LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 4/1 lup. 8-12
  • Okuwangula Obunafu bw’Omubiri

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuwangula Obunafu bw’Omubiri
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obukakafu bw’Okukemebwa n’Ekibi Weebiri
  • Teweekakasa Kisukkiridde
  • Tuyinza Okuziyiza Okukemebwa!
  • Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okuyambamu
  • Nyiikira Okuziyiza Okukemebwa
  • Weewale Okutwalirizibwa ng’Okemeddwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okukemebwa
    Zuukuka!—2017
  • “Muleme Okukemebwa”
    Beera Bulindaala!
  • Osobola Okuziyiza Ebikemo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 4/1 lup. 8-12

Okuwangula Obunafu bw’Omubiri

‘Okulowooza eby’omubiri kwe kufa.’​—ABARUUMI 8:6.

1. Abamu batunuulira batya omubiri gw’omuntu, era kibuuzo ki ekisaanye okwekenneenyezebwa?

“N[N]AAKWEBAZANGA; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo.” (Zabbuli 139:14) Bw’atyo Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayimba bwe yali afumiitiriza ku kimu ku bitonde bya Yakuwa​—omubiri gw’omuntu. Mu kifo ky’okutendereza ng’okwo okuli ku musingi omunywevu, abasomesa b’eby’eddiini abamu batwala omubiri okubeera ekifo ekibi mwe kyekweka era mwe kiyitira. Guyitiddwa ekibikka ku butamanya, omusingi gw’empisa embi, olukomera lw’okwonoona.’ Kituufu nti omutume Pawulo yagamba: “Mu mubiri gwange temutuula kirungi.” (Abaruumi 7:18) Naye kino kitegeeza nti tusibiddwa ddala mu mubiri omwonoonyi nga tewali ssuubi?

2. (a) Kitegeeza ki ‘okulowooza eby’omubiri’? (b) Kulwanagana ki okuli wakati “w’omubiri” “n’omwoyo” okubeera mu bantu abaagala okusanyusa Katonda?

2 Oluusi Ebyawandiikibwa bikozesa ekigambo “omubiri” okukiikirira omuntu mu mbeera ye ey’obutali butuukirivu nga muzzukulu wa Adamu omujeemu. (Abaefeso 2:3; Zabbuli 51:5; Abaruumi 5:12) Kye twasikira okuva gy’ali kyaleetawo obunafu mu mubiri.’ (Abaruumi 6:19) Era Pawulo yalabula: ‘Okulowooza eby’omubiri kwe kufa.’ (Abaruumi 8:6) ‘Okulowooza eby’omubiri’ ng’okwo kitegeeza okufugibwa n’okukubirizibwa okwegomba kw’omubiri omwonoonyi. (1 Yokaana 2:16) N’olwekyo, bwe tuba tugezaako okusanyusa Katonda, buli kiseera wabaawo okulwanagana wakati w’embeera yaffe ey’eby’omwoyo n’obutali butuukirivu bwaffe obutuleetera buli kiseera okwenyigira mu ‘bikolwa eby’omubiri’ (Abaggalatiya 5:17-23; 1 Peetero 2:11) Oluvannyuma lw’okwogera ku kulwanagana okwo okw’obulumi kwe yalina munda ye, Pawulo yagamba: “Nze nga ndi muntu munaku! [A]ni alindokola mu mubiri ogw’okufa kuno?” (Abaruumi 7:24) Pawulo yali muntu atasobola kulwanyisa kukemebwa? Baibuli eddamu nti nedda!

Obukakafu bw’Okukemebwa n’Ekibi Weebiri

3. Abantu bangi balowooza batya ku kibi n’okukemebwa, naye Baibuli erabula etya ku ndowooza ng’eyo?

3 Eri abantu bangi leero, ekibi kintu ekitakkirizibwa. Abamu bakozesa “ekibi” mu ngeri ey’okusaaga ng’ekigambo ekyava ku mulembe okunnyonnyola obusobyo bw’abantu. Tebakitegeera nti “ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w’alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.” (2 Abakkolinso 5:10) Abamu bayinza okukyoleka nti okukemebwa tebakutwala ng’ekintu ekikulu. Abamu babeera mu bibiina by’abantu abaluubirira okukkusa okwegomba kwabwe amangu, ka kibe nga kitwaliramu okulya, okwetaba, ebinyumu, oba okubaako kye batuukako. Tebaagala bwagazi buli kintu kyonna naye era bakyagalirawo kati kati! (Lukka 15:12) Batunuulira amasanyu aga kaakano gokka so si essanyu ery’omu biseera eby’omu maaso ‘ery’obulamu obwa nnamaddala.’ (1 Timoseewo 6:19) Kyokka, Baibuli etuyigiriza okulowooza n’obwegendereza era n’okutunuulira eby’ewala, nga twewala ekintu kyonna ekiyinza okutwonoona mu mbeera yaffe ey’eby’omwoyo oba mu ngeri endala yonna. Olugero olwaluŋŋamizibwa lugamba: “Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.”​—Engero 27:12.

4. Kulabula ki Pawulo kwe yawa mu 1 Abakkolinso 10:12, 13?

4 Pawulo bwe yawandiikira Abakristaayo abaali babeera mu Kkolinso​—ekibuga ekyali kimanyiddwa olw’ebikolwa eby’obugwenyufu​—yawa okulabula okukwata ku kukemebwa n’amaanyi g’ekibi. Yagamba: “Kale alowooza ng’ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa. [Te]wali kukem[ebw]a okuba[tuukako] okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, [t]aabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.” (1 Abakkolinso 10:12, 13) Fenna​—abato n’abakulu, abasajja n’abakazi​—twolekagana n’okukemebwa kungi ku ssomero, ku mulimu, oba awalala wonna. N’olwekyo, ka twekenneenye ebigambo bya Pawulo tulabe amakulu ge tuyinza okubifunamu.

Teweekakasa Kisukkiridde

5. Lwaki okwekakasa ekisukkiridde kwa kabi?

5 Pawulo agamba: “Kale alowooza ng’ayimiridde yeekumenga aleme okugwa.” Kya kabi okwekakasa ekisukkiridde ku bikwata ku mpisa zaffe. Kyoleka obutategeera engeri n’amaanyi g’ekibi. Okuva abantu nga Musa, Dawudi, Sulemaani, n’omutume Peetero bwe baagwa mu kibi, twandirowoozezza nti ffe tetusobola? (Okubala 20:2-13; 2 Samwiri 11:1-27; 1 Bassekabaka 11:1-6; Matayo 26:69-75) “Omuntu ow’amagezi atya n’ava mu bubi: naye omusirusiru aba n’ettitimbuli, era yeeyinula [“yeekakasa ekisukkiridde,” NW],” bwe lutyo Engero 14:16 bwe lugamba. Kyokka ate, Yesu yagamba: ‘Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.’ (Matayo 26:41) Okuva bwe watali muntu atatuukiridde atayinza kwegomba kibi, twetaaga okutwala okulabula kwa Pawulo ng’ekintu ekikulu era tuziyize okukemebwa, bwe kitaba bwe kityo tuyinza okubeera mu kabi ak’okugwa.​—Yeremiya 17:9.

6. Ddi era mu ngeri ki lwe tusaanidde okwetegekera okukemebwa?

6 Kya magezi okwetegekera akabi akayinza okubaawo nga tekasuubirwa. Kabaka Asa yamanya nti ekiseera eky’emirembe kye kyali ekiseera ekituufu okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe. (2 Ebyomumirembe 14:2, 6, 7) Yamanya nti kyandibadde kizibu okweteekateeka mu kiseera eky’okulumbibwa. Mu ngeri y’emu, eby’okusalawo ku kye tulina okukola bwe tukemebwa bikolebwa bulungi nga tuli bakkakkamu era nga tuli mu mbeera nnungi. (Zabbuli 63:6) Danyeri ne banne abatya Katonda baasalawo okubeera abeesigwa eri amateeka ga Yakuwa nga tebannaba kupikirizibwa kulya ku mmere ya kabaka. N’olwekyo, tebaalonzalonza kunywerera ku kusalawo kwabwe era n’obutalya ku mmere etaali nnongoofu. (Danyeri 1:8) Ng’embeera ezirimu okukemebwa tezinnabaawo, ka tunyweze obumalirivu bwaffe okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Olwo nno tujja kusobola okuziyiza ekibi.

7. Lwaki kizzaamu amaanyi okumanya nti abalala bafunye obuwanguzi mu kuziyiza okukemebwa?

7 Nga kubudaabuda kwa maanyi kwe tufuna mu bigambo bya Pawulo: “[Te]wali kukem[ebw]a okuba[tuukako] okutali kwa bantu”! (1 Abakkolinso 10:13) Omutume Peetero yawandiika: “[Omulyolyomi] mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng’ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.” (1 Peetero 5:9) Yee, abalala bayolekaganye n’okukemebwa ng’okwo era batuuse ku buwanguzi mu kukuziyiza nga bayambibwako Katonda, era naffe tusobola. Kyokka, ng’Abakristaayo ab’amazima abali mu nsi embi, fenna tuyinza okusuubira okukemebwa kati oba mu maaso. Naye, tuyinza tutya okukakasa nti tujja kuwangula obunafu bw’omubiri n’okukemebwa okukola ekibi?

Tuyinza Okuziyiza Okukemebwa!

8. Engeri emu ey’okwewalamu okukemebwa y’eruwa?

8 Engeri emu ey’obutaba “baddu b’ekibi” kwe kwewala okukemebwa bwe kiba nga kisoboka. (Abaruumi 6:6) Engero 4:14, 15 watukubiriza: “Toyingiranga mu kkubo ery’ababi, so totambuliranga mu lugendo olw’abasajja ababi. Olwesambanga, toluyitangako; okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.” Tutera okumanya nga bukyali oba ng’embeera ezimu ziyinza okututuusa mu kibi. N’olwekyo, ekintu eky’enkukunala eky’okukola ng’Abakristaayo kwe ‘kweyongera mu maaso,’ nga twewala omuntu yenna n’ekintu kyonna n’ekifo kyonna ekiyinza okusiikuula okwegomba okubi ne kituleetera ebirowoozo ebitali birongoofu.

9. Okudduka embeera ezirimu okukemebwa kussibwako kutya essira mu Byawandiikibwa?

9 Okudduka embeera ereeta okukemebwa kye kintu ekirala ekiyinza okukolebwa okusobola okufuna obuwanguzi ku kukemebwa. Pawulo yabuulirira: “Muddukenga obwenzi.” (1 Abakkolinso 6:18, NW) Era yawandiika: “Muddukenga okusinza ebifaananyi.” (1 Abakkolinso 10:14) Omutume era yalabula Timoseewo okudduka, okuyaayaanira eby’obugagga, era ne “okwegomba okw’omu buvubuka.”​—2 Timoseewo 2:22; 1 Timoseewo 6:9-11.

10. Byakulabirako ki ebibiri ebitafaanagana ebiraga obukulu bw’okudduka okukemebwa?

10 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka wa Isiraeri, Dawudi. Bwe yatunulatunula ng’ali ku kasolya k’olubiri lwe, yalaba omukazi omulungi ng’anaaba, era okwegomba okubi ne kujjula mu mutima gwe. Yandivudde ku kasolya n’adduka okukemebwa. Mu kifo ky’ekyo, yabuuliriza ebikwata ku mukazi oyo​—Basuseba​—era ebyavaamu byali bibi nnyo. (2 Samwiri 11:1–12:23) Ku ludda olulala, Yusufu yakola ki omukyala omukaba owa mukama we bwe yamukubiriza okusula naye? Ebyawandiikibwa bitutegeeza: “Bwe yayogera ne Yusufu buli lunaku, n’atamuwuliranga, okusula naye, oba okubeera naye.” Wadde nga tewaaliwo biragiro by’Amateeka ga Musa, agaali gatannaweebwa, Yusufu yamuddamu ng’agamba: “Kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya ku Katonda?” Olumu omukyala oyo yakwata Yusufu, ng’agamba: “Sula nange.” Yusufu yasigalawo awo n’agezaako okukubaganya ebirowoozo naye? Nedda. ‘Yadduka n’avaayo n’afuluma.’ Yusufu teyakkiriza kukemebwa okw’okwetaba okumuwangula. Yadduka!​—Olubereberye 39:7-16.

11. Kiki ekiyinza okukolebwa singa twolekagana n’okukemebwa okutera okubaawo?

11 Oluusi okudduka kutwalibwa ng’ekikolwa eky’obutiitiizi, naye okuva mu mbeera ng’eyo bulijjo kye kintu eky’amagezi okukola. Oboolyawo twolekagana n’okukemebwa okutera okubaawo ku mulimu. Wadde tuyinza obutasobola kukyusa mirimu, wayinza okubaawo engeri endala ez’okweggya mu mbeera ezirimu okukemebwa. Tulina okudduka ekintu kyonna kye tumanyi nti kibi, era tulina okubeera abamalirivu okukola ekituufu kyokka. (Amosi 5:15) Mu bifo ebirala, okudduka okukemebwa kuyinza okwetaagisa okwewala ebifaananyi eby’obugwenyufu ku mikutu gya Internet n’ebifo ebitali birungi kusanyukiramu. Era kiyinza okutegeeza okusuula magazini oba okufuna emikwano emirala​—abo abaagala Katonda era abayinza okutuyamba. (Engero 13:20) Ka kibe ki ekitukema okukola ekibi, tuba n’amagezi singa tumalirira okukigaana.​—Abaruumi 12:9.

Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okuyambamu

12. Kiki kye tusaba Katonda bwe tusaba nti: “Totutwala mu kukemebwa”?

12 Pawulo ayogera ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Katonda mwesigwa, [t]aabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.” (Abakkolinso 10:13) Engeri emu Yakuwa gy’atuyambamu kwe kuddamu okusaba kwaffe okw’obuyambi bwe okwaŋŋanga okukemebwa. Yesu Kristo yatuyigiriza okusaba: “Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi.” (Matayo 6:13) Ng’addamu okusaba ng’okwo okw’obwesimbu, Yakuwa tajja kutuleka mu kukemebwa; ajja kutununula okuva eri Setaani n’enkwe ze. (Abaefeso 6:11) Tulina okusaba Katonda atuyambe okutegeera ebikemo n’okubeera n’amaanyi okubiziyiza. Singa tumwegayirira obutatuleka kulemererwa bwe tuba nga tukemebwa, ajja kutuyamba tuleme okuwangulwa Setaani, “omubi.”

13. Kiki kye tulina okukola bwe twolekagana n’okukemebwa okutera okubaawo?

13 Nnaddala tulina okunyiikirira okusaba bwe tuba nga twolekaganye n’okukemebwa okutera okubaawo. Ebikemo ebimu biyinza okutuleetera okutaataaganyizibwa mu birowoozo ne kitujjukiza engeri gye tuli abanafu. (Zabbuli 51:5) Ng’ekyokulabirako, kiki kye tuyinza okukola singa tulumirizibwa olw’ebikolwa eby’obugwenyufu bye twali twenyigiramu? Kiba kitya singa tukemebwa okubiddamu? Mu kifo ky’okugezaako okuzibiikiriza enneewulira ng’ezo, ensonga gitwalire Yakuwa mu kusaba​—enfunda n’enfunda bwe kiba nga kyetaagisa. (Zabbuli 55:22) N’amaanyi g’Ekigambo kye era n’omwoyo omutukuvu, ayinza okutuyamba okulongoosa ebirowoozo byaffe ne tubiggyamu ebirowoozo ebibi byonna.​—Zabbuli 19:8, 9.

14. Lwaki okusaba kukulu nnyo mu kwaŋŋanga okukemebwa?

14 Bwe yalaba abatume be nga beebase mu lusuku lw’e Gesusemane, Yesu yabagamba: “Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu.” (Matayo 26:41) Engeri emu ey’okuwangulamu okukemebwa kwe kubeera obulindaala eri engeri ez’enjawulo ez’okukemebwa era n’okumanya akabi akazirimu. Era kikulu nnyo okusaba amangu ddala nga tukemeddwa tusobole okubeera abanywevu mu by’omwoyo okukulwanyisa. Olw’okuba okukemebwa kutujjira we tuli abanafu, tetuyinza kukuziyiza ffekka. Okusaba kukulu nnyo kubanga amaanyi Katonda g’awa gayinza okutuyamba okuziyiza Setaani. (Abafiripi 4:6, 7) Era tuyinza okwetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo n’okusaba kw’abakadde mu kibiina.’​—Yakobo 5:13-18.

Nyiikira Okuziyiza Okukemebwa

15. Kiki ekitwalirwa mu kuziyiza okukemebwa?

15 Ng’oggyeko okwewala okukemebwa, bwe kiba nga kisoboka, tuteekwa okunyiikira okukuziyiza okutuusa nga kuvuddewo oba okutuusa embeera lw’ekyuka. Yesu bwe yakemebwa Setaani, yamuziyiza okutuusa Omulyolyomi bwe yagenda. (Matayo 4:1-11) Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Muziyize Omulyolyomi, naye anaabaddukanga.” (Yakobo 4:7, NW) Okuziyiza kutandika nga tunyweza ebirowoozo byaffe n’Ekigambo kya Katonda era nga tuba bamalirivu nti tujja kunywerera ku mitindo gye. Kiba kirungi okujjukira era n’okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebikulu ebikwatira ddala ku bunafu bwaffe. Kyandibadde ky’amagezi okufuna Omukristaayo akuze mu by’omwoyo​—oboolyawo omukadde​—gwe tuyinza okubuulirako ebitukwatako era gwe tuyinza okusaba okutuyamba bwe tukemebwa.​—Engero 22:17.

16. Tuyinza kusigala tutya nga tulina empisa ennungi?

16 Ebyawandiikibwa bitukubiriza okwambala omuntu omuggya. (Abaefeso 4:24) Kino kitegeeza okuleka Yakuwa okututereeza n’okutukyusa. Ng’awandiikira mukozi munne Timoseewo, Pawulo yagamba: “[Gobereranga] obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu. Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa.” (1 Timoseewo 6:11, 12) Tuyinza ‘okugoberera obutuukirivu’ nga tunyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda okusobola okumanya obulungi engeri ze era n’okweyisa mu ngeri etuukagana ne by’ayagala. Enteekateeka y’emirimu gy’Ekikristaayo, gamba ng’okubuulira amawulire amalungi n’okubeerawo mu nkuŋŋaana, nabyo bikulu nnyo. Okusemberera Katonda n’okukozesa mu bujjuvu entegeka ze zonna ez’eby’omwoyo kijja kutuyamba okukula mu by’omwoyo n’okusigala nga tulina empisa ennungi.​—Yakobo 4:8.

17. Tumanya tutya nti Katonda tajja kutuleka mu kiseera ky’okukemebwa?

17 Pawulo atukakasa nti okukemebwa kwonna kwe twolekagana nakwo tekujja kusukkuluma busobozi Katonda bw’atuwa okukwaŋŋanga. Yakuwa ajja ‘kussaawo obuddukiro tusobole okukugumiikiriza.’ (1 Abakkolinso 10:13) Mazima ddala, Katonda takkiriza kukemebwa kusukkirira ne kiba nti tetulina busobozi bw’eby’omwoyo okukuuma obugolokofu bwaffe singa tweyongera okumwesiga. Ayagala tutuuke ku buwanguzi mu kuziyiza okukemebwa okukola ekibi mu maaso ge. Ate era, tuyinza okuba n’okukkiriza mu kisuubizo kye: “Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.”​—Abaebbulaniya 13:5.

18. Lwaki tuyinza okuba abakakafu okuwangula obunafu bw’omubiri?

18 Pawulo yali amanyi ekiyinza okuva mu lutalo lwe olw’okulwanyisa obunafu bw’omubiri. Teyeerowoozaako ng’eyali tayinza kuvvuunuka kwegomba okw’omubiri gwe. Okwawukana ku ekyo, yagamba: “Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng’atamanyi; nnwana bwe nti si ng’akuba ebbanga: naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.” (1 Abakkolinso 9:26, 27) Naffe tuyinza okufuna obuwanguzi mu lutalo lw’okulwanyisa omubiri ogutatuukiridde. Okuyitira mu Byawandiikibwa, ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, ne Bakristaayo bannaffe abakuze mu by’omwoyo, Kitaffe ow’okwagala ali mu ggulu atuwa okujjukizibwa buli kiseera okutuyamba okugoberera ekkubo eggolokofu. N’obuyambi bwe, tuyinza okuwangula obunafu bw’omubiri!

Ojjukira?

• Kitegeeza ki ‘okulowooza eby’omubiri’?

• Tuyinza tutya okwetegekera okukemebwa?

• Kiki kye tuyinza okukola okwaŋŋanga okukemebwa?

• Okusaba kulina kifo ki mu kwaŋŋanga okukemebwa?

• Tumanyi tutya nti kisoboka okuwangula

obunafu bw’omubiri?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]

Baibuli teyigiriza nti tetuyinza kuvvuunuka kwegomba okw’omubiri gwaffe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Okudduka okukemebwa ye ngeri emu ey’okwewalamu ekibi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share