LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 2/1 lup. 3-5
  • Okufuna Obukuumi mu Nsi Ejjudde Akabi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufuna Obukuumi mu Nsi Ejjudde Akabi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwewala Obubenje obw’Akabi
  • Okulwanyisa Emize egy’Akabi
  • Okuvvuunuka Emize egy’Akabi
  • Eby’Akabi Ebiva mu Bugwenyufu
  • Omutego gw’Okwagala Ennyo Ssente
  • Amagezi Lwe Galitukuuma
  • Okussa Ekitiibwa mu Kirabo ky’Obulamu
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Lwaki Okutambulira mu Bulamu obw’Okutya Katonda Kuleeta Essanyu
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Ddala Ssente Ye Nsibuko y’Ebibi Ebya Buli Ngeri?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Siima Ekirabo eky’Obulamu Katonda Kye Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 2/1 lup. 3-5

Okufuna Obukuumi mu Nsi Ejjudde Akabi

OKUTAMBULIRA mu kifo ekitegeddwamu bbomu ez’omuttaka kiyinza okuba eky’akabi ennyo. Kyokka, tekyandibadde kya muganyulo singa obeera ne mmaapu eraga ebifo omuli bbomu ez’omu ttaka? Okugatta ku ekyo, ka tugambe watendekebwa okumanya bbomu ez’enjawulo ezitegeddwa mu ttaka. Awatali kubuusabuusa, okumanya ng’okwo kujja kukendeeza nnyo ku kabi ak’okulemazibwa oba okuttibwa.

Baibuli eyinza okugeraageranyizibwa ku mmaapu ng’eyo awamu n’okutendekebwa okumanya bbomu ez’enjawulo ezitegebwa mu ttaka. Baibuli erimu amagezi agatageraageranyizika bwe kituuka ku kwewala akabi n’okukola ku bizibu ebijjawo mu bulamu.

Weetegereze ekisuubizo ekizzaamu amaanyi ekisangibwa mu Engero 2:10, 11: “Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, n’okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo; okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga.” Amagezi n’okutegeera ebyogerwako wano tebisibuka mu bantu wabula eri Katonda. “Naye buli anaawuliranga [amagezi agava eri Katonda] anaabeeranga mirembe, era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.” (Engero 1:33) Ka tulabe engeri Baibuli gy’eyinza okwongera ku bukuumi bwaffe n’okutuyamba okwewala ebizibu bingi.

Okwewala Obubenje obw’Akabi

Emiwendo egy’akafulumizibwa Ekibiina ky’Ensi Yonna eky’Obulamu (WHO) giraga nti abantu abattibwa obubenje bw’ebidduka buli mwaka mu nsi yonna bali 1,171,000. Kumpi obukadde 40 abalala batuusibwako ebisago, era abasukka mu bukadde 8 balemala.

Wadde okubeera n’obukuumi obujjuvu ng’ovuga ekidduka tekisoboka, obukuumi bwaffe bweyongerako nnyo bwe tugondera amateeka g’ebidduka. Ng’eyogera ku b’obuyinza mu gavumenti, abateeka era ne bakwasisa amateeka g’ebidduka, Baibuli egamba: “Buli muntu agondere ab’obuyinza abafuga.” (Abaruumi 13:1, NW) Abavuzi b’ebidduka abagoberera okubuulirira kuno bakendeeza ku kabi k’okufuna akabenje, n’eby’akabi ebivaamu.

Ekirala ekireetera omuntu okuvuga obulungi kwe kussa ekitiibwa mu bulamu. Baibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa Katonda: “Ggwe nsibuko y’obulamu.” (Zabbuli 36:9, NW) N’olwekyo, obulamu kirabo ekiva eri Katonda. Bwe kityo, tetulina bwannannyini okuggya ekirabo ekyo ku muntu yenna oba obutassa kitiibwa mu bulamu, nga mw’otwalidde n’obwaffe.​—Olubereberye 9:5, 6.

Okussa ekitiibwa mu bulamu bw’omuntu kitwaliramu okukakasa nti emmotoka yaffe n’amaka gaffe biri mu mbeera nnungi nnyo. Mu Isiraeri eky’edda, okwewala embeera ez’akabi kyali kikulu nnyo mu mbeera zonna ez’obulamu. Ng’ekyokulabirako, ennyumba bwe yazimbibwanga, Amateeka ga Katonda geetaagisa nti akasolya kaayo​—ekifo amaka kwe baakoleranga ebintu ebitali bimu​—kabeeko omuziziko. “Onookolanga omuziziko ku ntikko, ng’omuntu yenna ayimye okwo n’agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo.” (Ekyamateeka 22:8) Singa omuntu yenna yagwanga olw’okuba etteeka lino ery’obukuumi terigobereddwa, Katonda yavunaana nnyini nnyumba. Awatali kubuusabuusa, okugoberera omusingi ogw’okwagala oguli mu tteeka lino kyandikendeezezza ku bubenje mu bifo gye tukolera oba ne mu kwesanyusaamu.

Okulwanyisa Emize egy’Akabi

Okusinziira ku Kibiina ky’Eby’Obualmu, kati waliwo abanywi ba sigala abasukka mu kawumbi mu nsi yonna, era abantu nga obukadde buna buli mwaka bafa olw’okunywa sigala. Omuwendo guno gusuubirwa okuwera obukadde nga 10 mu myaka 20 oba 30 egijja. Abalala bangi nnyo ku abo abanywa sigala, awamu n’abo abakozesa amalagala ‘ag’okwesanyusaamu’ bajja kwonoona obulamu bwabwe olw’emize egyo.

Wadde ng’Ekigambo kya Katonda tekyogera butereevu ku kukozesa sigala n’okwekamirira amalagala, emisingi gyakyo giyinza okutukuuma eri ebikolwa bino. Ng’ekyokulabirako, 2 Abakkolinso 7:1 lukubiriza: “Twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo.” Tewali kubuusabuusa kwonna nti sigala n’amalagala byonoona omubiri. Ate era, Katonda ayagala emibiri gyaffe okubeera ‘emitukuvu,’ ekitegeeza emirongoofu era emiyonjo. (Abaruumi 12:1) Tokkiriza nti okugoberera emisingi gino kijja kukendeeza nnyo ku kabi eri obulamu bw’omuntu?

Okuvvuunuka Emize egy’Akabi

Abantu bangi bagwa olubege mu kulya n’okunywa. Ebiva mu kulya ekisukkiridde bwe bulwadde bwa sukaali, kookolo, n’endwadde z’omutima. Okwekamirira omwenge kuvaamu ebizibu ebirala, gamba ng’obutamiivu, endwadde z’ekibumba, okusasika kw’amaka, n’obubenje bw’ebidduka. Ku luuyi olulala, okufaayo ennyo ekisukkiridde ku by’endya kiyinza okuba eky’akabi ne kiviirako n’abamu okulwala olw’obutalya bulungi nga batya okugejja.

Wadde nga Baibuli si kitabo kya kisawo, kiwa amagezi ku bwetaavu bw’okulya n’okunywa mu ngeri y’ekigero. “Mwana wange, wulira obeerenga n’amagezi, oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo. Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge; mu abo ebeevuubiika ennyama: Kubanga omutamiivu n’omuluvu balituuka mu bwavu.” (Engero 23:19-21) Kyokka, Baibuli egamba nti okulya n’okunywa bisaanidde okuleeta essanyu. “Buli muntu [asaanidde] okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.”​—Omubuulizi 3:13.

Baibuli era ekubiriza endowooza etagudde lubege ku kutendeka omubiri, ng’egamba nti ‘Okutendeka kw’omubiri kugasa akaseera katono.’ Naye egattako: ‘Okwemalira ku Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw’okubulamu obwa kaakano n’obwo obugenda okujja.’ (1 Timoseewo 4:8, NW) Oyinza okubuuza nti ‘okwemalira ku Katonda kugasa kutya ne kaakano?’ Mu ngeri nnyingi. Ng’oggyeko okutunyweza mu bulamu bwaffe obw’eby’omwoyo, okwemalira ku Katonda kutusobozesa okukulaakulanya engeri ez’omuganyulo gamba ng’okwagala, essanyu, emirembe, n’okwefuga​—byonna ebikusobozesa okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku bulamu obulungi.​—Abaggalatiya 5:22, 23.

Eby’Akabi Ebiva mu Bugwenyufu

Leero abantu bangi nnyo tebakyafaayo n’akamu ku kukuuma empisa ennungi. Ekivuddemu kwe kusaasaana kwa AIDS. Okusinziira ku Kibiina ky’Eby’Obulamu, abantu abasukka mu bukadde 16 bafudde kasookedde AIDS atandika, ate kampegaano, abantu ng’obukadde 34 balina HIV, akawuka akaleeta AIDS. Bangi abalina AIDS baafuna obulwadde obwo okuyitira mu nneeyisa ey’obugwenyufu, empiso ezitali nnongoofu ezikozesebwa abeekamirira amalagala, oba okuteekebwamu omusaayi ogutali mulongoofu.

Ebirala ebiva mu mpisa ng’ezo ez’obugwenyufu, z’endwadde z’olususu, enziku, endwadde z’ekibumba ne kabootongo. Wadde ebigambo ng’ebyo eby’ekisawo tebyakozesebwanga mu biseera bya Baibuli, ebitundu ebyakwatibwanga obulwadde obumu obusaasaanyizibwa mu kwetaba mu kiseera ekyo byali bimanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, Engero 7:23 lwogera ku ky’akabi ekiva mu bwenzi nga ‘akasaale akafumita ekibumba.’ Kabootongo naye atera okukwata ekibumba. Yee, ng’okubuulirira kwa Baibuli nti Abakristaayo ‘beewale omusaayi n’obwenzi’ kutuukirawo bulungi era nga kwa kwagala!​—Ebikolwa 15:28, 29.

Omutego gw’Okwagala Ennyo Ssente

Nga bafuba okugaggawala amangu, abantu bangi bakozesa ssente zaabwe mu ngeri etali y’amagezi. Eky’ennaku, okuzikozesa mu ngeri ng’eyo kitera okuvaamu okuzifiirwa. Kyokka, eri omuweereza wa Katonda, Baibuli egamba: “Naye waakiri afubenga, ng’akola ebirungi n’emikono gye, alyoke abeerenga n’eky’okumuwa eyeetaaga.” (Abaefeso 4:28) Kyo kituufu nti, akola ennyo ayinza obutagaggawala. Kyokka, abeera n’emirembe mu mutima, yeewa ekitiibwa, era oboolyawo abeera n’essente z’ayinza okuwaayo okuwagira ekintu eky’omuganyulo.

Baibuli erabula: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo . . . ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.” (1 Timoseewo 6:9, 10) Tekiyinza kuwakanyizibwa nti bangi “abaagala okugaggawala” bagaggawala. Naye kiki ekizingirwamu? Si kituufu nti obulamu bwabwe, amaka gaabwe, embeera yaabwe ey’eby’omwoyo n’ekiseera eky’okwebaka bikosebwa?​—Omubuulizi 5:12.

Omuntu ow’amagezi akitegeera nti ‘obulamu tebuva mu bintu by’alina.’ (Lukka 12:15) Ssente n’ebintu byetaagibwa mu bantu abasinga obungi. Mu butuufu, Baibuli egamba nti ‘ssente kigo,’ naye egattako nti “okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.” (Omubuulizi 7:12) Obutafaananako ssente, okumanya okutuufu n’amagezi biyinza okutuyamba mu mbeera zonna, naye nnaddala mu nsonga ezikwata ku bulamu bwaffe.​—Engero 4:5-9.

Amagezi Lwe Galitukuuma

Amagezi ag’amazima mangu ddala gajja ‘kukuuma nnyini go’ mu ngeri etageraageranyizika​—okubakuuma okuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ ekibindabinda Katonda mw’alizikiririza ababi. (Matayo 24:21) Mu kiseera ekyo abantu bajja kusuula ssente zaabwe mu nguudo “ng’ekintu ekitali kirongoofu,” okusinziira ku Baibuli. Lwaki? Kubanga baliba bakitegedde nti zzaabu ne ffeeza tebijja kubagulira bulamu ku “lunaku olw’obusungu bwa Mukama.” (Ezeekyeri 7:19) Ku luuyi olulala, ‘ekibiina ekinene,’ n’amagezi ‘abatereka eby’obugagga mu ggulu’ nga bakulembeza ebigendererwa eby’omwoyo mu bulamu bwabwe, bajja kuganyulwa olw’okutereka okwo era bafune obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.​— Okubikkulirwa 7:9, 14; 21:3, 4; Matayo 6:19, 20.

Tuyinza tutya okutuuka mu biseera eby’omu maaso ebyo ebikakafu? Yesu addamu: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okufuna okumanya okukwata ku Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3, NW) Abantu bangi nnyo bafunye okumanya kuno mu Kigambo kya Katonda, Baibuli. Abalinga abo tebalina ssuubi lyokka ery’ekitalo mu biseera eby’omu maaso, naye era balina emirembe n’obukuumi eby’ekigero kati. Kiringa omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba: “Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.”​—Zabbuli 4:8.

Oyinza okulowoozaayo ku nsibuko y’obubaka yonna eyinza okuyamba okukendeeza ku kabi eri obulamu bwo nga Baibuli bw’ekola? Tewali kitabo kirala kyonna ekirina obuyinza nga Baibuli, era tewali kitabo kirala kyonna ekiyinza okukuyamba okufuna obukuumi obwa nnamaddala mu nsi ya leero ejjudde akabi. Lwaki teweeyongera kugyekkaanya?

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Obulamu n’Obukuumi Obusingawo Obulungi​—Olw’Obuyambi bwa Baibuli

Okusobola okwewala ebintu ebibaawo mu bulamu, omukazi omuto ayitibwa Janea yakozesanga enjaga, ttaaba, n’amalagala amalala. Era yanywanga nnyo omwenge. Okusinziira ku Jane, n’omwami we yali mu mbeera y’emu. Ebiseera byabwe eby’omu maaso tebyali birungi. Awo nno, Jane n’asisinkana Abajulirwa ba Yakuwa. Yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okusoma Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, ng’ali wamu n’omwami we. Bombi baatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa. Bwe baatandika okusiima emitindo gya Yakuwa egya waggulu, baalekera awo okukozesa ebintu ebyo eby’akabi. Kiki ekyavaamu? “Obulamu bwaffe obuppya butuleetedde essanyu ppitirivu,” bw’atyo Jane bwe yawandiika emyaka mitono egiyiseewo. “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’amaanyi g’Ekigambo kye agalongoosa era n’obulamu obw’eddembe era obulungi bwe tulina kati.”

Omugaso gw’okubeera akozesebwa omwesigwa gwalagibwa mu ekyo ekyatuuka ku Kurt, eyalina omulimu gw’okulabirira kompyuta. Ebyuma ebippya byali byetaagibwa, era eyali akozesa Kurt n’amukwasa omulimu gw’okubigula ku bbeeyi ennungi. Kurt yafuna omutunzi asaanira, era ne bakkaanya ku bbeeyi. Kyokka, kalaani w’omutunzi yakola ensobi mu bbeeyi gye yawandiika, n’eba nga ya wansi doola nga 40,000. Bwe yalaba ensobi eyo, Kurt yakubira kampuni essimu, era maneja n’agamba nti mu myaka 25 ng’akola emirimu, yali talabanga ku bwesigwa ng’obwo. Kurt yannyonnyola nti omuntu we ow’omunda yatendekebwa Baibuli. N’ekyavaamu, maneja yasaba kopi za Awake! 300 ezaali zikwata ku bwesigwa mu bizinesi asobole okuziwa bakozi banne. Ye Kurt, yakuzibwa ku mulimu olw’obwesigwa bwe.

[Obugambo obuli wansi]

a Amanya gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share