Lwaki Wandibatiziddwa?
“Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza.”—Matayo 28:19.
1, 2. (a) Okubatizibwa okumu kubaddewo mu mbeera ki? (b) Bibuuzo ki ebijjawo ebikwata ku kubatizibwa?
KYALUMAANE, Kabaka w’ekika ekimu eky’Abagirimaani yawaliriza ab’eggwanga ly’Abasakisoni be yali awangudde, okubatizibwa ekirindi mu 775-77 C.E. “Yabakaka okukyuka bagoberere Obukristaayo,” bw’atyo munnabyafaayo ayitibwa John Lord bwe yawandiika. Mu ngeri y’emu n’omufuzi wa Russia ayitibwa Vuladimiri I, bwe yamala okuwasa omumbejja Omusoddokisi mu 987 C.E., naye yasalawo abantu be yali afuga bafuuke “Abakristaayo.” Yalagira babatizibwe ekirindi, era abo abaali tebaagala, baatiisibwatiisibwa okuttibwa!
2 Okubatizibwa ng’okwo kwali kusaana? Kwalina amakulu? Omuntu yenna asobola okubatizibwa?
Okubatizibwa—Mu Ngeri Ki?
3, 4. Lwaki okumansira oba okuyiwa amazzi ku byenyi si kubatiza okw’Ekikristaayo okutuufu?
3 Kyalumaane ne Vuladimiri I bwe baakaka abantu okubatizibwa, baali tebagoberera Kigambo kya Katonda. Mu butuufu, okubatiza abantu ng’obamansirako amazzi, ng’obafukako amazzi ku byenyi, oba ng’obannyika nga tebayigiriziddwa mazima agali mu Byawandiikibwa, tekivaamu kalungi konna.
4 Weetegereze ebyo ebyaliwo Yesu ow’e Nazaaleesi bwe yagenda eri Yokaana Omubatiza mu 29 C.E. Yokaana yali abatiza abantu mu Mugga Yoludaani. Baali bazze gy’ali kyeyagalire okubatizibwa. Yabagamba bayimirire buyimirizi mu Mugga Yoludaani n’asena obuzzi butono mu mugga n’abuyiwa ku byenyi byabwe oba n’abubamansirako? Kiki ekyabaawo Yokaana bwe yabatiza Yesu? Matayo atutegeeza nti oluvannyuma lw’okubatizibwa, ‘amangu ago Yesu n’ava mu mazzi.’ (Matayo 3:16) Yali munda mu mazzi olw’okuba yali annyikiddwa mu Mugga Yoludaani. Mu ngeri y’emu, n’Omuwesiyopya omulaawe yabatizibwa mu “kidiba ky’amazzi.” Ebidiba by’amazzi byali byetaagisa kubanga okubatizibwa kwa Yesu n’abayigirizwa be kwali kwetaagisa okunnyikira ddala.—Ebikolwa 8:36, NW.
5. Abakristaayo abaasooka baabatizanga batya abantu?
5 Ebigambo by’Oluyonaani ebivvuunuddwa “okubatiza,” oba “okubatizibwa,” bitegeeza okunnyika oba okubbika mu mazzi. Enkuluze ya Baibuli eyitibwa Smith’s Bible Dictionary egamba: “[Ekigambo] okubatiza, mu butuufu kitegeeza okunnyikibwa.” N’olwekyo, enzivuunula za Baibuli ezimu zigamba nti “Yokaana Omunnyisi” ne “Yokaana Omubbisi.” (Matayo 3:1, Rotherham, Diaglott interlinear) Ekitabo History of the Christian Religion and Church, During the Three First Centuries ekya Augustus Neander kigamba: “Abantu baabatizibwanga nga bannyikibwa mu mazzi.” Ekitabo eky’Olufalansa Larousse du XXe Siècle (Paris, 1928) ekimanyiddwa ennyo kigamba: “Abakristaayo abaasooka baabatizibwa nga bannyikibwa mu mazzi buli we gaasangibwanga.” Ate ekitabo New Catholic Encyclopedia kigamba: “Kyeyoleka kaati nti mu Kkanisa eyasooka abantu baabatizibwa nga bannyikibwa mu mazzi.” (1967, Omuzingo II, olupapula 56) Bwe kityo ne leero, omuntu abatizibwa kyeyagalire ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’annyikibwa yenna mu mazzi.
Ensonga Empya ey’Okubatizibwa
6, 7. (a) Lwaki Yokaana yabatiza abantu? (b) Kiki ekyali ekippya mu kubatizibwa kw’abagoberezi ba Kristo?
6 Okubatiza kwa Yokaana kwalina ekigendererwa kirala bw’okugeraageranya n’okw’abagoberezi ba Yesu. (Yokaana 4:1, 2) Yokaana yabatiza abantu ng’akabonero akooleka mu lujjudde nti beenenyeza olw’obutatuukiriza Mateeka.a (Lukka 3:3) Naye okubatizibwa kw’abagoberezi ba Yesu kwalina ekigendererwa ekippya. Ku Pentekoote 33 C.E., omutume Peetero yakubiriza abaali bamuwuliriza: “Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe.” (Ebikolwa 2:37-41) Wadde nga Peetero yali ayogera eri Abayudaaya awamu n’abakyufu, yali tayogera ku kubatizibwa ng’akabonero akooleka okwenenya olw’obutatuukiriza Mateeka; era yali tategeeza nti okubatizibwa mu linnya lya Yesu kutegeeza okunaazibwako ebibi.—Ebikolwa 2:10.
7 Ku mulundi ogwo, Peetero yakozesa ekimu ku ‘bisumuluzo by’obwakabaka.’ Lwa kigendererwa ki? Okutegeeza abaali bamuwuliriza ku mukisa gwe baalina ogw’okuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Matayo 16:19) Okuva Abayudaaya bwe baali bagaanye Yesu nga Masiya, okwenenya n’okumukkiririzaamu byali bintu bippya era nga bikulu nnyo okusobola okusonyiyibwa Katonda. Bandyolesezza mu lwatu nti balina okukkiriza ng’okwo nga babatizibwa mu linnya lya Yesu Kristo. Mu ngeri eyo bandiraze okwewaayo kwabwe kinnoomu eri Katonda okuyitira mu Kristo. Leero, abo bonna abaagala okusiimibwa Katonda bateekwa okuba n’okukkiriza ng’okwo, beeweeyo eri Yakuwa Katonda, era babatizibwe ng’Abakristaayo nga booleka okwewaayo kwabwe eri Katonda Ali Waggulu Ennyo.
Kyetaagisa Okuba n’Okumanya Okutuufu
8. Lwaki Abakristaayo tebamala gabatiza buli muntu?
8 Abakristaayo tebamala gabatiza buli muntu. Yesu yalagira abagoberezi be: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Nga abantu tebannaba kubatizibwa, balina ‘okuyigirizibwa okugoberera byonna Kristo bye yalagira abayigirizwa be.’ N’olwekyo, okukaka abantu abatanafuna kumanya kutuufu okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda okubatizibwa tekirina makulu era kyawukana ku mulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be ab’amazima.—Abaebbulaniya 11:6.
9. Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe”?
9 Kitegeeza ki okubatizibwa “mu linnya lya Kitaffe”? Kitegeeza nti oyo abatizibwa ategeera ekifo kya Kitaffe ow’omu ggulu era n’obuyinza bwe. Bwe kityo, Yakuwa Katonda ategeerwa ng’Omutonzi waffe, oyo ‘Ali Waggulu Ennyo ng’afuga ensi yonna’ era n’obutonde bwonna.—Zabbuli 83:18; Isaaya 40:28; Ebikolwa 4:24.
10. Kitegeeza ki okubatizibwa ‘mu linnya ly’Omwana’?
10 Okubatizibwa ‘mu linnya ly’Omwana’ kitegeeza okutegeera obuvunaanyizibwa bwa Yesu n’obuyinza bwe ng’Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka. (1 Yokaana 4:9) Abo abatuuka ku ddaala ery’okubatizibwa bakkiriza Yesu ng’oyo Katonda gw’ayitiddemu okuwaayo ‘ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28; 1 Timoseewo 2:5, 6, NW) Era, abo ababatizibwa bateekwa okutegeera “ekifo ekya waggulu” Katonda ky’awadde Omwana we.—Abafiripi 2:8-11; Okubikkulirwa 19:16.
11. Makulu ki agali mu kubatizibwa ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu’?
11 Makulu ki agali mu kubatizibwa ‘mu linnya ly’omwoyo omutukuvu’? Kino kiraga nti abo ababa bagenda okubatizibwa bakitegeera nti omwoyo omutukuvu ge maanyi ga Yakuwa agakola, g’akozesa mu ngeri ez’enjawulo okutuukiriza ebigendererwa bye. (Olubereberye 1:2; 2 Samwiri 23:1, 2; 2 Peetero 1:21) Abo abatuuka ku ddaala ery’okubatizibwa bakitegeera nti omwoyo omutukuvu gwe gubayamba okutegeera “ebintu eby’omunda ennyo ebya Katonda,” okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, era n’okwoleka ebibala eby’omwoyo nga “kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwoombeefu, okwefuga.”—1 Abakkolinso 2:10, NW; Abaggalatiya 5:22, 23; Yoweeri 2:28, 29.
Obukulu bw’Okwenenya n’Okukyuka
12. Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kukwataganyizibwa kutya n’okwenenya?
12 Ng’oggyeko Yesu, omuntu ataalina kibi, okubatizibwa kaba kabonero akakwataganyizibwa n’okwenenya eri Katonda. Bwe twenenya, tulaga okunyolwa, oba okulumwa mu mutima olw’ekyo kye tuba tukoze oba kye tuba tulemereddwa okutuukiriza. Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka abaali baagala okusanyusa Katonda kyali kibeetaagisa okwenenya olw’ebintu ebibi bye baakola Kristo. (Ebikolwa 3:11-19) Bannamawanga abamu mu Kkolinso abaafuuka abakkiriza beenenya olw’ebikolwa eby’obwenzi, okusinza ebifaananyi, okubba n’ebibi ebirala eby’amaanyi. Olw’okuba beenenya, ‘baanaazibwa’ mu musaayi gwa Yesu; ‘baatukuzibwa,’ oba baayawulibwawo okusobola okuweereza Katonda; era ‘baaweebwa obutuukirivu’ mu linnya lya Kristo n’olw’omwoyo gwa Katonda. (1 Abakkolinso 6:9-11) Okwenenya ddaala kkulu nnyo okusobola okufuna omuntu ow’omunda omulungi n’okusonyiyibwa Katonda.—1 Peetero 3:21.
13. Ku bikwata ku kubatizibwa, okukyuka kuzingiramu ki?
13 Omuntu ateekwa okukyusa enneeyisa ye ey’emabega nga tannabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Okukyuka kukolebwa kyeyagalire oluvannyuma lw’omuntu okumalirira mu mutima gwe okugoberera Yesu Kristo. Abantu ng’abo baleka amakubo gaabwe amakyamu ag’emabega era ne bamalirira okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. Mu Byawandiikibwa, ekigambo ky’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ekivvuunulwa okukyuka, kitegeeza okukyuka n’otunula gy’obadde okubye amabega. Ekikolwa kino kitegeeza okukyuka n’odda eri Katonda okuva mu kkubo ekkyamu. (1 Bassekabaka 8:33, 34) Okukyuka kwetaagisa ‘ebikolwa ebyoleka okwenenya.’ (Ebikolwa 26:20) Kutegeeza okuleka okusinza okw’obulimba, ne tukolera ku biragiro bya Katonda, era ne tumwemalirako. (Ekyamateeka 30:2, 8-10; 1 Samwiri 7:3) Okukyuka kweyolekera mu nkyukakyuka ze tukola mu ndowooza zaffe, mu biruubirirwa byaffe n’engeri zaffe. (Ezeekyeri 18:31) Tukiraga nti ‘tukyuse’ bwe twambala omuntu omuggya ne tuleka engeri ezitooleka kutya Katonda.—Ebikolwa 3:19; Abaefeso 4:20-24; Abakkolosaayi 3:5-14.
Kikulu Okwewaayo n’Omutima Gwonna
14. Okwewaayo kw’abagoberezi ba Yesu kutegeeza ki?
14 Era, ng’abagoberezi ba Yesu tebannabatizibwa, bateekwa okwewaayo eri Katonda n’emitima gyabwe gyonna. Okwewaayo kiba kiraga nti omuntu ayawuliddwawo olw’obuweereza obutukuvu. Eddaala lino kkulu nnyo ne kiba nti tulina okukitegeeza Yakuwa okuyitira mu kusaba nti tusazeewo okumwemalirako emirembe gyonna. (Ekyamateeka 5:9) Kya lwatu, tetwewaayo kukola bukozi mirimu, oba eri omuntu, wabula eri Katonda yennyini.
15. Lwaki ababatizibwa bannyikibwa mu mazzi?
15 Bwe twewaayo eri Katonda okuyitira mu Kristo, tulaga nti tumaliridde okukozesa obulamu bwaffe okukola Katonda by’ayagala nga bwe biragibwa mu Byawandiikibwa. Ng’akabonero akooleka okwewaayo kwabwe, abo ababatizibwa bannyikibwa mu mazzi, nga ne Yesu bwe yabatizibwa mu Mugga Yoludaani okulaga nti yeeyanjudde eri Katonda. (Matayo 3:13) Era, kikulu okwetegereza nti Yesu yali asaba ku mukolo ogwo omukulu ennyo.—Lukka 3:21, 22.
16. Tuyinza tutya okulaga essanyu mu ngeri ennungi ng’abantu babatizibwa?
16 Okubatizibwa kwa Yesu gwali mukolo mukulu nnyo era nga kwa ssanyu. Era bwe kiri n’eri okubatizibwa kw’Abakristaayo mu kiseera kyaffe. Bwe tulaba ng’abantu booleka okwewaayo kwabwe eri Katonda, tuyinza okulaga essanyu lyaffe mu ngeri ey’ekitiibwa era ne tubakulisa okutuuka ku ddaala eryo. Naye okukuba obuluulu oba okukola ekintu ekifaananako bwe kityo byewalibwa olw’obukulu bw’omukolo guno ogwoleka okukkiriza. Essanyu lyaffe tulyoleka mu ngeri ey’ekitiibwa.
17, 18. Kiki ekiyamba okutegeera obanga abantu balina ebisaanyizo eby’okubatizibwa?
17 Obutafaananako abo abamansira amazzi ku byenyi by’abaana abato oba abo abakaka abantu abatasoose kuyigirizibwa Byawandiikibwa okubatizibwa, Abajulirwa ba Yakuwa tebakaka muntu yenna kubatizibwa. Mu butuufu, tebabatiza muntu yenna atatuukiriza bisaanyizo bya mu Byawandiikibwa. Era ng’omuntu yenna tannafuuka mubuulizi w’amawulire amalungi atali mubatize, abakadde Abakristaayo basooka kukakasa nti ategeerera ddala enjigiriza za Baibuli ezisookerwako, azitambulizaako obulamu bwe, era ne bakakasa nti ayagala obuweereza obwo ng’addamu ekibuuzo ekigamba nti, “Ddala oyagala okubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa?”
18 Emirundi egisinga, abo ababa beenyigidde mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka bwe booleka nti bandyagadde okubatizibwa, abakadde Abakristaayo boogera nabo okukakasa nti beewaddeyo eri Yakuwa era nti batuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa. (Ebikolwa 4:4; 18:8) Engeri buli omu gy’addamu ebibuuzo ebisukka mu 100 ebyesigamiziddwa ku njigiriza za Baibuli, eyamba abakadde okusalawo obanga atuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa okusobola okubatizibwa. Abamu tebabituukiriza, era bwe kityo tebakkirizibwa kubatizibwa ng’Abakristaayo.
Waliwo Ekikulemesa?
19. Okusinziira ku Yokaana 6:44, baani abanaafugira awamu ne Kristo?
19 Bangi ku abo abaakakibwa okubatizibwa ekirindi bayinza okuba nga baategeezebwa nti bajja kugenda mu ggulu nga bafudde. Naye, ng’ayogera eri abagoberezi be, Yesu yagamba: “Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw’atamuwalula [“bw’atamusika,” NW].” (Yokaana 6:44) Yakuwa aleese eri Kristo abantu 144,000 abajja okufugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Era okukakibwa okubatizibwa tekuyinza kutukuza muntu n’aba ng’asaanira okubeera mu kifo ekyo mu nteekateeka ya Katonda.—Abaruumi 8:14-17; 2 Abasessaloniika 2:13; Okubikkulirwa 14:1.
20. Kiki ekiyinza okuyamba abamu ku abo abatannabatizibwa?
20 Okusingira ddala, okuva mu masekkati ga 1930, enkuyanja y’abantu abasuubira okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ era babeerewo ku nsi emirembe gyonna, beegasse ku ‘ndiga za Yesu endala.’ (Okubikkulirwa 7:9, 14; Yokaana 10:16) Batuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa olw’okuba batuukanyizza obulamu bwabwe n’Ekigambo kya Katonda era bamwagala ‘n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna, n’amaanyi gaabwe gonna n’ebirowoozo byabwe byonna.’ (Lukka 10:25-28) Wadde ng’abantu abamu bakitegeera nti Abajulirwa ba Yakuwa ‘basinza Katonda mu mwoyo n’amazima,’ tebannatandika kugoberera kyakulabirako kya Yesu wadde okwoleka okwagala kwabwe eri Yakuwa mu lujjudde nga babatizibwa. (Yokaana 4:23, 24; Ekyamateeka 4:24; Makko 1:9-11) Okusaba nga boogerera ddala ku ddaala lino ekkulu ery’okubatizibwa, kiyinza okubawa obuvumu okutuukanya obulamu bwabwe n’Ekigambo kya Katonda, okwewaayo gy’ali, era ne babatizibwa.
21, 22. Nsonga ki ezireetera abamu obuteewaayo era ne babatizibwa?
21 Abamu tebeewaayo eri Katonda era ne babatizibwa olw’okuba beenyigidde nnyo mu bintu by’ensi oba mu kunoonya obugagga ne kiba nti balina obudde butono nnyo okufaayo ku bintu eby’eby’omwoyo. (Matayo 13:22; 1 Yokaana 2:15-17) Nga bandibadde basanyufu singa bakyusa endowooza yaabwe n’ebiruubirirwa! Okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa kyandibaganyudde mu by’omwoyo, kyandibayambye okukendeeza ku kweraliikirira, era kyandibaleetedde emirembe n’okumatira ebiva mu kukola Katonda by’ayagala.—Zabbuli 16:11; 40:8; Engero 10:22; Abafiripi 4:6, 7.
22 Abalala bagamba nti baagala Yakuwa kyokka tebeewaayo era ne babatizibwa kubanga balowooza nti mu ngeri eyo tebajja kuvunaanyizibwa gy’ali. Naye buli omu ku ffe avunaanyizibwa eri Katonda. Twatandika okuvunaanyizibwa gy’ali bwe twawulira ekigambo kya Yakuwa. (Ezeekyeri 33:7-9; Abaruumi 14:12) Nga ‘abantu abalonde,’ Abaisiraeri ab’edda baazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaddeyo eri Yakuwa, bwe kityo ne baba nga bavunaanyizibwa okumuweereza n’obwesigwa nga bwe yali abeetaaza mu Mateeka. (Ekyamateeka 7:6, 11) Naye, tewali n’omu ku ffe azaalibwa nga muweereza wa Katonda eyeewaddeyo gy’ali. Kyokka, bwe tuba nga tufunye okumanya okutuufu okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, tusaanidde tukukolereko nga tulina okukkiriza.
23, 24. Bintu ki ebitandiremesezza bantu kubatizibwa?
23 Abamu okutya nti tebalina kumanya kumala kiyinza okubalemesa okubatizibwa. Kyokka, ffenna tulina bingi eby’okuyiga kubanga ‘omuntu tayinza kutegeera mirimu Katonda ow’amazima gy’akoze okuviira ddala ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero.’ (Omubuulizi 3:11) Lowooza ku Muwesiyopya omulaawe. Ng’omuntu eyali akyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya, yali amanyi amakulu g’Ebyawandiikibwa ebimu, naye nga tasobola kuddamu buli kibuuzo ekikwata ku bigendererwa bya Katonda. Kyokka, oluvannyuma lw’okuyiga ku nteekateeka ya Katonda ey’okulokola abantu ng’ayitira mu kinunulo kya Yesu, omulaawe oyo yabatizibwa.—Ebikolwa 8:26-38.
24 Abalala batya okwewaayo eri Katonda kubanga tebeekakasa obanga banaatuukiriza obuvunaanyizibwa obuzingirwamu. Monique, omuwala ow’emyaka 17 agamba: “Mbadde ntya okubatizibwa olw’obuteekakasa obanga nnaatuukiriza obuvunaanyizibwa obuzingirwamu.” Kyokka, bwe twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, ‘ajja kutereeza amakubo gaffe.’ Ajja kutuyamba ‘tweyongere okutambulira mu mazima’ ng’abaweereza be abeesigwa abeewaddeyo gy’ali.—Engero 3:5, 6, NW; 3 Yokaana 4.
25. Kibuuzo ki kye tusaanidde okwekenneenya?
25 Olw’okwesigira ddala Katonda mu bujjuvu era n’okwagala kwe balina gy’ali, buli mwaka enkumi n’enkumi z’abantu beewaayo gy’ali era ne babatizibwa. Awatali kubuusabuusa, abaweereza ba Katonda bonna abeewaddeyo baagala okubeera abeesigwa gy’ali. Kyokka tuli mu biro eby’okulaba ennaku era okukkiriza kwaffe kugezesebwa mu ngeri ezitali zimu. (2 Timoseewo 3:1-5) Kiki kye tuyinza okukola okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Yakuwa? Ekyo tujja kukyekenneenya mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Okuva Yesu bw’ataalina kibi, okubatizibwa kwe tekwayoleka kwenenya. Okubatizibwa kwe kwalaga nti yali yeeyanjudde eri Katonda okukola ebyo Kitaawe by’ayagala.—Abaebbulaniya 7:26; 10:5-10.
Ojjukira?
• Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kukolebwa kutya?
• Kumanya ki okwetaagisa omuntu okusobola okubatizibwa?
• Mitendera ki egituusa ku kubatizibwa kw’Abakristaayo ab’amazima?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Omanyi kye kitegeeza okubatizibwa ‘mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu’?