“Muyigire ku Nze”
“Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’emmeeme zammwe.”—MATAYO 11:29, NW.
1. Lwaki okuyigira ku Yesu kireeta essanyu n’emiganyulo?
BULI kiseera, Yesu Kristo yalowoozanga, yayigirizanga, era yeeyisanga mu ngeri esaanira. Obulamu bwe obw’oku nsi bwali bumpi, naye yakola omulimu ogugasa era ogumatiza, bw’atyo n’asigala nga musanyufu. Yafuna abayigirizwa n’abayigiriza engeri y’okusinzaamu Katonda, okwagala abantu, era n’engeri y’okuwangulamu ensi. (Yokaana 16:33) Yabawa essuubi era ‘n’annyonnyola ebikwata ku bulamu obutaggwawo okuyitira mu mawulire amalungi.’ (2 Timoseewo 1:10, NW) Bw’oba oli omu ku bayigirizwa ba Yesu, olowooza kitegeeza ki okubeera omuyigirizwa? Bwe twekenneenya ebyo Yesu by’ayogera ku bayigirizwa, tusobola okuganyulwa. Ekyo kizingiramu okukkiriza endowooza ye era n’okussa mu nkola egimu ku misingi emikulu.—Matayo 10:24, 25; Lukka 14:26, 27; Yokaana 8:31, 32; 13:35; 15:8.
2, 3. (a) Omuyigirizwa wa Yesu y’aba atya? (b) Lwaki kikulu okwebuuza nti, ‘Ndi muyigirizwa w’ani?
2 Mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani, ekigambo “omuyigirizwa” obutereevu kitegeeza omuntu assaayo omwoyo, oba omuntu ayiga. Ekigambo ekikyefaanaanyirizaako tukisanga mu kyawandiikibwa kyaffe ekikulu ekiri mu Matayo 11:29, (NW): “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’emmeeme zammwe.” Yee omuyigirizwa abeera muyizi. Enjiri zitera okukozesa ekigambo “abayigirizwa” nga zoogera ku bagoberezi ba Yesu ab’oku lusegere, abaatambulanga naye ng’abuulira era be yayigiriza. Abantu abamu bayinza okuba nga bakkiriza enjigiriza za Yesu, era ekyo bayinza okuba baakikola mu kyama. (Lukka 6:17; Yokaana 19:38) Era abawandiisi b’Enjiri baayogera ku “bayigirizwa ba Yokaana [Omubatiza] n’ab’Abafalisaayo.” (Makko 2:18) Okuva Yesu bwe yalabula abagoberezi be ‘okwekuuma okuyigiriza kw’Abafalisaayo,’ tuyinza okwebuuza nti, ‘Ndi muyigirizwa w’ani?’—Matayo 16:12.
3 Bwe tuba nga tuli bayigirizwa ba Yesu, era nga tulina bye tumuyigiddeko, olwo nno abalala bajja kuwummuzibwa mu by’omwoyo nga bali naffe. Bajja kukiraba nti tufuuse bawombeefu okusingawo era abateefu mu mutima. Bwe tuba n’ekifo eky’obuvunaanyizibwa ku mulimu, oba nga tuli bazadde, oba bakadde mu kibiina Ekikristaayo, abo be tulinako obuyinza bawulira nti tubayisa nga Yesu bwe yayisanga abo be yalinako obuyinza?
Engeri Yesu Gye Yayisaamu Abantu
4, 5. (a) Lwaki si kizibu okumanya engeri Yesu gye yayisaamu abantu abaalina ebizibu? (b) Kiki ekyaliwo Yesu bwe yali ng’alya mu nju y’Omufalisaayo?
4 Twetaaga okumanya engeri Yesu gye yayisaamu abantu, naddala abo abaalina ebizibu eby’amaanyi. Kino tekyandibadde kizibu okutegeera kubanga Baibuli eyogera bingi ku ngeri Yesu gye yakolaganamu n’abantu abalala, nga n’abamu ku bo baali banyigirizibwa. Era ka twekenneenye engeri abakulembeze b’amadiini, naddala Abafalisaayo gye baayisaamu abantu abaali mu mbeera y’emu. Tujja kubaako kye tuyiga nga twetegereza enjawulo eyaliwo.
5 Mu mwaka 31 C.E., Yesu bwe yali ng’abuulira mu Ggaliraaya, “Omufalisaayo omu n’amuyita okulya naye.” Yesu teyagaana. “N’ayingira mu nnyumba ey’Omufalisaayo oyo n’atuula ku mmere. Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya ng’atudde ku mmere mu nnyumba ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa ey’amafuta ag’omugavu, n’ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng’akaaba, n’atanula okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n’abisangula n’enviiri ez’oku mutwe gwe, n’anywegera ebigere bye n’abisiiga amafuta ago.”—Lukka 7:36-38.
6. Lwaki omukazi “eyalina ebibi” yajja mu maka g’Omufalisaayo?
6 Oyinza okuteebereza ekyo ekyaliwo? Ekitabo ekimu kigamba: “Omukazi (olunyiriri 37) oyo yeeyambisa akakisa akaaweebwanga abanaku okugenda ku kijjulo ng’ekyo okwefunira ebifisseewo.” Eyo yandiba nga ye nsonga lwaki omuntu yali asobola okugenda ku kijjulo nga tayitiddwa. Wandiba nga waaliwo n’abalala abaali baagala okwefunira ebifisseewo. Kyokka, omukazi oyo yeeyisa mu ngeri etali ya bulijjo. Alinawo kye yakola ng’alinda ekijjulo okuggwa. Yali “mwonoonyi” nnyo ekyaviirako ne Yesu okugamba nti ‘ebibi bye byali bingi.’—Lukka 7:47.
7, 8. (a) Kiki kye twandikoze nga tuli mu mbeera ng’ezo ezoogerwako mu Lukka 7:36-38? (b) Simooni yakola ki?
7 Teeberezaamu nti waliwo mu biseera ebyo era nga gwe Yesu. Kiki kye wandikoze? Wandyekengedde omukazi oyo bwe yandikusemberedde? Embeera ng’eyo yandikuyisizza etya? (Lukka 7:45) Wandyesisiwadde?
8 Singa wali omu ku bagenyi, endowooza yo yandibadde yeefaanaanyirizaako eya Simooni Omufalisaayo? “Awo Omufalisaayo [eyayita Yesu] bwe yalaba, n’ayogera munda mu ye nti Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw’ali, era bw’afaanana, ng’alina ebibi.” (Lukka 7:39) Okwawukana ku Simooni,Yesu yali musajja musaasizi nnyo. Yategeera obuzibu bw’omukazi n’obuyinike. Tetutegeezebwa ngeri ki omukazi ono gye yayonoonamu. Bwe kiba nti yali malaaya, kirabika Abayudaaya abanyiikivu mu by’eddiini baali tebamuyambye.
9. Yesu yakola ki, era kyandiba nti omukazi oyo yakwatibwako atya?
9 Naye Yesu yali ayagala okumuyamba. Yamugamba: “Osonyiyiddwa ebibi byo.” Awo n’ayongerezaako: “Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe.” (Lukka 7:48-50) Baibuli bw’etyo bw’etugamba. Kyokka, omuntu ayinza okugamba nti Yesu talina kya maanyi kye yakolera mukazi oyo. Kuba yamuwa buwi mukisa n’amusiibula. Naye olowooza yaddayo mu bulamu obw’obugwenyufu? Wadde nga tetuyinza kuba bakakafu, weetegereze ebyo Lukka by’addako okwogera. Yagamba nti Yesu yatambula “mu bibuga n’embuga ng’abuulira ng’atenda enjiri ey’obwakabaka.” Era Lukka yawandiika nti “n’abakazi” baali ne Yesu n’abatume be, nga ‘babaweereza n’ebintu bye baalina.’ Kyandiba nti n’omukazi ono eyeenenya era n’alaga okusiima yali omu ku bo, ng’atandise okutambulira mu kkubo ery’okutya Katonda, ng’alina omuntu ow’omunda omuyonjo n’ekigendererwa mu bulamu, era nga yeeyongedde okwagala ennyo Katonda.—Lukka 8:1-3.
Enjawulo Wakati wa Yesu n’Abafalisaayo
10. Lwaki kya muganyulo okwekenneenya ebyaliwo mu maka ga Simooni ebikwata ku Yesu n’omukazi?
10 Kiki kye tuyiga ku ebyo ebyaliwo? Mazima ddala kitukwatako nnyo, si bwe kiri? Singa wali mu nju ya Simooni, wandiwulidde otya? Wandikoze nga Yesu bwe yakola, oba wandiwulidde ng’Omufalisaayo eyamukyaza? Kya lwatu, Yesu yali Mwana wa Katonda, n’olwekyo tetuyinza kweyisiza ddala nga ye. Ku luuyi olulala, tetwandyagadde kweyisa nga Simooni, Omufalisaayo. Abantu batono abandyagadde okweyisa ng’Abafalisaayo.
11. Lwaki tetwandyagadde kuteekebwa mu ttuluba lye limu n’Abafalisaayo?
11 Okusinziira ku bujulizi obuli mu Baibuli n’ebweru waayo, tuyinza okugamba nti Abafalisaayo beetwala okuba abatumbula empisa ennungi mu bantu era abafaayo ku bulungi bw’eggwanga. Tebaali bamativu nti Amateeka ga Katonda gaali mangu ga kutegeera. Buli lwe kyabalabikiranga nti Amateeka tegategeerekeka, olwo nga bagongeramu ebirala ne kiba nti omuntu teyaweebwanga kakisa kukozesa muntu we ow’omunda okusobola okusalawo. Abakulembeze b’eddiini bano baagezaako okuteekawo amateeka agakwata ku ngeri y’okweyisaamu mu buli mbeera yonna ne mu buntu obutono ennyo.a
12. Abafalisaayo beetwala batya?
12 Josephus, munnabyafaayo Omuyudaaya ow’omu kyasa ekyasooka, yakiraga lwatu nti Abafalisaayo beetwalanga okuba ab’ekisa, abakkakkamu, abatasosola, era abalina ebisaanyizo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Kyo kituufu nti Abafalisaayo abamu kumpi baalina engeri ezo. Oboolyawo ekyo kiyinza okukujjukiza Nikoodemo. (Yokaana 3:1, 2; 7:50, 51) Oluvannyuma lw’ekiseera, abamu ku Bafalisaayo baafuuka Abakristaayo. (Ebikolwa 15:5) Ng’ekyokulabirako, omutume Omukristaayo Pawulo yawandiika bw’ati ku Bayudaaya abamu nga mw’otwalidde n’Abafalisaayo: “Balina okunyiikiri[r]a Katonda, naye si mu kutegeera.” (Abaruumi 10:2) Kyokka, Enjiri eboogerako mu ngeri yennyini abantu ba bulijjo gye baali babalabamu—kwe kugamba: abantu ab’amalala, ab’ebboggo, abeetwala okuba abatuukirivu, abanoonya ensobi mu balala, abasalira abalala emisango era ababaweebuula.
Endowooza ya Yesu
13. Kiki Yesu kye yayogera ku Bafalisaayo?
13 Yesu yayita Abafalisaayo bannanfuusi. “Basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; naye bo bennyini tebaagala kuginyeenyaako n’engalo yaabwe.” Yee, emigugu gyali mizito, era n’ebyo bye baakakaatikanga ku bantu. Era Yesu yayita abawandiisi n’Abafalisaayo “abasiru.” Omuntu omusiru aba tagasa. Ate era Yesu yayita Abafalisaayo “abasaale abazibe b’amaaso,” era n’agamba nti baali ‘babuusizza amaaso ebigambo ebikulu eby’Amateeka, nga bwe bwenkanya, ekisa, n’obwesigwa.’ Mazima ddala, ani yandyagadde Yesu amutwale okuba ng’Omufalisaayo?—Matayo 23:1-4, 16, 17, 23.
14, 15. (a) Ebyaliwo Yesu ng’akyadde ewa Matayo Leevi biraga ki ku ngeri z’Abafalisaayo? (b) Bintu ki ebikulu bye tuyinza okuyigira ku bino ebyaliwo?
14 Kumpi buli asoma ebyawandiikibwa mu Njiri asobola okukiraba nti Abafalisaayo abasinga obungi baali bantu abavumirira. Oluvannyuma lwa Yesu okuyita Matayo Leevi, omuwooza, okufuuka omuyigirizwa we, Leevi yamufumbira ekijjulo ekinene. Ebyawandiikibwa bigamba: “Abafalisaayo n’abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti Kiki ekibaliisa n’okunywera awamu n’abawooza n’abantu abalina ebibi? Yesu n’abaddamu n’abagamba . . . Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya.”—Lukka 5:27-32.
15 Leevi alina ekirala kye yayiga ku mulundi ogwo Yesu bwe yagamba nti: “Mugende muyige amakulu g’ekigambo kino nti Njagala kisa, so si ssaddaaka.” (Matayo 9:13) Wadde ng’Abafalisaayo beegambanga nti bakkiririza mu ebyo ebyawandiikibwa bannabbi Abebbulaniya, baali tebakkiriza bigambo ebyo ebiggibwa mu Koseya 6:6. Baakulembezanga obulombolombo mu kifo ky’okulaga ekisa. Buli omu ku ffe ayinza okwebuuza nti, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu agugubira ku mateeka agamu, gamba ng’ago agooleka endowooza yange ku bwange? Oba abalala bantwala okuba omuntu omusaasizi era ow’ekisa?’
16. Abafalisaayo baali beeyisa batya era tuyinza tutya okwewala okuba nga bo?
16 Abafalisaayo baali beerondalonda nnyo. Baanoonyerezanga buli kasobyo, ka kibeere nti kabaddewo obanga kateeberezebwa buteeberezebwa. Baateekanga abantu ku bunkenke, era ne babajjukizanga obunafu bwabwe. Abafalisaayo beenyumirizanga nnyo mu kuwa ekitundu eky’ekkumi ka kibeere kya buddo obusingayo obutono, gamba nga nnabbugira, aneta ne kkumino. Beeragalaganga okuba abatukuvu mu ngeri gye baayambalangamu era baayagala okukajjala ku bantu. Kya lwatu, ebikolwa byaffe bwe biba eby’okutuukana n’ekyokulabirako kya Yesu, tulina okwewala omuze ogw’okunoonyereza ensobi mu balala era n’okuzikuliriza.
Yesu Yagonjoola Atya Ebizibu?
17-19. (a) Nnyonnyola engeri Yesu gye yakola ku nsonga eyandireeseewo obuzibu obw’amaanyi. (b) Kiki ekyaleetera embeera eyo okubeera enzibu? (c) Singa waliwo ng’omukazi oyo atuukirira Yesu, wandikoze ki?
17 Engeri Yesu gye yagonjoolangamu ebizibu yayawukanira ddala ku y’Abafalisaayo. Weekenneenye engeri Yesu gye yakwatamu ensonga eyandibadde enzibu ennyo. Yali ekwata ku mukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi okumala emyaka 12. Oyinza okusoma ebyaliwo mu Lukka 8:42-48.
18 Makko yawandiika nti ‘omukazi yali atidde era ng’akankana.’ (Makko 5:33) Lwaki? Kya lwatu lwa kuba yali akimanyi nti amenye Etteeka lya Katonda. Okusinziira ku Eby’Abaleevi 15:25-27, omukazi bwe yavangamu omusaayi mu ngeri etali ya bulijjo, teyabanga mulongoofu okumala ebbanga eryo lyonna, awamu ne wiiki endala emu. Buli kintu kyonna n’abantu be yakwatangako tebaabanga balongoofu. Okusobola okutuuka ku Yesu, omukazi ono yalina okuwaguza okuyita mu bantu. Bwe tusoma ku ebyo ebyaliwo emyaka 2000 emabega, tukwatirwa omukazi ono ekisa.
19 Singa waliwo ku lunaku olwo, embeera eyo wandigitunuulidde otya? Kiki kye wandyogedde? Weetegereze nti Yesu yalaga omukazi ono ekisa era n’okwagala , n’atayogera na ku buzibu omukazi ono bwe yaleetawo. —Makko 5:34.
20. Singa Eby’Abaleevi 15:25-27 libadde tteeka erikwata ku Bakristaayo leero, twandibadde na kusoomooza kwa ngeri ki?
20 Waliwo kye tuyinza okuyigira ku bino ebyaliwo? Ka tugambe nti oli mukadde mu kibiina Ekikristaayo leero. Era ka tugambe nti Eby’Abaleevi 15:25-27 tteeka erikwata ku Bakristaayo leero, era nti omukazi Omukristaayo alimenye, nga yeraliikirira era nga tamanyi kya kukola. Wandikoze ki? Wandimuswalizza mu lujjudde ng’omunenya? Oyinza okugamba nti, ‘sandikoze bwe ntyo! Nga ngoberera ekyokulabirako kya Yesu nnandifubye okubeera ow’ekisa, omwagazi, era afaayo.’ Ekyo kirungi nnyo! Naye okusoomooza kuli mu kukolera ddala nga ye bwe yakola.
21. Kiki Yesu kye yayigiriza abantu ku Mateeka?
21 Okutwalira awamu, abantu baawulira nga Yesu abawummuzza era ng’abazizzaamu amaanyi. Amateeka ga Katonda bwe gaayogeranga obutereevu ku nsonga, gaabanga gategereza ddala ekyo kye gagamba. Bwe kiba nti ensonga tegaagyogerangako butereevu, abantu beeyambisanga omuntu waabwe ow’omunda, mu ngeri eyo ne balaga okwagala kwabwe eri Katonda mu bye baasalangawo. Amateeka tegaali makakanyavu. (Makko 2:27, 28) Katonda yali ayagala abantu be, yakolanga obutaweera olw’obulungi bwabwe, era yalinga mwetegefu okubasaasira nga basobezza. Ne Yesu bw’atyo bwe yali.—Yokaana 14:9.
Ebyava mu Kuyigiriza kwa Yesu
22. Okuyigira ku Yesu, kyayamba abayigirizwa be kuba na ndowooza ki?
22 Abo abaawuliriza Yesu era ne bafuuka abayigirizwa be baategeera amakulu g’ebigambo bye nti: “Ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:30) Tebaawulira nga bazitoowereddwa, nga beeraliikirira, oba okuwulira nga balagirwa bulagirwa. Baalina eddembe, baali basanyufu, era baali bawulira ng’enkolagana yaabwe ne Katonda era ne bantu bannaabwe nnungi okusingawo. (Matayo 7:1-5; Lukka 9:49, 50) Baamuyigirako nti okubeera omukulembeze mu by’omwoyo kyetaagisa okuwummuza abalala, okwoleka obuwombeefu mu ndowooza ne mu mutima.—1 Abakkolinso 16:17, 18; Abafiripi 2:3.
23. Abayigirizwa baayiga ki olw’okubeera ne Yesu, era ekyo kyabayamba kutegeera ki?
23 Ate era, bangi baategeera obukulu bw’okusigala obumu ne Kristo era n’okukulaakulanya endowooza gye yalaga. Yagamba abayigirizwa be: “Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.” (Yokaana 15:9, 10) Singa baali ba kutuuka ku buwanguzi ng’abaweereza ba Katonda, baalina okufuba okussa mu nkola bye baayiga okuva ku Yesu ebikwata ku kubuulira mu lujjudde amawulire ga Katonda amalungi era n’engeri y’okuyisaamu ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe. Nga ab’oluganda bagenda beeyongera, baalina okwejjukanya buli kiseera nti okweyisa nga Yesu kye kyali ekituufu okukola. Ebyo Yesu bye yayigiriza ge gaali amazima, era nga bandiruubiridde okweyisa nga ye bwe yeeyisa.—Yokaana 14:6; Abaefeso 4:20, 21.
24. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Yesu?
24 Kati ng’ofumiitiriza ku bye tuzze tuyiga, olaba wa we weetaaga okulongoosaamu? Okikkiriza nti Yesu yalowoozanga, n’ayigiriza, era ne yeeyisa mu ngeri esaanira? Bwe kityo nno, ddamu amaanyi. Yatugamba ebigambo bino ebizzaamu amaanyi: “Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.”—Yokaana 13:17.
[Obugambo obuli wansi]
a “Enjawulo eyaliwo wakati wa [Yesu n’Abafalisaayo] yeeyoleka bulungi mu ngeri gye baali bategeeramu Katonda. Okusinziira ku Bafalisaayo, Katonda mukambwe; kyokka okusinziira ku Yesu, wa kisa era musaasizi. Kya lwatu, Omufalisaayo takiwakanya nti Katonda mulungi oba nti alina okwagala, naye eri Omufalisaayo Katonda ayoleka engeri ezo okuyitira mu Mateeka ga Musa singa omuntu atuukiriza bye gamwetaaza. . . . Eri Abafalisaayo, okunywerera ku bulombolombo bwabwe obwalagiriranga engeri y’okukwatamu Amateeka ye yali engeri y’okutuukirizaamu Amateeka ga Musa. . . . Yesu okussa ennyo essira ku tteeka ery’okwagala [Katonda ne muliraanwa] (Mat. 22:34-40) n’okulitwala nti lye lisinziirwako okutaputa Amateeka awamu n’okugaana obulombolombo . . . kyamuleetera okukontana n’endowooza z’Abafalisaayo.”—The New International Dictionary of New Testament Theology.
Wandizzeemu Otya?
• Kitegeeza ki gy’oli okubeera omuyigirizwa wa Yesu?
• Yesu yayisa atya abantu?
• Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yayigirizaamu?
• Yesu yayawukana atya ku Bafalisaayo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16, 17]
Ng’endowooza ya Yesu eri abantu yali ya njawulo nnyo ku y’Abafalisaayo!