Noonya Katonda n’Omutima Gwo Wamu n’Obusobozi bw’Okutegeera
Obukristaayo obw’amazima bukubiriza okukozesa omutima wamu n’obusobozi bw’okutegeera okusobola okuba n’okukkiriza okusanyusa Katonda.
MU BUTUUFU, Yesu Kristo eyatandikawo Obukristaayo, yayigiriza nti tuteekwa okwagala Katonda ‘n’obusobozi bwaffe obw’okutegeera,’ awamu “n’omutima gwaffe gwonna” era “n’obulamu bwaffe bwonna.” (Matayo 22:37, NW) Yee, obusobozi bwaffe obw’okutegeera buteekwa okuba n’ekifo ekikulu ennyo mu kusinza kwaffe.
Yesu bwe yalinga akubiriza abamuwuliriza okufumiitiriza ku njigiriza ye, emirundi mingi yababuuzanga: “Mulowooza mutya?” (Matayo 17:25; 18:12; 21:28; 22:42) Mu ngeri y’emu, omutume Peetero yawandiikira bakkiriza banne ‘okubakubiriza okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza.’ (2 Peetero 3:1) Omutume Pawulo, nga ye muminsani eyasinga okutalaaga ensi mu kiseera eky’edda, yakubiriza Abakristaayo okukozesa ‘obusobozi bwabwe obw’okulowooza’ basobole ‘okutegeera Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.’ (Abaruumi 12:1, 2) Okwekkenneenya n’obwegendereza ebyo bye bakkiririzaamu, y’engeri yokka Abakristaayo ab’amazima gye bayinza okufunamu okukkiriza okusanyusa Katonda era okubasobozesa okwaŋŋanga ebizibu ebijjawo mu bulamu.—Abaebbulaniya 11:1, 6.
Okusobola okuyamba abalala okufuna okukkiriza ng’okwo, Abakristaayo ababuulizi b’enjiri ab’edda, ‘baakubaganyanga ebirowoozo n’abantu okuva mu Byawandiikibwa nga babannyonnyola ebyo bye baabayigirizanga.’ (Ebikolwa 17:1-3, NW) Enkola ng’eyo ey’amagezi, yaviirako abantu ab’emitima emyesigwa okukkiriza amazima. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi mu kibuga kya Makedoni mu Beroya, ‘bakkiriza ekigambo kya Katonda n’essanyu lingi nnyo. Buli lunaku baabikulanga Ebyawandiikibwa okukakasa obanga ebyo Pawulo ne banne bye baayogerangako byali bya mazima.’ (Ebikolwa 17:11) Mu kyawandiikibwa ekyo mulimu ebintu bibiri ebisaana okwetegerezebwa. Ekisooka, abantu be Beroya baali beesunga okuwuliriza Ekigambo kya Katonda; eky’okubiri tebaamala gakkiriza bye baawulira, wabula baakebera Ebyawandiikibwa okukakasiza ddala obanga byali bituufu. Lukka omuminsani Omukristaayo yasiima abantu be Beroya, n’aboogerako ng’abaalina ‘endowooza ennuŋŋamu.’ Oyoleka endowooza ng’eyo ku bikwata ku by’omwoyo?
Omutima n’Obusobozi bw’Okutegeera Bigendera Wamu
Nga bwe kyayogeddwako emabegako, okusinza okw’amazima kuzingiramu obusobozi bw’okutegeera n’omutima. (Makko 12:30, NW) Ddamu olowooze ku kyokulabirako kye twalabye mu kitundu ekisooka ekikwata ku musajja eyapangisibwa okusiiga ennyumba langi naye n’akozesa langi enkyamu. Singa yali awulirizza bulungi ebiragiro bya mukama we, yandibadde akola omulimu ogwo n’omutima gwe gwonna era nga mukakafu nti omulimu gwe gwandisiimiddwa. Bwe kityo bwe kiri ne ku bikwata ku kusinza kwaffe.
Yesu yagamba nti abasinza ab’amazima ‘banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima.’ (Yokaana 4:23) N’olwekyo, omutume Pawulo yawandiika: “Naffe kyetuva tetulekaayo, . . . okubasabira n’okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeera [“okumanya okutuufu,” NW] [okukwata ku] by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera eby’omwoyo, okutambulanga nga bwe kisaanira mu Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna.” (Abakkolosaayi 1:9, 10) “Okumanya okutuufu” ng’okwo kusobozesa abantu abeesimbu okusinza n’omutima gwabwe gwonna kubanga ‘basinza kye bamanyi.’—Yokaana 4:22.
N’olw’ensonga zino, Abajulirwa ba Yakuwa tebabatiza baana bato oba abo ababa baakatandika okuyiga Baibuli nga tebannaba kwetegereza bulungi byawandiikibwa. Yesu yalagira abayigirizwa be: “Mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Okusalawo ku nsonga y’okusinza kukolebwa bayizi ba Baibuli abeesimbu oluvannyuma lw’okufuna okutegeera okutuufu okukwata ku Katonda by’ayagala. Ofuba okufuna okumanya okutuufu?
Okutegeera Amakulu g’Essaala ya Kitaffe Ali mu Ggulu
Okulaba enjawulo eri wakati w’okubeera n’okumanya okutuufu okwa Baibuli n’okumanya obumanya ebitono ku by’eyogera, ka twetegereze essaala eyitibwa Kitaffe Ali mu Ggulu, eri mu Matayo 6:9-13.
Obukadde n’obukadde bw’abantu baddiŋŋana oba basoma essaala eno mu makanisa obutayosa. Naye bameka abayigiriziddwa amakulu agagirimu, naddala ekitundu ekisooka ekikwata ku linnya lya Katonda n’Obwakabaka bwe? Ebintu ebyo bikulu nnyo ne kiba nti Yesu yatuuka n’okubikulembeza mu ssaala eno.
Etandika bw’eti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” Weetegereze nti Yesu yagamba nti tusabe erinnya lya Katonda litukuzibwe. Eri abantu bangi ekyo kireetawo ebibuuzo nga bibiri. Ekisooka, erinnya lya Katonda y’ani? N’eky’okubiri, lwaki kyetaagisa okulitukuza?
Eky’okuddamu mu kibuuzo ekisooka kisangibwa mu Baibuli, mu bifo ebisoba mu 7,000 mu lulimi mwe yasooka okuwandiikibwa. Ekimu ku ebyo kiri mu Zabbuli 83:18: ‘Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.’ Ku bikwata ku linnya lya Katonda, Yakuwa, Okuva 3:15 wagamba: “Eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n’ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.”a Naye lwaki erinnya lya Katonda erisingirayo ddala obutukuvu ly’etaaga okutukuzibwa? Kubanga liteekeddwako ekivume era lisiigiddwa enziro okuviira ddala ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu.
Mu Adeni, Katonda yagamba Adamu ne Kaawa nti bandifudde singa baalya ku Muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. (Olubereberye 2:17) Setaani yawakanya ekyo Katonda kye yayogera n’agamba Kaawa nti: “Okufa temulifa.” N’olwekyo, Setaani yafuula Katonda okuba omulimba. Kyokka, teyakoma awo. Yeeyongera okusiiga enziro erinnya lya Katonda, ng’agamba Kaawa nti mu ngeri etaali ya bwenkanya Katonda yali amukweka okumanya okw’omuwendo. “Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” Nga kwali kuwaayiriza kwa maanyi!—Olubereberye 3:4, 5.
Bwe baalya ekibala ky’omuti ogwagaanibwa, Adamu ne kaawa beekobaana ne Setaani. Okuviira ddala ku olwo, abantu abasinga obungi wadde nga bakimanyi oba nedda, bongedde okuleeta ekivume ku linnya lya Katonda nga beesamba emisingi gye egy’obutuukirivu. (1 Yokaana 5:19) Abantu era bakyasiiga Katonda enziro nga bamunenya olw’okubonaabona kwabwe—newakubadde ng’emirundi mingi be baba bakwereeseeko olw’empisa zaabwe embi. “Obusirusiru bw’omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; n’omutima gwe gunyiigira Mukama,” bwe watyo Engero 19:3 bwe wagamba. Olaba ensonga lwaki Yesu, eyali ayagalira ddala Kitaawe, yasaba nti erinnya Lye litukuzibwe?
“Obwakabaka Bwo Bujje”
Oluvannyuma lw’okusaba erinnya lya Katonda okutukuzibwa, Yesu yagamba: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Ku bikwata ku saala eyo tuyinza okwebuuza nti: ‘Obwakabaka bwa Katonda kye ki? Era okujja kwabwo kukwatagana kutya ne Katonda by’ayagala okukolebwa mu nsi?
Mu Baibuli, ekigambo “Obwakabaka” kitegeeza “obufuzi obukulemberwa kabaka.” N’olwekyo, Obwakabaka bwa Katonda butegeeza obufuzi oba gavumenti, eya Katonda, ng’erina Kabaka gw’alonze. Kabaka ono si mulala wabula ye Yesu Kristo eyazuukizibwa—“Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abaami.” (Okubikkulirwa 19:16; Danyeri 7:13, 14) Ku bikwata ku bwakabaka bwa Katonda obuli mu mikono gya Yesu Kristo, nnabbi Danyeri yawandiika: “Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
Yee, Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna, buzikirize ababi bonna era bubeerewo “emirembe gyonna.” Obwakabaka buno Yakuwa bw’agenda okukozesa okutukuza erinnya lye n’okulinaazaako enziro yonna Setaani n’abantu ababi gye balisiize.—Ezeekyeri 36:23.
Okufaananako gavumenti endala zonna, Obwakabaka bwa Katonda nabwo bulina abantu be bufuga. Be baluwa abo? Baibuli eddamu: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:11) Mu ngeri y’emu Yesu yagamba nti: “Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.” Kya lwatu, bano balina okumanya okutuufu okukwata ku Katonda, ekisaanyizo ky’okufuna obulamu obutaggwawo.—Matayo 5:5; Yokaana 17:3.
Oyinza okufumiitirizaamu ng’ensi yonna ejjudde abantu abawombeefu era abateefu, abaagalana, era abaagalira ddala Katonda? (1 Yokaana 4:7, 8) Ekyo Yesu kye yasaba bwe yagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” Otegeera lwaki Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba bwe batyo? Ekisingawo n’obukulu, olaba nti okutuukirizibwa kw’essaala eyo kuyinza okukukwatako ggwe kennyini?
Obukadde n’Obukadde Kati Bakubaganya Ebirowoozo ku Byawandiikibwa
Yesu yalagula ku kaweefube w’okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda obugenda okujja. Yagamba: “N’amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14, NW.
Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde mukaaga babuulira amawulire amalungi. Bakukubiriza okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda n’Obwakabaka bwe nga “weekenneenya ebyawandiikibwa n’obwegendereza” ng’okozesa obusobozi bw’okulowooza. Ekyo kijja kunyweza okukkiriza kwo era kikubugaanye essanyu ng’ofumiitiriza ku ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya, omujja ‘okujjuzibwa okumanya okukwata ku Yakuwa, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.’—Isaaya 11:6-9
[Obugambo obuli wansi]
a Abeekenneenya abamu balondawo okukozesa “Yahweh” mu kifo kya “Yakuwa.” Kyokka, abavvuunuzi ab’ennaku zino abasinga obungi baggye erinnya lya Katonda mu nzivuunula za Baibuli zaabwe, era mu kifo kyalyo ne bateekawo ebitiibwa nga “Mukama” oba “Katonda.” Okumanya ebisingawo ku bikwata ku linnya lya Katonda, laba brocuwa eyitibwa The Divine Name That Will Endure Forever, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Kasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
KOPPA OMUYIGIRIZA OMUKULU
Yesu yayigirizanga ng’anokolayo emitwe egimu egiri mu Baibuli n’agissaako essira. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, yannyonnyola ekifo ky’alina mu kigendererwa kya Katonda eri abayigirizwa be ababiri abaali basobeddwa olw’okufa kwe. Lukka 24:27 (NW) wagamba: ‘N’asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n’abategeeza ebyo byonna ebimukwatako ye kennyini nga bwe byayogerwako mu Byawandiikibwa byonna.’
Weetegereze nti Yesu yalondayo omutwe ogw’okwogerako—“ye kennyini” Masiya—era mu kwogera kwe yajuliza “mu Byawandiikibwa byonna.” Yesu yakozesa ebyawandiikibwa ebikwatagana obulungi ne kiyamba abayigirizwa be okutegeera amazima. (2 Timoseewo 1:13) N’ekyavaamu, tebaakoma ku kutegeera butegeezi, wabula baakwatibwako nnyo. Ebyawandiikibwa bitugamba nti: “Ne beebuuzaganya nti Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng’atubikkulira ebyawandiikibwa?”—Lukka 24:32.
Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukoppa engeri Yesu gye yabuuliramu mu buweereza bwabwe. Ebitabo ebikulu bye bakozesa okuyigiriza abalala Baibuli bye: brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki? n’akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwawo. Byogera ku mitwe gya Baibuli mingi, gamba nga: “Katonda y’Ani?,” “Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?”“Osobola Otya Okuzuula Eddiini ey’Amazima?” “Zino Ze Nnaku ez’Enkomerero!” ne “Obulamu bw’Amaka Obusanyusa Katonda.” Buli ssomo lirimu ebyawandiikibwa bingi.
Oyanirizibwa okutuukirira Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kyo oba okubawandiikira ku emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 2 mu magazini eno okusobola okuyigirizibwa Baibuli ku bwereere osobole okutegeera emitwe egyo waggulu era n’emirala.
[Ekifaananyi]
Tuuka ku mutima gw’omuyizi wo ng’essira oriteeka ku mitwe egiri mu Baibuli
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Otegeera amakulu agali mu ssaala ya Kitaffe ali mu ggulu?
“Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe . . . ”
“Obwakabaka bwo [obwa Masiya] bujje . . . ”
“By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu”