‘Ekiseera Kituuse!’
‘Ekiseera kye kyali kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe.’—YOKAANA 13:1.
1. Ng’Okuyitako okwa 33 C.E. kusembera, abantu mu Yerusaalemi boogera ku ani, era lwaki?
KU KUBATIZIBWA kwe mu 29 C.E., Yesu yatandika olugendo olwandimutuusizza ku “kiseera” eky’okufa kwe, okuzuukira, era n’okugulumizibwa. Kati kiseera kya ddumbi w’omu 33 C.E. Wiiki ntono nnyo ez’akayitawo bukya Olukiiko lw’Abayudaaya olukulu, luteesa okutta Yesu. Olw’okuba ategedde olukwe lwabwe, oboolyawo okuva eri mukwano gwe, Nikodemu, omu ku b’Olukiiko lw’Abayudaaya, Yesu kati avudde e Yerusaalemi era agenze mu kyalo ekiri emitala w’Omuga Yoludaani. Ng’Embaga ey’Okuyitako esembera, abantu bangi bava mu kyalo okugenda e Yerusaalemi, era abantu mu kibuga kyonna boogera ku Yesu. “Mulowooza mutya?” abantu beebuuza bokka na bokka. “Tajje ku mbaga?” Bakabona abakulu n’Abafalisaayo bongedde ku kajjagalalo bwe bawadde ekiragiro nti omuntu yenna alaba ku Yesu alina okubategeeza wa gy’ali.—Yokaana 11:47-57.
2. Kikolwa ki ekya Malyamu ekireetawo enkaayana, era Yesu by’addamu ng’amutaasa biraga ki ku bikwata ku kumanya “ekiseera kye”?
2 Nga Nisaani 8, ng’ebula ennaku mukaaga Embaga ey’Okuyitako etuuke, Yesu akomawo mu Yerusaalemi. Ajja e Bessaniya—ekibuga mikwano gye abaagalwa Maliza, Malyamu, ne Lazaalo gye babeera—ekifo ekiri mayilo nga biri okuva mu Yerusaalemi. Lunaku Lwakutaano akawungeezi, era Yesu abeerayo ku lunaku lwa Ssabbiiti lwonna. Akawungeezi akaddako, Malyamu bw’amusiiga amafuta ag’omugavu ag’omuwendo omungi ennyo, abayigirizwa tebakisiima. Yesu abaddamu: “Mumuleke agaterekere olunaku lw’okuziikibwa kwange. Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.” (Yokaana 12:1-8; Matayo 26:6-13) Yesu akimanyi nti ‘ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe.’ (Yokaana 13:1) Oluvannyuma lw’ennaku ttaano okuva kati ajja ‘kuwaayo obulamu bwe okununula abangi.’ (Makko 10:45) Bwe kityo, obukulu bw’ebiseera by’alimu bulina kye bukola ku buli kimu Yesu ky’akola ne ky’ayigiriza. Nga kino kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli nga tulindirira enkomerero y’embeera z’ebintu bino! Lowooza ku ekyo ekituuka ku Yesu olunaku oluddako.
Olunaku lw’Okuyingira kwa Yesu okw’Essanyu
3. (a) Yesu ayingira atya mu Yerusaalemi ku Ssande, Nisaani 9, era abantu abasinga obungi abamwetooloodde bakola ki? (b) Yesu addamu atya Abafalisaayo abeemulugunya eri ekibiina?
3 Ku Ssande nga Nisaani 9, Yesu ajjira mu ssanyu e Yerusaalemi. Bw’asemberera ekibuga—nga yeebagadde omwana gw’endogoyi mu kutuukirizibwa kwa Zekkaliya 9:9—abantu bangi abamwetoolodde bayala engoye zaabwe mu luguudo, abalala ne batema amatabi ku miti ne bagaaliira mu kkubo. “Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama!” bwe batyo bwe baleekaana. Abafalisaayo abamu mu kibiina baagala Yesu akome ku bayigirizwa be. Kyokka, Yesu abaddamu: “Mbagamba nti abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu.”—Lukka 19:38-40; Matayo 21:6-9.
4. Lwaki Yerusaalemi ebaamu akasattiro Yesu bw’ayingira mu kibuga?
4 Wiiki ntono eziyise, bangi mu kibiina baalaba Yesu ng’azuukiza Lazaalo. Kati bano babuulira abalala ebikwata ku ky’amagero ekyo. N’olwekyo, Yesu ng’ayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna kiba mu kasattiro. “Ani ono?” abantu babuuza. Era ebibiina by’abantu ne beeyongera okugamba nti: “Ono nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya!” Nga balaba ekigenda mu maaso, Abafalisaayo bagamba: “Ensi zonna zimusenze.”—Matayo 21:10, 11; Yokaana 12:17-19.
5. Kiki ekibaawo Yesu bw’agenda mu yeekaalu?
5 Nga bw’eri empisa ye ng’akyadde e Yerusaalemi, Yesu, Omuyigiriza Omukulu, agenda mu yeekaalu okuyigiriza. Ng’ali eyo abazibe b’amaaso n’abalema bajja gy’ali, era n’abawonya. Bakabona abakulu n’abawandiisi banyiiga bwe balaba bino era bwe bawulira abaana mu yeekaalu nga boogerera waggulu nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi!”. Ne bamugamba nti “Owulira bano bye bagamba?” Yesu abaddamu nti “Mpulira.” “Temusomangako nti mu kamwa k’abaana abato n’abawere otuukirizza ettendo?” Nga Yesu yeeyongera okuyigiriza, yeetoolooza amaaso ge mu yeekaalu okulaba ekigenda mu maaso.—Matayo 21:15, 16; Makko 11:11.
6. Kati enneyisa ya Yesu ya njawulo etya okuva ku bwe yali okusooka, era lwaki?
6 Kati enneeyisa ya Yesu nga ya njawulo nnyo okuva ku bwe yali emyezi mukaaga egiyise! Mu kiseera ekyo yajja mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensisira ‘si lwatu, naye mu kyama.’ (Yokaana 7:10) Era bulijjo yabangako ky’akola okuvaawo nga tewali kimutuuseeko obulamu bwe bwe bwabeeranga mu kabi. Kati ayingira lwatu mu kibuga ebiragiro gye biweereddwa akwatibwe! Era si ye yali empisa ya Yesu okweyogerako nga Masiya. (Isaaya 42:2; Makko 1:40-44) Teyayagala kulangirira oba lipoota ezimukwatako ezitali ntuufu okutambuzibwa okuva ku muntu omu okutuuka ku mulala. Kati ebibiina bimulangirira mu lujjudde nga Kabaka era Omulokozi—Masiya—era agaana okusaba kw’abakulembeze b’eddiini okusirisa abantu! Kiki ekimureetedde okukyuka? Kubanga “obudde butuuse Omwana w’omuntu agulumizibwe,” nga Yesu bw’akirangirira olunaku oluddako.—Yokaana 12:23.
Ekikolwa eky’Obuvumu—Oluvannyuma Okuyigiriza Okuwonya Obulamu
7, 8. Ebikolwa bya Yesu ku Nisaani 10, 33 C.E., biraga bitya ekyo kye yakola mu yeekaalu ku Mbaga ey’Okuyitako mu 30 C.E.?
7 Ng’atuuse awali yeekaalu ku Bbalaza, nga Nisaani 10, Yesu akola ku ekyo kye yalaba olw’eggulo olwayise. Atandika ‘okugoba abatundira n’abagulira mu yeekaalu, era avuunika emmeeza z’abawaanyisa effeeza n’entebbe z’abo abatunda amayiba; n’ataganya muntu okuyisa ekibya mu yeekaalu.’ Ng’anenya abakozi b’ebibi, agamba bw’ati: “Tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna? Naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”—Makko 11:15-17.
8 Ebikolwa bya Yesu biraga ekyo kye yakola emyaka essatu emabega bwe yagenda mu yeekaalu ku lunaku olw’Okuyitako mu 30 C.E. Kyokka, okunenya kuno, kwa bukambwe nnyo ku luno. Abatundira mu yeekaalu kati abayita “banyazi.” (Lukka 19:45, 46; Yokaana 2:13-16) Banyazi kubanga basaba emiwendo gya waggulu nnyo okuva eri abo abaagala okugula ebisolo eby’okuwaayo nga ssaddaaka. Bakabona abakulu, abawandiisi, n’abakulembeze b’abantu bawulira ekyo Yesu ky’akola era nate ne banoonya engeri ey’okumutta. Kyokka, tebamanyi ngeri ya kuttamu Yesu, okuva abantu bonna, olw’okwewuunya engeri gy’ayigirizaamu, bamwetoolodde okumuwuliriza.—Makko 11:18; Lukka 19:47, 48.
9. Kya kuyiga ki Yesu ky’ayigiriza, era abamuwuliriza mu yeekaalu abaaniriza atya?
9 Nga Yesu yeeyongera okuyigiriza ku yeekaalu, agamba bw’ati: “Obudde butuuse Omwana w’omuntu agulumizibwe.” Yee, akimanyi nti asigazzaayo ennaku ntono okubeera mu bulamu bw’omuntu. Oluvannyuma lw’okunnyonnyola engeri ensigo y’enŋŋano bw’erina okufa eryoke ebale ebibala—nga kikwatagana n’okufa kwe n’okufuuka ayitirwamu okuwa abalala obulamu obutaggwaawo—Yesu ayaniriza abamuwuliriza, ng’agamba nti: “Omuntu bw’ampereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy’anaabanga: omuntu bw’ampereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.”—Yokaana 12:23-26.
10. Yesu awulira atya ku kufa okw’obulumi okumulindiridde?
10 Ng’alowooza ku kufa kwe okw’obulumi okwali kusigazaayo ennaku nnya zokka kutuuke, Yesu yeyongerayo bw’ati: “Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunzi[ggya] mu kiseera kino.” Kyokka ekyo ekirindiridde Yesu tekiyinza kwewalibwa. “Naye,” agamba, “kyennava ntuuka mu kiseera kino.” Mazima ddala, Yesu akkiriziganya n’enteekateeka ya Katonda yonna. Amaliridde okuleka Katonda by’ayagala okufuga by’akola byonna okutuukira ddala ku kufa kwe okwa ssaddaaka. (Yokaana 12:27) Nga kyakulabirako kirungi nnyo kye yatuteerawo—okugoberera mu bujjuvu ekyo Katonda ky’ayagala!
11. Yesu ayigiriza ki ekibiina ky’abantu abaakawulira eddoboozi okuva mu ggulu?
11 Olw’okufaayo ennyo ku ngeri erinnya lya Kitaawe bwe lyandikwatibwako okufa kwe, Yesu asaba: “Kitaange gulumiza erinnya lyo.” Ekyewuunyisa ennyo ekibiina ekikuŋŋaanidde mu yeekaalu, eddoobozi liva mu ggulu, nga ligamba: “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.” Omuyigiriza Omukulu akozesa omukisa guno okubuulira ekibiina lwaki eddoobozi liwuliddwa, ekiriva mu kufa kwe, era lwaki balina okubeera n’okukkiriza. (Yokaana 12:28-36) Ennaku bbiri eziyise Yesu abadde n’eby’okukola bingi nnyo. Naye olunaku olukulu lukyali mu maaso.
Olunaku olw’Okunenyezaako
12. Ku Lw’Okubiri, Nisani 11, abakulembeze b’eddiini bagezaako batya okutega Yesu, era kiki ekyavaamu?
12 Ku Lw’Okubiri, nga Nisani 11, Yesu agenda nate mu yeekaalu okuyigiriza. Waliwo abamuwuliriza abatamwagala. Nga boogera ku bikolwa bya Yesu eby’olunaku oluyise, bakabona abakulu n’abakadde b’abantu bamubuuza: “Buyinza ki obukukoza bino? Ani eyakuwa obuyinza buno?” Omuyigiriza Omukulu abalemesa olw’ebyo by’abaddamu, era n’abagamba engero satu—bbiri ku zo nga zikwata ku nnimiro y’emizabibu n’olulala ku mbaga y’obugole—ezaanikira ddala obubi bw’abo abamuziyiza. Nga bakwatiddwa obusungu olw’ebyo bye bawulira, abakulembeze b’eddiini baagala okumukwata. Naye batya ebibiina, ebitwala Yesu okuba nnabbi. N’olwekyo, bagezaako okumutega ayogere ekintu kye bayinza okusinziirako okumukwata. Yesu by’abaddamu bibasirisa.—Matayo 21:23–22:46.
13. Magezi ki Yesu gaawa abamuwuliriza agakwata ku bawandiisi n’Abafalisaayo?
13 Okuva abawandiisi n’Abafalisaayo bwe beetwala okuba abayigiriza Amateeka ga Katonda, Yesu kati agamba abamuwuliriza: “Ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.” (Matayo 23:1-3) Nga kunenya kwa maanyi nnyo okw’omu lujjudde! Naye Yesu tannamaliriza kubanenya. Luno lwe lunaku lwe olusembayo mu yeekaalu, era n’obuvumu ayogera ebigambo bingi ebibavumirira—kumukumu ng’okubwatuka kw’ebire okuddiŋŋana.
14, 15. Yesu avumirira atya abawandiisi n’Abafalisaayo?
14 “Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi!” bw’atyo Yesu bw’ayogera emirundi mukaaga. Aboogerako bw’atyo kubanga, nga bwannyonnyola, baggalirawo abantu Obwakabaka obw’omu ggulu, nga tebaganya abo ababa bayingira okuyingira. Abannanfuusi bano beetooloola mu mayanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu, okumufuula ow’okuzikirira. Nga babuusa amaaso “ebigambo ebikulu eby’amateeka, obutalyanga nsonga [“obwenkanya,” NW] n’ekisa, n’okukkirizanga [“n’obwesigwa,” NW],” essira balissa ku kuwaayo ekitundu eky’ekkumi. Bwe kityo, banaaza “kungulu ku kikompe n’ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n’obutegendereza” mu ngeri nti obwonoonefu bwabwe obw’omunda bukwekeddwa mu kulabika okw’okungulu okw’okutya Katonda. Okwongereza ku ekyo, baagala okuzimba amalaalo ga bannabbi era ne baganyiriza okulaga ebikolwa byabwe eby’ekisa, wadde nga ‘be baana b’abo abatta bannabbi.’—Matayo 23:13-15, 23-31.
15 Ng’anenya abalabe be olw’okubulwa ebikolwa eby’omwoyo ebirungi, Yesu agamba: “Ziribasanga mmwe abasaale abazibe b’amaaso.” Mu by’empisa bazibe kubanga bassa essira ku zaabu ow’omu Yeekaalu okusinga omuwendo ogw’eby’omwoyo ogw’ekifo ekyo eky’okusinza. Nga yeeyongera mu maaso, Yesu ayogera ebigambo bye ebisingirayo ddala okuba eby’amaanyi eby’okunenya. “Mwe emisota, abaana b’embalasaasa,” bw’atyo bw’abagamba, “mulidduka mutya omusango gwa Ggeyeena?” Yee, Yesu abagamba nti olw’okugoberera ekkubo lyabwe ebi, bajja kuzikirizibwa ddala. (Matayo 23:16-22, 33) Naffe ka tulage obuvumu mu kulangirira obubaka bw’Obwakabaka, yadde nga kitwaliramu okwanika eddiini ez’obulimba.
16. Ng’atudde ku Lusozi olwa Zeyituuni, bunnabbi ki obukulu Yesu bw’awa abayigirizwa be?
16 Kati Yesu ava mu yeekaalu. Awo nga buwungeera, ye n’abatume be balinnya ku Lusozi olwa Zeyituuni. Ng’atudde eyo, Yesu awa obunnabbi obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yeekaalu era n’akabonero k’okubeerawo kwe era n’amafundikira g’embeera z’ebintu. Amakulu agali mu bigambo bino eby’obunnabbi gatuukira ddala ne mu kiseera kyaffe. Akawungeezi ako, Yesu era agamba abayigirizwa be: ‘Mumanyi nti ennaku biri okuva kati walibaawo Okuyitako, era Omwana w’omuntu aliweebwayo okukomererwa.’—Matayo 24:1-14; 26:1, 2.
Yesu ‘Ayagala Ababe Okutuukira Ddala ku Nkomerero’
17. (a) Ku Mbaga y’Okuyitako ku Nisani 14, ssomo ki Yesu ly’ayigiriza 12? (b) Mukolo ki Yesu gw’atandikawo oluvannyuma lw’okugamba Yuda Isukalyoti okufuluma?
17 Ennaku ebiri eziddako—Nisaani 12 ne 13—Yesu teyeeraga lwatu ku yeekaalu. Abakulembeze b’eddiini baagala okumutta, kyokka tayagala kintu kyonna kumulemesa okukwata Embaga ey’Okuyitako awamu n’abatume be. Okugolooba kw’enjuba ku Lw’Okuna ye ntandikwa ya Nisaani 14—olunaku olusembayo olw’obulamu bwa Yesu ku nsi ng’omuntu. Akawungeezi ako, Yesu n’abatume be bali wamu mu nnyumba mu Yerusaalemi gye bategese okukwatira Embaga ey’Okuyitako. Nga balira wamu Embaga ey’Okuyitako, ayigiriza 12 essomo eddungi ennyo erikwata ku bwetoowaaze ng’abanaaza ebigere byabwe. Ng’amaze okugamba Yuda Isukalyoti okufuluma, oyo akkiriza okulya olukwe mu Mukama we olw’ebitundu bya feeza 30—omuwendo ogugula omuddu obuddu okusinziira ku Mateeka ga Musa—Yesu atandikawo Ekijjukizo ky’okufa kwe.—Okuva 21:32; Matayo 26:14, 15, 26-29; Yokaana 13:2-30.
18. Biki ebirala Yesu by’ayigiriza abatume be 11 abeesigwa mu ngeri ey’okwagala, era okweteekerateekera okugenda kwe okuli okumpi okutuuka?
18 Oluvannyuma lw’okutongoza Ekijjukizo, abatume batandika okukuba empaka ku ani ku bo asinga obukulu. Mu kifo ky’okubakangavula, mu ngeri ey’obukakamu Yesu abayigiriza omuganyulo oguli mu kuweereza abalala. Ng’abasiima olw’obutamwabulira mu kugezesebwa kwe, akola nabo endagaano ey’obwakabaka. (Lukka 22:24-30) Yesu era abalagira okwagalananga bokka na bokka nga naye bwe yabaagala. (Yokaana 13:34) Ng’akyali mu kisenge ekyo, mu ngeri ey’okwagala, Yesu abayamba okweteekerateekera ekiseera eky’okugenda kwe ekyali okumpi okutuuka. Abakakasa nti baali mikwano gye, abakubiriza okubeera n’okukkiriza, era abasuubiza obuyambi obw’omwoyo omutukuvu. (Yokaana 14:1-17; 15:15) Nga tannava mu nju eyo, Yesu asaba Kitaawe: “Ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize.” Mazima ddala, Yesu ateeseteese abatume be okwetegekera okugenda kwe, era mu butuufu ‘ayagala ababe okutuukira ddala ku nkomerero.’—Yokaana 13:1; 17:1.
19. Lwaki Yesu ali mu bulumi mu nnimiro e Gesusemane?
19 Obudde buyinza okuba bususse mu ttumbi Yesu n’abatume be abeesigwa 11 we batuukira mu nnimiro y’e Gesusemane. Emirundi mingi yagendangayo n’abatume be. (Yokaana 18:1, 2) Mu ssaawa bussaawa, Yesu ajja kufa ng’omumenyi w’amateeka omubi ennyo. Obulumi obw’ekyo ekigenda okumutuukako era n’engeri gye kiyinza okuleeta ekivume ku Kitaawe bw’amaanyi nnyo ne kiba nti bw’aba asaba, entuuyo ze ziba ng’amatondo g’omusaayi nga gatonnya wansi. (Lukka 22:41-44) “Ekiseera kituuse!” Yesu bw’agamba abatume be. “Laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.” Ng’aky’ayogera, Yuda Isukalyoti ajja, awamu naye ekibiina ekinene nga balina ebitala n’emiggo. Bazze okukwata Yesu. Tagaana. “Kale,” bw’ati bw’agamba, “binaatuukirira bitya Ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?”—Makko 14:41-43; Matayo 26:48-54.
Omwana w’Omuntu Agulumiziddwa!
20. (a) Bikolwa ki eby’obukambwe ebikolebwa ku Yesu oluvannyuma lw’okukwatibwa? (b) Ng’ebulayo akaseera katono afe, lwaki Yesu ayogerera waggulu nti: “Kiwedde”?
20 Oluvannyuma lw’okukwatibwa, Yesu avunaanibwa abajulirwa ab’obulimba, abalamuzi abeekubiddeko oludda bamusingisa omusango, Pontiyo Piraato amusalira ekibonerezo, bakabona n’abantu bamukudalira, abaserikale bamuvuma era ne bamutulugunya. (Makko 14:53-65; 15:1, 15; Yokaana 19:1-3) Ku Lw’Okutaano olw’eggulo, Yesu akomererwa ku muti ogw’okubonyaabonya era n’afuna obulumi obw’amaanyi ennyo ng’obuzito bw’omubiri gwe buwaniriddwa emisomali mu mikono gye ne mu bigere bye. (Yokaana 19:17, 18) Ku ssaawa nga mwenda ez’olw’eggulo, Yesu akaabira waggulu nti: “Kiwedde!” Yee, amaliriza byonna bye yajja okukola ku nsi. Ng’awaayo omwoyo gwe eri Katonda, akutamya omutwe gwe n’afa. (Yokaana 19:28, 30; Matayo 27:45, 46; Lukka 23:46) Ennaku ssatu okuva ku olwo, Yakuwa azuukiza Omwana we. (Makko 16:1-6) Ennaku amakumi ana oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, Yesu alinnya mu ggulu era ‘n’agulumizibwa.’—Yokaana 17:5; Ebikolwa 1:3, 9-12; Abafiripi 2:8-11.
21. Tuyinza tutya okukoppa Yesu?
21 Tuyinza tutya ‘okutambulira mu bigere bya Yesu’? (1 Peetero 2:21) Okumufaanana, naffe ka tunyiikirirenga omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abayigirizwa era tube bavumu mu kwogera ekigambo kya Katonda. (Matayo 24:14; 28:19, 20; Ebikolwa 4:29-31; Abafiripi 1:14) Ka tuleme kwerabira obukulu bw’ekiseera kye tulimu oba okulemererwa okukubirizanga fekka na fekka okwagala n’ebikolwa ebirungi. (Makko 13:28-33; Abaebbulaniya 10:24, 25) Ka enneeyisa yaffe yonna efugibwe okukola ekyo Yakuwa Katonda ky’ayagala era n’okumanya nti tuli mu ‘kiseera eky’enkomerero.’—Danyeri 12:4.
Wandizzeemu Otya?
• Yesu okumanya nti okufa kwe kwali kusembedde, kyakola ki ku buweereza bwe obwasembayo mu yeekaalu y’omu Yerusaalemi?
• Kiki ekiraga nti Yesu ‘yayagala ababe okutuuka ku nkomerero’?
• Ebyaliwo mu kiseera ekyasembayo mu bulamu bwa Yesu biraga ki ekimukwatako?
• Tuyinza tutya okukoppa Kristo Yesu mu buweereza bwaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Yesu ‘yabaagala okutuuka ku nkomerero’