LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 6/1 lup. 18-20
  • Ennyimba Ezisanyusa Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyimba Ezisanyusa Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ennyimba Ezitasanyusa Katonda
  • Okulondawo Ennyimba n’Amagezi
  • Ennyimba n’Okwewaayo
  • Ennyimba Ezitendereza Katonda
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 6/1 lup. 18-20

Ennyimba Ezisanyusa Katonda

Ennyimba zoogeddwako nga “ekirabo ekisingirayo ddala obukadde.” Okufaananako olulimi, kirabo kya kitalo ekyawula abantu ku bisolo. Ennyimba zirina kye zikola ku nneewulira ez’omunda. Ziyinza okusanyusa, okusigala mu birowoozo, era okusinga byonna, ennyimba ziyinza okusanyusa Katonda.

NGA Baibuli bw’eraga, Abaisiraeri baali bantu abaagala ennyo ennyimba. Ennyimba zaali “kintu kikulu mu biseera bya Baibuli eby’edda,” bw’etyo Unger’s Bible Dictionary bw’egamba. Ng’ekitundu ky’obulamu obwa bulijjo, okuyimba n’okukuba ebivuga byabangawo mu kusinza okw’amazima. Naye eddoboozi ly’omuntu lye lyakozesebwanga ennyo.

Kabaka Dawudi yalonda abantu abamu okuva mu Baleevi ‘okuwa obulagirizi ku kuyimba’ mu weema, nga yeekaalu eyazimbibwa Sulemaani, mutabani we, tennatongozebwa. (1 Ebyomumirembe 6:31, 32) Essanduuko ey’endagaano, ekiikirira okubeerawo kwa Yakuwa, bwe yatuuka mu Yerusaalemi, Dawudi yakola enteekateeka Abaleevi abamu ‘okujjukizanga era n’okwebaza n’okutendereza Yakuwa.’ Baayimba ennyimba ezitendereza era ne bakozesa entongooli n’ennanga n’ebitaasa ebivuga ennyo n’amakondeere.’ Abasajja bano ‘baalondebwa nga bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Yakuwa kubanga okusaasira kwe kwa mirembe gyonna.’​—1 Ebyomumirembe 16:4-6, 41; 25:1.

Ebigambo “okusaasira kwa [Yakuwa] kwa mirembe gyonna” birabika emirundi mingi mu Zabbuli, ekitabo kya Baibuli ekisinga okukwataganyizibwa n’ennyimba. Ng’ekyokulabirako, bye biri mu kitundu eky’okubiri eky’ennyiriri zonna 26 eza Zabbuli 136. “Olw’okubeera ebigambo ebitono, bikozesebwa nnyo abantu,” bw’atyo omwekenneenya wa Baibuli omu bwe yagamba. “Buli abiwulira asobola okubijjukira.”

Obugambo obubeera waggulu ku zabbuli bulaga engeri ebivuga gye byakozesebwanga ennyo. Zabbuli 150 eyogera ku kkondeere, entongooli, ekitaasa, endere, awamu n’amadinda. Wadde kiri kityo, ekisinga okusikiriza lye ddoboozi ly’omuntu. Olunyiriri 6 lukubiriza: “Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama.”

Okuva ennyimba bwe zooleka enneewulira yaffe, okukungubaga mu biseera bya Baibuli kwaviirako ennyimba ez’okukungubaga. Kyokka, okuyimba okw’ekika kino kwabangawo biseera bimu na bimu mu nnyimba za Baisiraeri. “Mu luyimba olw’okukungubaga mwokka mwe baayimbanga nga baddiŋŋana ebigambo mu kifo ky’okukuba obuyimba obulungi oba okukyusakyusa amaloboozi era n’okussa essira ku bigambo ebirongoofu,” bwe kityo ekitabo Insight on the Scriptures,a bwe kigamba.

Yesu n’abatume be abeesigwa baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, era awatali kubuusabuusa baayimba ebigambo by’omu Zabbuli. (Zabbuli 113-118) Nga kino kiteekwa okuba nga kyanyweza abayigirizwa ba Yesu okwolekagana n’okufiirwa Mukama waabwe! Okusingawo ku ekyo, obumalirivu bwabwe okusigala ng’abaweereza abeesigwa aba Yakuwa, Omufuzi ow’Oku Ntikko ow’obutonde bwonna, buteekwa okuba bweyongera bwe baayimba emirundi etaano ebigambo “okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.”​—Zabbuli 118:1-4, 29.

Abakristaayo abaasooka ab’omu Efeso ne Kkolosaayi baayimba ebigambo by’omu “zabbuli n’ennyimba ezitendereza Katonda.” Ku bino baagattako ‘ennyimba ez’eby’omwoyo’ ze baayimba mu mitima gyabwe. (Abaefeso 5:19; Abakkolosaayi 3:16) Okuyitira mu nnyimba ne mu bigambo baakozesanga emimwa gyabwe okutendereza. Yesu teyagamba nti “ebyo ebijjula mu mutima akamwa bye koogera”?​—Matayo 12:34.

Ennyimba Ezitasanyusa Katonda

Si buli nnyimba ezoogerwako mu Baibuli zisanyusa Katonda. Lowooza ku kyaliwo ku Lusozi Sinaayi, Musa gye yaweerwa Amateeka, nga mw’otwalidde n’Ebiragiro Ekkumi. Musa bwe yakka okuva ku lusozi, kiki kye yawulira? “Si ddoboozi ly[‘]abo aboogerera waggulu olw’okuwangula,” ‘si ddoboozi ly’abo abakaaba olw’okuwangulibwa,’ naye ‘eddoboozi ery’okuyimba okulala.’ Zaali nnyimba ezikwataganyizibwa n’okusinza ebifaananyi, ekikolwa ekyaleetera Katonda okusunguwala ne kiviirako okufa kw’abantu nga 3,000 abaali baziyimba.​—Okuva 32:18, 25-28.

Wadde abantu bayinza okuyiiya, okukuba, n’okunyumirwa ennyimba eza buli ngeri, tekiri nti zonna zisanyusa Katonda. Lwaki? Omutume Omukristaayo Pawulo annyonnyola: “Kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23) Emikolo gy’abakafiiri, enzikiriza y’obutafa bw’emmeeme y’omuntu, n’okugulumiza Malyamu nga “nnyina wa Katonda” bitera okubeera mu nnyimba. Kyokka, enzikiriza zino n’ebikolwa tebiweesa Katonda ow’amazima kitiibwa, kubanga bikontana n’ebiri mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli.​—Ekyamateeka 18:10-12; Ezeekyeri 18:4; Lukka 1:35, 38.

Okulondawo Ennyimba n’Amagezi

Ennyimba omuntu z’alina okulondamu nnyingi nnyo. Ebifaananyi ebibeera kungulu ku disiki z’ennyimba birina ekigendererwa eky’okusikiriza bakasitoma okugula ennyimba eza buli ngeri. Naye singa omusinza wa Katonda ayagala Okumusanyusa, ajja kwegendereza alondewo n’amagezi yeewale ennyimba ez’omu bigambo n’ezitali mu bigambo ezikubirizibwa enzikiriza z’eddiini ez’obulimba oba ezissa essira ku bugwenyufu n’obusamize.

Albert, eyaliko omuminsani Omukristaayo mu Afirika, agamba nti yalina emikisa mitono okukuba piyano ng’ali eyo. Kyokka, yawulirizanga enfunda n’enfunda ennyimba ezaali ku mayinja ge yagenda nago. Ng’azzeeyo mu nsi y’ewaabwe, kati Albert aweereza ng’omulabirizi atambula ng’akyalira ebibiina by’Ekikristaayo. Alina ekiseera kitono okuwuliriza ennyimba. “Omuyiiya w’ennyimba gwe njagala ennyo ye Beethoven,” bw’atyo bw’agamba. “Emyaka bwe gizze giyitawo, nkuŋŋaanyizza ennyimba ze yayiiya.” Era kimuleetedde essanyu lingi okuziwuliriza. Kya lwatu buli muntu alina ennyimba ezimunyumira, naye ng’Abakristaayo tujjukira okubuulirira kwa Pawulo: “Oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.”​—1 Abakkolinso 10:31.

Ennyimba n’Okwewaayo

Ekintu Susie kye yali asingayo okwagala zaali nnyimba. “Nnatandika okukuba piyano nga nnina emyaka 6, ggita ku myaka 10 n’ennanga ku myaka 12,” bw’atyo bw’annyonnyola. Oluvannyuma Susie yagenda mu Royal College of Music mu London, Bungereza, okuyiga okukozesa ennanga. Yayiga okumala emyaka ena n’omukubi w’ennanga omumanyifu era n’ayiga omwaka omulala gumu mu Paris Conservatoire, n’afuna diguli mu nnyimba awamu ne dipuloma mu kukuba ennanga n’okuyigiriza piyano.

Susie yatandika okukolagana n’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mu London. Eyo yakizuula nti Abajulirwa baalina okwagala okwa nnamaddala era nga buli omu afaayo ku munne. Mpolampola, okwagala kwe yalina eri Yakuwa kweyongera, era n’obunyiikivu bwe yalina eri obuweereza bwamuleetera okunoonya engeri z’okumuweereza. Kino kyamuleetera okwewaayo n’okubatizibwa. “Omulimu ogukwata ku nnyimba gwetaagisa okwewaayo, n’olwekyo okwewaayo tekyali kintu kippya gye ndi,” bw’atyo Susie bw’agamba. Ekiseera eky’okukola konsati z’ennyimba kyakendeera bwe yeeyongera okwenyigira mu buweereza bw’Ekikristaayo obw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ng’agondera ebiragiro bya Yesu.​—Matayo 24:14; Makko 13:10.

Kati awulira atya olw’okuba n’ebiseera bitono okwenyigira mu by’ennyimba? “Nnakuwalamu katono olw’okubeera n’ebiseera ebitono okwegezaamu,” bw’atyo bw’agamba, “naye nkyakuba ebivuga byange era nyumirwa ennyimba. Ennyimba kirabo okuva eri Yakuwa. Kati nzinyumirwa nnyo olw’okuba nkulembezza obuweereza bwe mu bulamu bwange.”​—Matayo 6:33.

Ennyimba Ezitendereza Katonda

Albert ne Susie awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala kumpi obukadde mukaaga teboosa kutendereza Yakuwa Katonda n’ennyimba. Mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ezibaawo mu Kingdom Hall mu nsi 234, batandika era ne bakomekkereza enkuŋŋaana zaabwe nga bayimbira Yakuwa ennyimba. Ennyimba ezo ennungi zibaamu ebigambo ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ebitendereza Yakuwa Katonda.

Bonna ababaawo bayimusa amaloboozi gaabwe okuyimba nti Yakuwa ye Katonda afaayo (Oluyimba 44). Bayimba oluyimba olutendereza Yakuwa (Oluyimba 190). Ennyimba zaabwe zooleka essanyu n’obuvunaanyizibwa bw’oluganda olw’Ekikristaayo, obulamu bw’Ekikristaayo, n’engeri z’Ekikristaayo. Ekirala ekizongera okubeera ennyuvu ze ngeri ez’enjawulo ez’okuyimba Abajulirwa ab’omu Asiya, Australia, Bulaaya, ne Amereka ow’omu Bukiika Kkono ne Bukiika Ddyo ze beeyambisa nga bayiiya ennyimba ezo.b

“Muyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna. Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye,” bye bigambo ebiggulawo oluyimba olulungi olwawandiikibwa mu kiseera ky’omuwandiisi wa Zabbuli. “Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku. Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, eby’amagero bye mu bantu bonna.” (Zabbuli 96:1-3) Kino Abajulirwa ba Yakuwa kye bakola mu kitundu kyo, era bakwaniriza okubeegattako mu kuyimba ennyimba ez’okumutendereza. Ojja kwanirizibwa mu Kingdom Hall zaabwe, gy’oyinza okuyiga okutendereza Yakuwa n’ennyimba ezimusanyusa.

[Obugambo obuli wansi]

a Kyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

b Ennyimba zino zisangibwa mu kitabo Sing Praises to Jehovah, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

Okuyimbira Yakuwa ennyimba ezimutendereza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share