LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 8/1 lup. 4-7
  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Kyetaagisa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Kyetaagisa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ab’Obuyinza mu Kitundu
  • Amaka n’Obuyinza
  • Ekibiina Ekikristaayo n’Obuyinza
  • Buyinza bw’Ani bw’Osaanidde Okukkiriza?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Kwetaagisa Okusobola Okubeera mu Mirembe
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Musse Ekitiibwa mu Baweereddwa Obuyinza ku Mmwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 8/1 lup. 4-7

Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Kyetaagisa?

ANI atasiima nti poliisi erina obuyinza okukwata abamenyi b’amateeka ababba ebintu byaffe oba ab’akabi eri amaka gaffe? Era tetusiima nti kkooti zirina obuyinza okubonereza abamenyi b’amateeka okusobola okukuuma abantu?

Obuweereza obulala obuganyula abantu, gamba nga okuddaabiriza enguudo, eby’obuyonjo, n’eby’enjigiriza​—ebisasulirwa emisolo egiweebwa gavumenti​—biyinza okujja mu birowoozo byo. Abakristaayo ab’amazima be basaale mu kutegeera nti okussa ekitiibwa mu b’obuyinza kyetaagisa. Naye bandiweereddwa ekitiibwa ng’ekyo kutuuka wa? Era mu bifo ki mu bulamu gye kyetaagisa okussa ekitiibwa mu b’obuyinza?

Ab’Obuyinza mu Kitundu

Baibuli egamba abantu bonna, ka babe bakkiriza oba abatali bakkiriza, okussa ekitiibwa mu b’obuyinza, eky’omuganyulo eri abantu mu kitundu. Pawulo, omutume Omukristaayo yawandiikira bakkiriza banne mu Rooma ku nsonga eno, era kya muganyulo okwekkaanya by’agamba, nga bwe kiri mu Abaruumi 13:1-7, NW.

Pawulo yali mutuuze Omuruumi, era Rooma yali nsi kirimaanyi mu kiseera ekyo. Ebbaluwa ya Pawulo, eyawandiikibwa mu mwaka 56 C.E., yabuulirira Abakristaayo okubeera abatuuze abateekawo eky’okulabirako ekirungi. Yawandiika nti: “Buli muntu awulirenga ab’obuyinza abafuga, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda; ab’obuyinza abaliwo bali mu bifo byabwe eby’ekiseera ebyalagirwa Katonda.”

Pawulo wano annyonnyola nti tewandibaddewo buyinza bw’abantu singa Katonda teyabukkiriza. Mu ngeri eyo ab’obuyinza abafuga balina ekifo eky’ekiseera mu kigendererwa kya Katonda. N’olwekyo, “awakanya ab’obuyinza aba awakanya enteekateeka ya Katonda.”

Wadde abatuuze abeeyisa obulungi bayinza okutenderezebwa ab’obuyinza abafuga, ab’obuyinza bano era baweebwa obuyinza okubonereza abamenyi b’amateeka. Abo abakola ebibi balina ensonga ennungi okutya enkizo y’ab’obuyinza ‘okuwoolera eggwanga,’ okuva gavumenti bwe zituukiriza ekyo nga “omuweereza wa Katonda.”

Pawulo awumbako ng’agamba nti: “N’olwekyo, kibagwanidde okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw’omuntu wammwe ow’omunda. Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo.”

Ab’obuyinza abafuga be balina obuvunaanyizibwa bw’okukozesa ssente z’omusolo so si omuwi w’omusolo. Ng’omutuuze omwesigwa, Omukristaayo akuuma omuntu omulungi ow’omunda. Amanyi nti bw’agondera ab’obuyinza abafuga era n’asasula omusolo, aba tanywerera ku mitindo gy’omu kitundu mw’abeera kyokka naye era aba atuukana ne Katonda by’atwetaagisa.

Amaka n’Obuyinza

Ate obuyinza mu maka? Mu kiseera ekisooka eky’obulamu bwe, omwana omuto atera okukaaba oba okuwogana nga ayagala okufiibwako. Naye omuzadde ow’amagezi ajja kutegeera ebyetaago byennyini eby’omwana we era tajja kukkiriza nneeyisa ng’eyo kumufuga. Abaana abamu,bwe beeyongera okukula, balekebwa okukola kye baagala, era n’okweteekerawo emitindo egyabwe ku bwabwe. Olw’obutaba na bumanyirivu, bayinza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka oba ebikolwa ebirala ebibi, ne batabangula amaka n’ekitundu kye balimu, era nga n’ab’obuyinza mu kitundu bakimanyi bulungi.

“Abazadde balwawo okutandika okukangavvula abaana baabwe,” bw’atyo bw’agamba Rosalind Miles, omuwandiisi w’akatabo, Children We Deserve. “Ekiseera eky’okutandika ky’ekyo ng’omwana azaaliddwa.” Singa okuviira ddala ku ntandikwa abazadde boogera n’eddoboozi ery’ekisa, ne bakozesa obuyinza mu ngeri y’okwagala era ne babeera banywevu, mangu ddala abaana baabwe bajja kukkiriza obuyinza bwabwe era n’okukangavvulibwa mu ngeri ey’okwagala.

Baibuli erimu ebintu bingi ebikwata ku buyinza mu maka. Mu kitabo ky’Engero, Sulemaani, omusajja ow’amagezi ayogera eri abaana ku bumu bw’abazadde abatya Katonda, ng’agamba: “Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, so tova mu teeka lya nnyoko.” (Engero 1:8) Abazadde bwe bakyoleka eri abaana baabwe nti bali bumu, abaana bamanya endowooza ya bazadde baabwe. Bayinza okugezaako okuleetera abazadde okukontana basobole okufuna kye baagala, naye abazadde abakolera awamu baba ba bukuumi eri abaana baabwe.

Baibuli ennyonnyola nti omwami yasinga okuvunaanyizibwa ku mbeera y’eby’omwoyo ey’abaana be ne ey’omukyala we. Kino kinnyonnyolebwa nga obukulembeze. Obukulembeze buno bukozesebwa butya? Pawulo agamba nti nga Kristo bwali Omutwe gw’ekibiina n’omusajja ye mutwe gw’omukyala we. Awo Pawulo agattako: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa [omugole we ow’eby’omwoyo], ne yeewaayo ku lwayo.” (Abaefeso 5:25) Omwami bw’agoberera ekyokulabirako Yesu kye yateekawo mu kukozesa obukulembeze mu ngeri ey’okwagala, mukyala we ajja ‘kumussaamu ekitiibwa.’ (Abaefeso 5:33) Abaana abali mu maka ng’ago bajja kulaba omugaso gw’obuyinza obuva eri Katonda era bakubirizibwe okubukkiriza.​—Abaefeso 6:1-3.

Abazadde abali obwannamunigina, nga mw’otwalidde n’abo abaafiirwa munnaabwe mu bufumbo, bayinza batya okwolekagana n’ensonga eno? Ka babeere taata oba maama, bayinza okwesigama ku buyinza bwa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. Bulijjo Yesu yayogeranga n’obuyinza​—obwa Kitaawe n’obw’Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa.​—Matayo 4:1-10; 7:29; Yokaana 5:19, 30; 8:28.

Baibuli erimu emisingi mingi egikwata ku bizibu abaana bye boolekagana nabyo. Bw’azuula emisingi gino era n’agigoberera, omuzadde ajja kusobola okuwa abaana be obuyambi mu ngeri ey’okwagala era ey’omuganyulo. (Olubereberye 6:22; Engero 13:20; Matayo 6:33; 1 Abakkolinso 15:33; Abafiripi 4:8, 9) Era abazadde bayinza okujuliza mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebitegekeddwa okubayamba okutendeka abaana baabwe okusiima emiganyulo egiri mu kussa ekitiibwa mu buyinza bw’Ebyawandiikibwa.a

Ekibiina Ekikristaayo n’Obuyinza

“Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.” (Matayo 17:5) Ebigambo bino ebyayogerwa Yakuwa Katonda kennyini, byatongoza Yesu ng’oyo ayogera n’obuyinza obuva eri Katonda. Bye yayogera byateekebwa mu Njiri ennya ze tuyinza okujulizaamu.

Ng’anaatera okulinnya mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” (Matayo 28:18) Ng’Omutwe gw’ekibiina, Yesu teyakoma ku kukuuma bagoberezi be abaafukibwako amafuta ku nsi kyokka, naye okuva ku kufukibwa kw’omwoyo omutukuvu ku Penteekoote 33 C.E., yabakozesa ng’omukutu ogw’amazima, ‘ng’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45-47; Ebikolwa 2:1-36) Kiki ky’akoze okutuukiriza bino byonna okusobola okunyweza ekibiina Ekikristaayo? ‘Bwe yalinnya waggulu yagaba ebirabo mu bantu.’ (Abaefeso 4:8) ‘Ebirabo bino mu bantu’ be bakadde Abakristaayo, abalondebwa omwoyo omutukuvu era abaweebwa obuyinza okukola ku byetaago eby’eby’omwoyo ebya bakkiriza bannaabwe.​—Ebikolwa 20:28.

Olw’ensonga eno, Pawulo abuulirira bw’ati: ‘Mujjukirenga abo ababafuga, abababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y’empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.’ Okuva abasajja bano abeesigwa bwe batambulira mu bigere bya Yesu, kiba kya magezi okukoppa okukkiriza kwabwe. Awo Pawulo n’agattako: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga [“mweyongere okukkiriza obuyinza bwe babalinako,” The Amplified Bible]: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.”​—Abaebbulaniya 13:7, 17.

Kiki ekibaawo obulagirizi ng’obwo bwe butagobererwa? Abamu mu kibiina ky’Abakristaayo ekyasooka baakola ekyo kyennyini era ne bafuuka bakyewaggula. Kumenayo ne Fireeto boogerwako ng’abasajja abaanafuya okukkiriza kw’abamu era nga okwogera kwabwe okutaalimu nsa ‘kwatyobola ekitukuvu.’ Ekimu kye baayogera kyali nti okuzuukira kwali kwabaawo dda, ka kube okw’eby’omwoyo oba okw’akabonero, era n’olwekyo tewaaliyo kuzuukira kulala mu biseera eby’omu maaso wansi w’Obwakabaka bwa Katonda.​—2 Timoseewo 2:16-18, NW.

Ab’obuyinza abaalondebwa baawa obuyambi obwetaagisa. Abakadde Abakristaayo baasobola okusambajja enjigiriza ng’ezo kubanga ng’abakiikirira Yesu Kristo, baakozesa obuyinza bw’Ebyawandiikibwa. (2 Timoseewo 3:16, 17) Era bwe kiri leero mu kibiina Ekikristaayo, ekyogerwako nga “empagi n’omusingi eby’amazima.” (1 Timoseewo 3:15) Enjigiriza ez’obulimba tezigenda kukkirizibwa n’akamu kwonoona ‘ebigambo eby’obulamu,’ ebyatuterekerwa mu Baibuli ng’obusika obulungi.​—2 Timoseewo 1:13, 14.

Wadde ng’okussa ekitiibwa mu b’obuyinza kweyongera okukendeera mu nsi, ng’Abakristaayo tukitegeera nti ab’obuyinza mu kitundu, mu maka, ne mu kibiina Ekikristaayo baliwo kuganyula ffe. Okussa ekitiibwa mu b’obuyinza kyetaagisa olw’obulungi bwaffe mu mubiri, mu nneewulira ez’omunda ne mu by’omwoyo. Bwe tukkiriza era ne tussa ekitiibwa mu buyinza obuva eri Katonda, tujja kukuumibwa ab’obuyinza abasingirayo ddala​—Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo​—ku lw’obulungi bwaffe obw’olubeerera.​—Zabbuli 119:165; Abaebbulaniya 12:9.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ebitabo Questions Young People Ask​—Answers That Work ne Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka, ebyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]

Baibuli erimu ebintu bingi ebikwata ku bu- yinza mu maka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Abazadde abali obwannamunigina bayinza okwesi- gama ku buyinza bwa Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Abakristaayo bakitegeera nti ab’obuyinza mu maka, mu kibiina Ekikristaayo, ne mu kitundu baliwo olw’o- kuganyula bo bennyini

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Photo by Josh Mathes, Collection of the Supreme Court of the United States

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share