuto n’ebisambi eby’ekikomo byali bikiikirira ki?
18 Nnabbi wa Katonda yagamba Nebukadduneeza: “Ggwe, ai kabaka . . . oli mutwe gwa zaabu.” (Danyeri 2:37, 38) Nebukadduneeza ye yali akulira olulyo olufuzi olwali lufuga Obwakabaka bwa Babulooni. Lwamaamulwako Obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi, obukiikirirwa ekifuba n’emikono by’ekifaananyi ebya ffeeza. Awo ate waddako Obwakabaka bwa Buyonaani, obukiikirirwa olubuto n’ebisambi eby’ekikomo. Obufuzi obwo kirimaanyi obw’ensi yonna bwatandikawo butya?
19, 20. Alexander the Great yali ani, era yalina kifo ki mu kufuula Buyonaani obufuzi kirimaanyi obw’ensi yonna?
19 Mu kyasa eky’okuna B.C.E., omuvubuka omu yalina kinene kye yakola mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Danyeri. Yazaalibwa mu 356 B.C.E., era ensi yamuyita Alexander the Great. Kitaawe, Philip, bwe yatemulwa mu 336 B.C.E., Alexander yasikira nnamulondo ya Makedoni ng’alina emyaka 20 egy’obukulu.
20 Mu matandika ga Maayi, 334 B.C.E., Alexander yatandika kaweefube ow’okugenda ng’awamba amatwale. Yalina eggye ttono naye nga lya maanyi nnyo era lyalimu abaserikale 30,000 abatambuza ebigere n’abalala 5,000 ab’oku mbalaasi. Mu 334 B.C.E., ku Mugga Granicus oguli mu bukiika kkono w’ebugwanjuba wa Asiya Omutono (kati awali Turkey), Alexander yawangula olutalo lwe olwasooka ng’alwanyisa Abaperusi. Omwaka 326 B.C.E. we gwatuukira, omuwanguzi ono yali amaze okuwangula Abaperusi era ku ludda olw’ebuvanjuba yali atuukidde ddala ku Mugga Indus, oguli mu nsi emanyiddwa leero nga Pakistan. Naye Alexander yawangulwa mu lutalo lwe olwasembayo ng’ali mu Babulooni. Nga Jjuuni 13, 323 B.C.E., nga yaakabeerawo emyaka 32 gyokka n’emyezi 8, Alexander yawangulwa omulabe ow’entiisa ennyo, kufa. (1 Abakkolinso 15:55) Kyokka, olw’obuwanguzi bwe, Buyonaani yafuuka obufuzi kirimaanyi obw’ensi yonna, nga bwe kyalagulwa mu bunnabbi bwa Danyeri.
21. Ng’oggyeko Obwakabaka bwa Rooma, bufuzi ki obulala kirimaanyi obwakiikirirwa amagulu ag’ekyuma ag’ekifaananyi eky’omu kirooto?
21 Amagulu g’ekifaananyi ag’ekyuma gakiikirira ki? Rooma eyalina amaanyi ng’ag’ekyuma ye yawangula era n’esesebbula Obwakabaka bwa Buyonaani. Awatali kussa kitiibwa n’akamu mu Bwakabaka bwa Katonda Yesu Kristo bwe yalangirira, Abaruumi battira Yesu ku muti mu 33 C.E. Nga bugezaako okumalawo Obukristaayo obw’amazima, obufuzi bwa Rooma bwayigganya abayigirizwa ba Yesu. Kyokka, amagulu g’ekyuma ag’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto tegakiikirira Bwakabaka bwa Rooma bwokka naye era n’obufuzi obulala obwavaamu—Obufuzi Kirimaanyi obw’Ensi Yonna obw’Abangereza n’Abamereka.
22. Ekifaananyi ky’omu kirooto kituyamba kitya okulaba nti tuli wala nnyo mu kiseera eky’enkomerero?
22 Okusoma n’obwegendereza kutukakasa nti tuli wala nnyo mu kiseera eky’enkomerero, kubanga tutuuse ku bigere by’ekifaananyi eby’ekyuma n’ebbumba eby’omu kirooto. Gavumenti ezimu ez’omu kiseera kyaffe ziringa ekyuma oba obufuzi obwannakyemalira, ng’ate endala ziringa ebbumba. Wadde ebbumba, omubumbibwa ‘ezzadde ly’olulyo lw’omuntu,’ limenyeka mangu, obufuzi obulinga ekyuma bulese abantu ba bulijjo okubaako n’obwogerero mu gavumenti ezibafuga. (Danyeri 2:43; Yobu 10:9) Kya lwatu obufuzi obwannakyemalira n’abantu aba bulijjo tebakwatagana bulungi era nga bwe kiri eri ekyuma n’ebbumba. Naye, mangu ddala Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza ensi eno eyawuddwayawuddwamu eby’obufuzi.—Danyeri 2:44.
23. Wandinnyonnyodde otya ekirooto n’okwolesebwa Danyeri bye yafuna mu mwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Berusazza?
23 Essuula 7 ey’obunnabbi bwa Danyeri obubuguumiriza nayo etutuusa mu kiseera eky’enkomerero. Eyogera ku kintu ekyaliwo mu mwaka ogusooka ogwa Kabaka Berusazza owa Babulooni. Ng’atemera mu myaka 70, Danyeri, yafuna ‘ekirooto n’okwolesebwa mu mutwe gwe ng’ali mu kitanda kye.’ Ng’ebyo bye yayolesebwa byamutiisa nnyo! “Laba,” bw’atyo bwe yayogera. “Empewo ez’omu ggulu ennya ne ziwamatuka ku nnyanja ennene. N’ensolo nnya ennene ne ziva mu nnyanja ne zirinnya, ezitafaanana zokka na zokka.” (Danyeri 7:1-8, 15) Nga zino nsolo za njawulo nnyo ku za bulijjo! Ey’olubereberye mpologoma erina ebiwaawaatiro, ate ey’okubiri eriŋŋanga ddubu. Ne kuddako engo erina ebiwaawaatiro bina era n’emitwe ena! Ensolo ey’okuna ey’amaanyi ennyo erina amannyo manene ag’ekyuma era n’amayembe kkumi. Mu mayembe gaayo ekkumi mumeramu akayembe ‘akatono’ akalina “amaaso ng’amaaso g’omuntu” era ne “akamwa akoogera ebikulu.” Ensolo zino nga zirabika bubi nnyo!
24. Okusinziira ku Danyeri 7:9-14, kiki Danyeri ky’alaba mu ggulu, era okwolesebwa kuno kusonga ku ki?
24 Danyeri addako okwolesebwa eby’omu ggulu. (Danyeri 7:9-14) ‘Omukadde Eyaakamala Ennaku Ennyingi,’ Yakuwa Katonda, alabibwa ng’atudde ku ntebe ye ey’ekitiibwa ey’Obwakabaka ng’Omulamuzi. ‘Enkumi n’enkumi bamuweereza, n’obukumi emirundi kakumi bayimirira mu maaso ge.’ Mu kusalira ensolo omusango, Katonda aziggyako obufuzi era n’azikiriza ensolo ey’okuna. Obufuzi obw’enkalakkalira obw’okufuga “abantu bonna, amawanga n’ennimi” buweebwa oyo ‘afaanana ng’omwana w’omuntu.’ Kino kisonga ku kiseera eky’enkomerero ne ku kutuuzibwa kw’Omwana w’omuntu, Yesu Kristo, ku ntebe ey’obwakabaka mu mwaka 1914.
25, 26. Bibuuzo ki ebiyinza okujjawo bwe tusoma ekitabo kya Danyeri, era kitabo ki ekiyinza okutuyamba okubiddamu?
25 Abasomi b’ekitabo kya Danyeri bateekwa okuba nga balina ebibuuzo bye beebuuza. Ng’ekyokulabirako, ensolo ennya ez’omu Danyeri essuula 7 zikiikirira ki? Obunnabbi bwa “ssabbiiti ensanvu” obuli mu Danyeri 9:24-27 bunnyonnyolwa butya? Ate Danyeri essuula 11 n’obunnabbi obukwata ku kanyoolegano wakati wa “kabaka ow’obukkiika kkono” ne “kabaka ow’obukiika ddyo”? Era kiki kye tuyinza okusuubira ku bakabaka bano mu kiseera eky’enkomerero?
26 Yakuwa asobozesezza abaweereza be abaafukibwako amafuta abali ku nsi, ‘abatukuvu b’oyo Ali Waggulu Ennyo’ nga bwe bayitibwa mu Danyeri 7:18, okutegeera ensonga ng’ezo. Ate era, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ akoze enteekateeka ffenna tusobole okufuna okutegeera okusingawo ku bikwata ku biwandiiko ebyaluŋŋamizibwa ebya nnabbi Danyeri. (Matayo 24:45) Kuno kusangibwa mu katabo akaakafulumizibwa akalina omutwe Pay Attention to Daniel’s Prophecy! Akatabo kano ak’empapula 320 kalimu ebifaananyi ebifaanana obulungi koogera ku bitundu byonna eby’ekitabo kya Danyeri. Kannyonnyola obunnabbi bwonna obuzimba okukkiriza era n’ebyaliwo byonna ebyattottolwa nnabbi omwagalwa Danyeri.
Kye Kitegeeza Ddala mu Kiseera Kyaffe
27, 28. (a) Mazima ki agakwata ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri? (b) Kiseera ki kye tulimu, era twandikoze ki?
27 Lowooza ku nsonga eno enkulu ennyo: Ng’oggyeko obutundu obutonotono, obunnabbi bwonna obuli mu kitabo kya Danyeri bumaze okutuukirizibwa. Ng’ekyokulabirako, tulaba embeera eriwo mu nsi eyolesebwa ebigere by’ekifaananyi ekyalabibwa mu kirooto eky’omu Danyeri essuula 2. Ekikolo ky’omuti ogw’omu Danyeri essuula 4 kyasumululwako enkoba, Kabaka, Yesu Kristo, era Masiya, bwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu mwaka 1914. Yee, nga bwe kyalagulwa mu Danyeri essuula 7, Omukadde Eyaakamala Ennaku Ennyingi yakwasa Omwana w’omuntu obufuzi.—Danyeri 7:13, 14; Matayo 16:27–17:9.
28 Ennaku 2,300 ezoogerwako mu Danyeri essuula 8 era n’ennaku 1,290 awamu n’ennaku 1,335 ezoogerwako mu ssuula 12 zonna zaayita dda. Okusoma Danyeri essuula 11 kulaga nti akanyoolagano wakati wa kabaka owa “obukiika kkono” ne “kabaka ow’obukiika ddyo” katuuse mu kitundu kyako ekikomererayo. Bino byonna byongereza ku bujulizi obw’omu Byawandiikibwa obulaga nti kati tuli wala nnyo mu kiseera eky’enkomerero. Nga tulowooza ku biseera eby’enjawulo ennyo bye tulimu, twandibadde bamalirivu kukola ki? Awatali kubuusabuusa, twanditaddeyo omwoyo ku kigambo kya Yakuwa Katonda eky’obunnabbi.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki Katonda ky’ayagala abantu bonna okumanya ku kiseera kyaffe?
• Ekitabo kya Danyeri kiyinza kitya okuzimba okukkiriza kwaffe?
• Ekirooto kya Nebukadduneeza eky’ekifaananyi kyalimu biki, era byali bikiikirira ki?
• Nsonga ki enkulu egwanidde okumanyibwa ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri?