Obulagirizi bwa Katonda Obukwata ku Kulonda ow’Okufumbiriganwa Naye
‘Nnaakuyigirizanga nnaakulaganga mu kkubo ly’onooyitangamu: nnaakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.’—ZABBULI 32:8.
1. Bintu ki ebyetaagisa okusobola okuba n’obufumbo obulungi?
ABAGOMA batandika okukuba eŋŋoma zaabwe. Omuyimbi abeegattako n’eddoboozi lye eddungi. Ekivaamu lwe luyimba olunyuma okuwuliriza. Abasajja babiri batikkula ebibokisi ebizito okuva ku loole. Omu akasukira munne ekibokisi, era munne akikwata awatali buzibu bwonna n’alindirira ekirala. Ebikolwa ebyo byombi birabika ng’ebikolebwa awatali buzibu bwonna. Naye ani yandisobodde okubikola nga teyeegezezzaamu, nga munne talina busobozi, era n’okusingira ddala nga talina bulagirizi oba okutendekebwa okutuufu? Mu ngeri y’emu obufumbo obulungi buyinza okulabika ng’obubaawo olw’omukisa obukisa. Kyokka, nabwo bwesigama ku kufuna omuntu omulungi ow’okufumbiriganwa naye, ku kukolaganira awamu, era naddala, ku magezi amalungi. Mazima ddala obulagirizi obulungi bukulu nnyo.
2. (a) Ani eyatandikawo enteekateeka y’obufumbo, era lwa kigendererwa ki? (b) Obufumbo obumu butegekebwa butya?
2 Kya mu butonde omusajja oba omukazi okulowooza ku w’okufumbiriganwa naye, ow’okubeera naye obulamu bwe bwonna. Okuva Yakuwa Katonda bwe yatandikawo obufumbo wakati w’omusajja n’omukazi, obufumbo bubadde kintu ekya bulijjo mu bulamu. Naye omusajja eyasooka, Adamu, teyeerondera mukyala we. Mu ngeri ey’okwagala, Yakuwa yamulondera omukyala. (Olubereberye 2:18-24) Abafumbo abaasooka baali ba kuzaala ensi eryoke ejjule abantu. Oluvannyuma lw’obufumbo obwo obwasooka, enteekateeka z’obufumbo zaakolebwanga abazadde b’omugole omukazi n’omusajja, emirundi egimu oluvannyuma lw’abo abakwatibwako okukkiriza. (Olubereberye 21:21; 24:2-4, 58; 38:6; Yoswa 15:16, 17) Wadde obufumbo obw’engeri eyo bukyakolebwa mu nsi ezimu, bangi leero beerondera ow’okufumbiriganwa naye.
3. Wandironze otya ow’okufumbiriganwa naye?
3 Wandironze otya ow’okufumbiriganwa naye? Abamu batwalirizibwa endabika ey’okungulu esanyusa amaaso gaabwe. Abalala banoonya kufuna bintu, omuntu anaabalabirira obulungi era anaakola ku byetaago byabwe. Naye ebintu bino ebibiri ku bwabyo bireeta essanyu n’okumatira mu bufumbo? Engero 31:30, lugamba: “Okuganja kulimba n’obulungi tebuliiko kye bugasa: naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.” Mu bigambo ebyo mulimu ensonga enkulu: Tosuula Yakuwa muguluka ng’olonda ow’okufumbiriganwa naye.
Obulagirizi obw’Okwagala Okuva eri Katonda
4. Buyambi ki Katonda bw’awa ku bikwata ku kulonda ow’okufumbiriganwa naye?
4 Kitaffe ow’omu ggulu ow’okwagala, Yakuwa, atuwadde Ekigambo kye okutuwa obulagirizi mu nsonga zonna. Agamba: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.” (Isaaya 48:17) N’olwekyo, tekyewuunyisa okusanga mu Baibuli obulagirizi obulungi obukwata ku kulonda ow’okufumbiriganwa naye. Yakuwa ayagala obufumbo bwaffe bube bwa lubeerera era nga bwa ssanyu. N’olwekyo, atuwadde obuyambi okusobola okutegeera n’okussa mu nkola obulagirizi buno. Ekyo si kye twandisuubidde okuva eri Omutonzi ow’okwagala?—Zabbuli 19:8.
5. Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna essanyu mu bufumbo?
5 Yakuwa bwe yatandikawo enteekateeka y’obufumbo, yali ayagala bubeere bwa lubeerera. (Makko 10:6-12; 1 Abakkolinso 7:10, 11) Eyo y’ensonga lwaki ‘akyawa okugattulula obufumbo,’ ng’akukkiriza olwo lwokka nga wabaddewo ‘obwenzi.’ (Malaki 2:13-16; Matayo 19:9) N’olwekyo, okulonda ow’okufumbiriganwa naye kye kimu ku bintu ebisingayo obukulu bye tuyinza okukola. N’olwekyo, tuteekwa okukitwala nga kikulu nnyo. Bintu bitono nnyo ebiyinza okuleeta essanyu oba ennaku ng’obufumbo. Wadde ng’okulonda mu ngeri ey’amagezi kuyinza okufuula obulamu bw’omuntu obumatiza, okulonda obubi kuyinza okuleeta ennaku ey’amaanyi. (Engero 21:19; 26:21) Okusobola okweyongera okubeera abasanyufu, kikulu nnyo okulonda n’amagezi era n’okubeera omwetegefu okutuukiriza obweyamo obw’olubeerera, kubanga obufumbo Katonda bwe yatandikawo bwandyesigamye ku kukolaganira awamu.—Matayo 19:6.
6. Lwaki naddala abavubuka balina okwegendereza nga balonda ow’okufumbiriganwa naye, era bayinza batya okusalawo mu ngeri esingayo okubeera ey’amagezi?
6 Naddala abavubuka balina okwegendereza okusikirizibwa kw’endabika ey’okungulu n’okwegomba okw’amaanyi obutabalemesa kusalawo bulungi nga balonda ow’okufumbiriganwa naye. Kya lwatu, obufumbo obwesigamiziddwa ku bintu ebyo byokka buyinza okuleeta obunyoomi oba obukyayi. (2 Samwiri 13:15) Ku luuyi olulala, okwagala okunywevu kuyinza okukulaakulanyizibwa bwe tweyongera okumanya gwe tusuubira okufumbiriganwa naye era ne tweyongera okumanya obulungi ebitukwatako ffe kennyini. Era tuteekwa okukitegeera nti ekyo ekyandisinze okutuganyula kiyinza obutaba ekyo omutima gwaffe kye gwagala mu kusooka. (Yeremiya 17:9) Eyo ye nsonga lwaki obulagirizi bwa Katonda obuli mu Baibuli bukulu nnyo. Butuyamba okumanya engeri gye tuyinza okusalawo mu ngeri esingayo okubeera ey’amagezi mu bulamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yakiikirira Yakuwa ng’agamba: ‘Nnaakuyigirizanga nnaakulaganga mu kkubo ly’onooyitangamu: nnaakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.’ (Zabbuli 32:8; Abaebbulaniya 4:12) Wadde ng’obufumbo buyinza okumatiza okwegomba kwe tulina okw’okufuna okwagala n’ow’okubeera naye, era bulimu okusoomooza okwetaagisa okutegeera n’okuba abakulu mu by’omwoyo.
7. Lwaki abamu tebakkiriza kubuulirira okwesigamiziddwa ku Baibuli okukwata ku kulonda ow’okufumbiriganwa naye, kyokka kino kiyinza kuvaamu ki?
7 Kiba kya magezi okugoberera ekyo Eyatandikawo obufumbo ky’agamba ku nsonga y’okulonda ow’okufumbiriganwa naye. Kyokka tuyinza obutakkiriza kubuulirira kw’abazadde oba okw’abakadde Abakristaayo okwesigamiziddwa ku Baibuli. Tuyinza okulowooza nti tebatutegeera mu bujjuvu, era okwegomba okw’amaanyi n’enneewulira zaffe ez’omunda biyinza okutuleetera okukola omutima kye gwagala. Kyokka, bwe tufuna ebizibu, tuyinza okwejjusa nti tetwagoberera kubuulirira okw’amagezi okwatuweebwa okutuganyula. (Engero 23:19; 28:26) Tuyinza okwesanga mu bufumbo obutaliimu kwagala, nga tulina abaana abatuzibuwalira okulabirira, era oboolyawo nga gwe tufumbiriganiddwa naye si mukkiriza. Nga kyandibadde kya nnaku nnyo enteekateeka eyandituleetedde essanyu eppitirivu okutuleetera ennaku ey’amaanyi!
Okwemalira ku Katonda Nsonga Nkulu Nnyo
8. Okwemalira ku Katonda kuyinza kutya okuyamba obufumbo okuba obunywevu n’okubaamu essanyu?
8 Kyo kituufu nti buli omu okuba ng’asikiriza munne kiyamba okunyweza obufumbo. Naye okubeera n’ebiruubirirwa ebifaanagana kikulu nnyo n’okusingawo, obufumbo okusobola okuba obunywevu n’okubaamu essanyu. Mwembi bwe mwemalira ku Yakuwa Katonda kinyweza nnyo obufumbo era kireetawo obumu okusinga ekintu ekirala kyonna. (Omubuulizi 4:12) Abafumbo Abakristaayo bwe bamalira obulamu bwabwe ku kusinza kwa Yakuwa okw’amazima, bagattibwa wamu mu by’omwoyo, mu ndowooza ne mu mpisa. Bayigira wamu Ekigambo kya Katonda. Basabira wamu era kino kibagatta wamu. Bagenda bonna mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era ne baabuulira bombi mu buweereza bw’omu nnimiro. Bino byonna bibanyweza mu by’omwoyo ne kibaleetera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere. Ekisingawo n’obukulu, kibaleetera emikisa gya Yakuwa.
9. Ibulayimu yakola ki ku bikwata ku kufunira Isaaka omukazi, era biki ebyavaamu?
9 Olw’okwemalira ku Katonda, Ibulayimu omwesigwa yayagala okusanyusa Katonda ku bikwata ku kulondera mutabani we Isaaka omukyala. Ibulayimu yagamba bw’ati omuweereza we gwe yali yeesiga ennyo: “Nange n[n]aakulayiza Mukama, Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu: naye oligenda mu nsi yange, era eri baganda bange, omuwasize omwana wange Isaaka omukazi. . . . [Yakuwa] alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo.” Lebbeeka yali mukazi mulungi nnyo era Isaaka yamwagala nnyo.—Olubereberye 24:3, 4, 7, 14-21, 67.
10. Buvunaanyizibwa ki obw’omu Byawandiikibwa omwami n’omukyala bwe balina?
10 Bwe tubeera Abakristaayo abatali bafumbo, okwemalira ku Katonda kujja kutuyamba okukulaakulanya engeri ezijja okutusobozesa okutuukiriza ebitwetaagisa mu Byawandiikibwa ebikwata ku bufumbo. Mu bintu ebyetaagisibwa abaami n’abakyala mwe muli ebyo omutume Pawulo bye yamenya: “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. . . . Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo. . . . Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. . . . Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n’omukazi atyenga bba.” (Abaefeso 5:22-33) Nga bwe tuyinza okulaba, ebigambo bya Pawulo ebyaluŋŋamizibwa biggumiza obwetaavu bw’okulaga okwagala n’okuwa abalala ekitiibwa. Okussa mu nkola okubuulirira kuno kitwaliramu okutya Yakuwa. Kyetaagisa okutuukiriza obweyamo bwo n’omutima gwo gwonna mu biseera ebirungi n’ebizibu. Abakristaayo abalowooza ku bufumbo basaanidde okuba nga basobola okwetikka obuvunaanyizibwa buno.
Okusalawo Lwe Wandiyingidde Obufumbo
11. (a) Kubuulirira ki okuli mu Byawandiikibwa okukwata ku kiseera lwe wandiyingidde obufumbo? (b) Kyakulabirako ki ekiraga amagezi agali mu kugoberera okubuulirira kwa Baibuli okuli mu 1 Abakkolinso 7:36?
11 Kikulu nnyo okumanya ekiseera lw’oba ng’otuuse okuyingira obufumbo. Okuva kino bwe kyawukana ku buli muntu, Ebyawandiikibwa tebiwa myaka. Kyokka, biraga nti kiba kirungi okulindako okutuusa ‘ng’ovudde mu kabuvubuka,’ ekiseera okwegomba okw’okwetaba we kubeerera okw’amaanyi era nga kuyinza okukulemesa okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (1 Abakkolinso 7:36) Michelle agamba, “Bwe nnalaba mikwano gyange nga boogerezeganya era abamu nga bayingira obufumbo, nga abasinga obungi bali mu myaka egy’obutiini, emirundi egimu kyali kizibu okussa mu nkola okubuulirira kuno.” Naye nnakitegeera nti okubuulirira okwo kuva eri Yakuwa, era atutegeeza ekyo kyokka ekituganyula. Nga nnindirira okuyingira obufumbo, nnasobola okulowooza ku nkolagana yange ne Yakuwa era n’okufuna obumanyirivu mu bulamu, ebintu by’otayinza kufuna mu myaka egy’obutiini. Oluvannyuma lw’emyaka, nali nsobola okwetikka obuvunaanyizibwa awamu n’ebizibu ebibaawo mu bufumbo.”
12. Lwaki si kya magezi okupapa okuyingira obufumbo ng’okyali muto?
12 Abo abapapa okuyingira obufumbo nga bakyali bato emirundi mingi bakisanga nti ebyetaago byabwe bikyuka nga bagenda bakula. Oluvannyuma bakisanga nti ebintu bye baali batwala ng’ebikulu mu kusooka tebikyali bikulu nnyo. Omukristaayo omu omuvubuka yali mumalirivu okufumbirwa nga wa myaka 16. Jjajja we ne maama we baafumbirwa nga ba myaka egyo. Omuvubuka gwe yali ayagala bwe yagaana okumuwasa ku myaka egyo, yasalawo okufumbirwa omulala eyakkiriza. Kyokka, oluvannyuma yanakuwala nnyo olw’okusalawo okwo kwe yakola ng’apapa.
13. Abo abayingira obufumbo nga tebannatuuka baba babulako ki?
13 Ng’olowooza ku bufumbo, kikulu nnyo okutegeera obulungi byonna ebizingirwamu. Okuyingira obufumbo nga tonnatuuka kiyinza okuleeta ebizibu bingi abafumbo abakyali abato bye batayinza kugonjoola. Bayinza okuba tebalina bumanyirivu era nga si bakulu kimala okusobola okukola ku bizibu by’omu bufumbo n’okulabirira abaana. Omuntu yandiyingidde obufumbo nga mwetegefu mu mubiri, mu birowoozo ne mu by’omwoyo.
14. Kiki ekyetaagisa okugonjoola ebizibu mu bufumbo?
14 Pawulo yawandiika nti abo abafumbiriganwa ‘bajja kubonaabona mu mubiri.’ (1 Abakkolinso 7:28) Ebizibu bijja kubaawo kubanga abantu baba babiri nga balina engeri ez’enjawulo era ng’endowooza zaabwe zaawukana. Olw’obutali butuukirivu, kiyinza okuba ekizibu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’obufumbo obw’omu Byawandiikibwa. (1 Abakkolinso 11:3; Abakkolosaayi 3:18, 19; Tito 2:4, 5; 1 Peetero 3:1, 2, 7) Kyetaagisa okubeera omukulu mu myaka ne mu by’omwoyo okusobola okunoonya n’okugoberera obulagirizi bwa Katonda musobole okugonjoola ebizibu mu ngeri ey’okwagala.
15. Abazadde balina kifo ki mu kuteekateeka abaana baabwe okuyingira obufumbo? Waayo ekyokulabirako.
15 Abazadde bayinza okuteekateeka abaana baabwe okuyingira obufumbo nga babayamba okutegeera obukulu bw’okugoberera obulagirizi bwa Katonda. Nga bakozesa bulungi Ebyawandiikibwa n’ebitabo by’Ekikristaayo, abazadde bayinza okuyamba abaana baabwe okumanya obanga bo bennyini oba abo be basuubira okufumbiriganwa nabo beetegefu okutuukiriza obweyamo bw’omu bufumbo.a Blossom ow’emyaka 18 yawulira ng’ayagala omuvubuka omuto mu kibiina kye. Omuvubuka yali payoniya aweereza ekiseera kyonna, era bombi baali baagala okufumbiriganwa. Naye bazadde be baamugamba alindeko omwaka gumu kubanga yali akyali muto. Oluvannyuma Blossom yawandiika: “Ndi musanyufu nnyo olw’okuba nnawuliriza okubuulirira okwo okw’amagezi. Mu mwaka ogwo gwennyini, nneeyongera okukula era ne ndaba nti omuvubuka ono teyalina ngeri ezandimusobozesezza okubeera omwami omulungi. Mu nkomerero yava mu ntegeka ya Yakuwa, era ne mpona akandibadde akatyabaga mu bulamu bwange. Nga kirungi nnyo okubeera n’abazadde ab’amagezi b’oyinza okwesiga!”
‘Mufumbiriganwe mu Mukama Waffe’
16. (a) Abakristaayo bayinza batya okugezesebwa ku bikwata ku ‘kufumbiriganwa mu Mukama waffe’? (b) Nga bakemeddwa okufumbiriganwa n’atali mukkiriza, Abakristaayo bandirowoozezza ku ki?
16 Obulagirizi bwa Yakuwa eri Abakristaayo buli: ‘Mufumbiriganwe mu Mukama waffe.’ (1 Abakkolinso 7:39) Abazadde Abakristaayo n’abaana baabwe bayinza okugezesebwa ku nsonga eno. Mu ngeri ki? Abavubuka bayinza okuba baagala okufumbiriganwa, naye mu kibiina muyinza obutabaamu asaanira. Kiyinza okulabika bwe kityo. Abasajja bayinza okuba abatono ennyo mu kitundu ekimu, oba muyinza obutabaamu asaanira. Omuvubuka mu kibiina atannaba kwewaayo eri Yakuwa ayinza okwagala omuwala Omukristaayo. Oba omuvubuka eyeewaddeyo eri Yakuwa ayinza okwagala omuwala atali Mukristaayo. Bwe kityo ne bapikirizibwa okwekkiriranya emitindo Yakuwa gy’ataddewo. Mu mbeera ng’ezo kyandibadde kirungi okulowooza ku kyokulabirako kya Ibulayimu. Engeri emu gye yakuumamu enkolagana ennungi ne Katonda kwe kulaba nti mutabani we Isaaka awasa omusinza wa Yakuwa ow’amazima. Isaaka yakola kye kimu ku bikwata ku mutabani we Yakobo. Kino kyali kyetaagisa bonna abaali bakwatibwako okufuba. Kyokka, ekyo kyasanyusa Katonda era ne kivaamu emikisa.—Olubereberye 28:1-4.
17. Lwaki okufumbiriganwa n’atali mukkiriza kiyinza okuba eky’akabi, era ensonga esingayo obukulu lwaki ‘twandifumbiriganiddwa mu Mukama waffe’ y’eruwa?
17 Emirundi mitono nnyo atali mukkiriza lw’ayinza okufuuka Omukristaayo. Kyokka, okufumbiriganwa n’abatakkiriza emirundi mingi kivuddemu akabi. Abo abafumbiriganwa n’abatakkiriza, tebafaananya nzikiriza, mitindo gya mpisa, oba ebiruubirirwa. (2 Abakkolinso 6:14) Kino kiyinza okuba eky’akabi eri empuliziganya n’essanyu mu maka. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu Omukristaayo yali munakuwavu kubanga oluvannyuma lw’olukuŋŋaana oluzimba, yali tayinza kuddayo waabwe n’akubaganya ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo ne munne mu bufumbo atali mukkiriza. Kyokka ekisingawo n’obukulu, ‘okufumbiriganwa mu Mukama waffe’ kuba kulaga Yakuwa bwesigwa. Bwe tugoberera Ekigambo kya Katonda, emitima gyaffe tegitulumiriza, kubanga tuba tukola ‘ekisanyusa mu maaso ge.’—1 Yokaana 3:21, 22.
18. Ng’olowooza ku bufumbo, bintu ki ebikulu bye wandisizzaako omwoyo, era lwaki?
18 Ng’olowooza ku bufumbo, empisa n’embeera ey’eby’omwoyo ey’oyo gw’osuubira okufumbiriganwa naye, wandibadde obissaako nnyo omwoyo. Engeri z’Ekikristaayo, awamu n’okwagala Katonda n’omutima gwonna, bikulu nnyo okusinga endabika ey’okungulu. Katonda asiima abafumbo abategeera era ne batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okubeera abanywevu mu by’omwoyo. Era obufumbo bubeera bunywevu nnyo singa abafumbo bombi beemalira ku Mutonzi era ne bakkiriza obulagirizi bwe. Mu ngeri eno, Yakuwa agulumizibwa, era obufumbo butandikira ku musingi omunywevu ogw’eby’omwoyo ogujja okusobozesa obufumbo okubeera obunywevu.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba The Watchtower aka Febwali 15, 1999, empapula 4-8.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki obulagirizi bwa Katonda bwetaagibwa mu kulonda ow’okufumbiriganwa naye?
• Okwemalira ku Katonda kinaayamba kitya okunyweza obufumbo?
• Abazadde bayinza batya okuteekateeka abaana baabwe okuyingira obufumbo?
• Lwaki kikulu nnyo ‘okufumbiriganwa mu Mukama waffe’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Okugoberera okubuulira kwa Katonda ng’olonda ow’okufumbiriganwa naye kiyinza okuvaamu essanyu lingi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Emikisa mingi egiva mu ‘kufumbiriganwa mu Mukama waffe’